Joel 3 (BOLCB)
1 “Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda. 2 Ndikuŋŋaanya abamawanga bonnane mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,ne mbasalira omusangoolwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,ne bagabana ensi yange. 3 Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,n’abawala ne babatundamu omwengene beenywera. 4 “Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. 5 Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. 6 Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani. 7 “Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. 8 Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo MUKAMA y’abyogedde. 9 Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,Mwetegekere olutalo!Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo. 10 Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;omunafu agambe nti,“Ndi wa maanyi.” 11 Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,mukuŋŋaanire mu kiwonvu.Ayi MUKAMA, weereza eggye lyo libalumbe. 12 “Amawanga geeteeketeekegajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;kubanga eyo gye ndisinzirane nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango. 13 Kozesa oluwabyo lwo,kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolerookutuusa envinnyo lw’ekulukuta,ekibi kyabwe kinene nnyo.” 14 Abantu bukadde na bukaddeabali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!Kubanga olunaku lwa MUKAMA lusembeddelwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango. 15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,n’emmunyeenye tezikyayaka. 16 MUKAMA aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.Eggulu n’ensi birikankana.Naye MUKAMA aliba ekiddukiro ky’abantu be,era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi. 17 “Kale mulimanya nga Nze MUKAMA Katonda wammwe,abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,nga ne bannamawanga tebakyakirumba. 18 “Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,n’obusozi bulikulukusa amata,n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.Ensulo eriva mu nnyumba ya MUKAMAn’efukirira ekiwonvu kya Sittimu. 19 Misiri erifuuka amatongon’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereereolw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,ensi mwe battira abantu abatalina musango. 20 Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna. 21 Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,era teriba mutemu asonyiyibwa.Kubanga MUKAMA abeera mu Sayuuni.”
In Other Versions
Joel 3 in the ANGEFD
Joel 3 in the ANTPNG2D
Joel 3 in the AS21
Joel 3 in the BAGH
Joel 3 in the BBPNG
Joel 3 in the BBT1E
Joel 3 in the BDS
Joel 3 in the BEV
Joel 3 in the BHAD
Joel 3 in the BIB
Joel 3 in the BLPT
Joel 3 in the BNT
Joel 3 in the BNTABOOT
Joel 3 in the BNTLV
Joel 3 in the BOATCB
Joel 3 in the BOATCB2
Joel 3 in the BOBCV
Joel 3 in the BOCNT
Joel 3 in the BOECS
Joel 3 in the BOGWICC
Joel 3 in the BOHCB
Joel 3 in the BOHCV
Joel 3 in the BOHLNT
Joel 3 in the BOHNTLTAL
Joel 3 in the BOICB
Joel 3 in the BOILNTAP
Joel 3 in the BOITCV
Joel 3 in the BOKCV
Joel 3 in the BOKCV2
Joel 3 in the BOKHWOG
Joel 3 in the BOKSSV
Joel 3 in the BOLCB2
Joel 3 in the BOMCV
Joel 3 in the BONAV
Joel 3 in the BONCB
Joel 3 in the BONLT
Joel 3 in the BONUT2
Joel 3 in the BOPLNT
Joel 3 in the BOSCB
Joel 3 in the BOSNC
Joel 3 in the BOTLNT
Joel 3 in the BOVCB
Joel 3 in the BOYCB
Joel 3 in the BPBB
Joel 3 in the BPH
Joel 3 in the BSB
Joel 3 in the CCB
Joel 3 in the CUV
Joel 3 in the CUVS
Joel 3 in the DBT
Joel 3 in the DGDNT
Joel 3 in the DHNT
Joel 3 in the DNT
Joel 3 in the ELBE
Joel 3 in the EMTV
Joel 3 in the ESV
Joel 3 in the FBV
Joel 3 in the FEB
Joel 3 in the GGMNT
Joel 3 in the GNT
Joel 3 in the HARY
Joel 3 in the HNT
Joel 3 in the IRVA
Joel 3 in the IRVB
Joel 3 in the IRVG
Joel 3 in the IRVH
Joel 3 in the IRVK
Joel 3 in the IRVM
Joel 3 in the IRVM2
Joel 3 in the IRVO
Joel 3 in the IRVP
Joel 3 in the IRVT
Joel 3 in the IRVT2
Joel 3 in the IRVU
Joel 3 in the ISVN
Joel 3 in the JSNT
Joel 3 in the KAPI
Joel 3 in the KBT1ETNIK
Joel 3 in the KBV
Joel 3 in the KJV
Joel 3 in the KNFD
Joel 3 in the LBA
Joel 3 in the LBLA
Joel 3 in the LNT
Joel 3 in the LSV
Joel 3 in the MAAL
Joel 3 in the MBV
Joel 3 in the MBV2
Joel 3 in the MHNT
Joel 3 in the MKNFD
Joel 3 in the MNG
Joel 3 in the MNT
Joel 3 in the MNT2
Joel 3 in the MRS1T
Joel 3 in the NAA
Joel 3 in the NASB
Joel 3 in the NBLA
Joel 3 in the NBS
Joel 3 in the NBVTP
Joel 3 in the NET2
Joel 3 in the NIV11
Joel 3 in the NNT
Joel 3 in the NNT2
Joel 3 in the NNT3
Joel 3 in the PDDPT
Joel 3 in the PFNT
Joel 3 in the RMNT
Joel 3 in the SBIAS
Joel 3 in the SBIBS
Joel 3 in the SBIBS2
Joel 3 in the SBICS
Joel 3 in the SBIDS
Joel 3 in the SBIGS
Joel 3 in the SBIHS
Joel 3 in the SBIIS
Joel 3 in the SBIIS2
Joel 3 in the SBIIS3
Joel 3 in the SBIKS
Joel 3 in the SBIKS2
Joel 3 in the SBIMS
Joel 3 in the SBIOS
Joel 3 in the SBIPS
Joel 3 in the SBISS
Joel 3 in the SBITS
Joel 3 in the SBITS2
Joel 3 in the SBITS3
Joel 3 in the SBITS4
Joel 3 in the SBIUS
Joel 3 in the SBIVS
Joel 3 in the SBT
Joel 3 in the SBT1E
Joel 3 in the SCHL
Joel 3 in the SNT
Joel 3 in the SUSU
Joel 3 in the SUSU2
Joel 3 in the SYNO
Joel 3 in the TBIAOTANT
Joel 3 in the TBT1E
Joel 3 in the TBT1E2
Joel 3 in the TFTIP
Joel 3 in the TFTU
Joel 3 in the TGNTATF3T
Joel 3 in the THAI
Joel 3 in the TNFD
Joel 3 in the TNT
Joel 3 in the TNTIK
Joel 3 in the TNTIL
Joel 3 in the TNTIN
Joel 3 in the TNTIP
Joel 3 in the TNTIZ
Joel 3 in the TOMA
Joel 3 in the TTENT
Joel 3 in the UBG
Joel 3 in the UGV
Joel 3 in the UGV2
Joel 3 in the UGV3
Joel 3 in the VBL
Joel 3 in the VDCC
Joel 3 in the YALU
Joel 3 in the YAPE
Joel 3 in the YBVTP
Joel 3 in the ZBP