Luke 2 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. 2 Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli. 3 Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 4 Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, 5 yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. 6 Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. 7 N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi. 8 Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. 9 Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo. 10 Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna. 11 Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. 12 Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.” 13 Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti, 14 “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.” 15 Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.” 16 Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente. 17 Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, n’ebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo. 18 Bonna abaawulira ebigambo by’abasumba ne beewuunya nnyo. 19 Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo. 20 Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa. 21 Olunaku olw’omunaana olw’okukomolerwako bwe lwatuuka, n’atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina. 22 Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. 23 Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.” 24 Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri. 25 Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, 29 “Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,ng’ekigambo kyo bwe kigamba. 30 Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo, 31 bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna, 32 okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!” 33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.” 36 Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. 39 Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya. 40 Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye. 41 Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako. 42 Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali. 43 Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya. 44 Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe. 45 Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya. 46 Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo. 47 Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe. 48 Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!” 49 Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” 50 Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba. 51 N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe. 52 Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.

In Other Versions

Luke 2 in the ANGEFD

Luke 2 in the ANTPNG2D

Luke 2 in the AS21

Luke 2 in the BAGH

Luke 2 in the BBPNG

Luke 2 in the BBT1E

Luke 2 in the BDS

Luke 2 in the BEV

Luke 2 in the BHAD

Luke 2 in the BIB

Luke 2 in the BLPT

Luke 2 in the BNT

Luke 2 in the BNTABOOT

Luke 2 in the BNTLV

Luke 2 in the BOATCB

Luke 2 in the BOATCB2

Luke 2 in the BOBCV

Luke 2 in the BOCNT

Luke 2 in the BOECS

Luke 2 in the BOGWICC

Luke 2 in the BOHCB

Luke 2 in the BOHCV

Luke 2 in the BOHLNT

Luke 2 in the BOHNTLTAL

Luke 2 in the BOICB

Luke 2 in the BOILNTAP

Luke 2 in the BOITCV

Luke 2 in the BOKCV

Luke 2 in the BOKCV2

Luke 2 in the BOKHWOG

Luke 2 in the BOKSSV

Luke 2 in the BOLCB2

Luke 2 in the BOMCV

Luke 2 in the BONAV

Luke 2 in the BONCB

Luke 2 in the BONLT

Luke 2 in the BONUT2

Luke 2 in the BOPLNT

Luke 2 in the BOSCB

Luke 2 in the BOSNC

Luke 2 in the BOTLNT

Luke 2 in the BOVCB

Luke 2 in the BOYCB

Luke 2 in the BPBB

Luke 2 in the BPH

Luke 2 in the BSB

Luke 2 in the CCB

Luke 2 in the CUV

Luke 2 in the CUVS

Luke 2 in the DBT

Luke 2 in the DGDNT

Luke 2 in the DHNT

Luke 2 in the DNT

Luke 2 in the ELBE

Luke 2 in the EMTV

Luke 2 in the ESV

Luke 2 in the FBV

Luke 2 in the FEB

Luke 2 in the GGMNT

Luke 2 in the GNT

Luke 2 in the HARY

Luke 2 in the HNT

Luke 2 in the IRVA

Luke 2 in the IRVB

Luke 2 in the IRVG

Luke 2 in the IRVH

Luke 2 in the IRVK

Luke 2 in the IRVM

Luke 2 in the IRVM2

Luke 2 in the IRVO

Luke 2 in the IRVP

Luke 2 in the IRVT

Luke 2 in the IRVT2

Luke 2 in the IRVU

Luke 2 in the ISVN

Luke 2 in the JSNT

Luke 2 in the KAPI

Luke 2 in the KBT1ETNIK

Luke 2 in the KBV

Luke 2 in the KJV

Luke 2 in the KNFD

Luke 2 in the LBA

Luke 2 in the LBLA

Luke 2 in the LNT

Luke 2 in the LSV

Luke 2 in the MAAL

Luke 2 in the MBV

Luke 2 in the MBV2

Luke 2 in the MHNT

Luke 2 in the MKNFD

Luke 2 in the MNG

Luke 2 in the MNT

Luke 2 in the MNT2

Luke 2 in the MRS1T

Luke 2 in the NAA

Luke 2 in the NASB

Luke 2 in the NBLA

Luke 2 in the NBS

Luke 2 in the NBVTP

Luke 2 in the NET2

Luke 2 in the NIV11

Luke 2 in the NNT

Luke 2 in the NNT2

Luke 2 in the NNT3

Luke 2 in the PDDPT

Luke 2 in the PFNT

Luke 2 in the RMNT

Luke 2 in the SBIAS

Luke 2 in the SBIBS

Luke 2 in the SBIBS2

Luke 2 in the SBICS

Luke 2 in the SBIDS

Luke 2 in the SBIGS

Luke 2 in the SBIHS

Luke 2 in the SBIIS

Luke 2 in the SBIIS2

Luke 2 in the SBIIS3

Luke 2 in the SBIKS

Luke 2 in the SBIKS2

Luke 2 in the SBIMS

Luke 2 in the SBIOS

Luke 2 in the SBIPS

Luke 2 in the SBISS

Luke 2 in the SBITS

Luke 2 in the SBITS2

Luke 2 in the SBITS3

Luke 2 in the SBITS4

Luke 2 in the SBIUS

Luke 2 in the SBIVS

Luke 2 in the SBT

Luke 2 in the SBT1E

Luke 2 in the SCHL

Luke 2 in the SNT

Luke 2 in the SUSU

Luke 2 in the SUSU2

Luke 2 in the SYNO

Luke 2 in the TBIAOTANT

Luke 2 in the TBT1E

Luke 2 in the TBT1E2

Luke 2 in the TFTIP

Luke 2 in the TFTU

Luke 2 in the TGNTATF3T

Luke 2 in the THAI

Luke 2 in the TNFD

Luke 2 in the TNT

Luke 2 in the TNTIK

Luke 2 in the TNTIL

Luke 2 in the TNTIN

Luke 2 in the TNTIP

Luke 2 in the TNTIZ

Luke 2 in the TOMA

Luke 2 in the TTENT

Luke 2 in the UBG

Luke 2 in the UGV

Luke 2 in the UGV2

Luke 2 in the UGV3

Luke 2 in the VBL

Luke 2 in the VDCC

Luke 2 in the YALU

Luke 2 in the YAPE

Luke 2 in the YBVTP

Luke 2 in the ZBP