Luke 6 (BOLCB)

1 Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya. 2 Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?” 3 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo? 4 Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.” 5 N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.” 6 Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. 7 Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. 8 Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira. 9 Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?” 10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona. 11 Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu. 12 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda. 13 Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano: 14 Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni,ne Yakobo,ne Yokaana,ne Firipo,ne Battolomaayo, 15 ne Matayo,ne Tomasi,ne Yakobo, omwana wa Alufaayo,ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote, 16 ne Yuda, omwana wa Yakobo,ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe. 17 Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, 18 ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; 19 era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu. 20 Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe. 21 Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka. 22 Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olw’Omwana w’Omuntu.” 23 “Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka. 24 “Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu. 25 Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba. 26 Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.” 27 “Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. 28 Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga. 29 Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga. 30 Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza. 31 Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.” 32 “Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo. 33 Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo. 34 Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu. 35 Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi. 36 Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.” 37 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa. 38 Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.” 39 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya? 40 Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.” 41 “Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo? 42 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.” 43 “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi. 44 Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo. 45 Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.” 46 “Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola? 47 Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana. 48 Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi. 49 Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”

In Other Versions

Luke 6 in the ANGEFD

Luke 6 in the ANTPNG2D

Luke 6 in the AS21

Luke 6 in the BAGH

Luke 6 in the BBPNG

Luke 6 in the BBT1E

Luke 6 in the BDS

Luke 6 in the BEV

Luke 6 in the BHAD

Luke 6 in the BIB

Luke 6 in the BLPT

Luke 6 in the BNT

Luke 6 in the BNTABOOT

Luke 6 in the BNTLV

Luke 6 in the BOATCB

Luke 6 in the BOATCB2

Luke 6 in the BOBCV

Luke 6 in the BOCNT

Luke 6 in the BOECS

Luke 6 in the BOGWICC

Luke 6 in the BOHCB

Luke 6 in the BOHCV

Luke 6 in the BOHLNT

Luke 6 in the BOHNTLTAL

Luke 6 in the BOICB

Luke 6 in the BOILNTAP

Luke 6 in the BOITCV

Luke 6 in the BOKCV

Luke 6 in the BOKCV2

Luke 6 in the BOKHWOG

Luke 6 in the BOKSSV

Luke 6 in the BOLCB2

Luke 6 in the BOMCV

Luke 6 in the BONAV

Luke 6 in the BONCB

Luke 6 in the BONLT

Luke 6 in the BONUT2

Luke 6 in the BOPLNT

Luke 6 in the BOSCB

Luke 6 in the BOSNC

Luke 6 in the BOTLNT

Luke 6 in the BOVCB

Luke 6 in the BOYCB

Luke 6 in the BPBB

Luke 6 in the BPH

Luke 6 in the BSB

Luke 6 in the CCB

Luke 6 in the CUV

Luke 6 in the CUVS

Luke 6 in the DBT

Luke 6 in the DGDNT

Luke 6 in the DHNT

Luke 6 in the DNT

Luke 6 in the ELBE

Luke 6 in the EMTV

Luke 6 in the ESV

Luke 6 in the FBV

Luke 6 in the FEB

Luke 6 in the GGMNT

Luke 6 in the GNT

Luke 6 in the HARY

Luke 6 in the HNT

Luke 6 in the IRVA

Luke 6 in the IRVB

Luke 6 in the IRVG

Luke 6 in the IRVH

Luke 6 in the IRVK

Luke 6 in the IRVM

Luke 6 in the IRVM2

Luke 6 in the IRVO

Luke 6 in the IRVP

Luke 6 in the IRVT

Luke 6 in the IRVT2

Luke 6 in the IRVU

Luke 6 in the ISVN

Luke 6 in the JSNT

Luke 6 in the KAPI

Luke 6 in the KBT1ETNIK

Luke 6 in the KBV

Luke 6 in the KJV

Luke 6 in the KNFD

Luke 6 in the LBA

Luke 6 in the LBLA

Luke 6 in the LNT

Luke 6 in the LSV

Luke 6 in the MAAL

Luke 6 in the MBV

Luke 6 in the MBV2

Luke 6 in the MHNT

Luke 6 in the MKNFD

Luke 6 in the MNG

Luke 6 in the MNT

Luke 6 in the MNT2

Luke 6 in the MRS1T

Luke 6 in the NAA

Luke 6 in the NASB

Luke 6 in the NBLA

Luke 6 in the NBS

Luke 6 in the NBVTP

Luke 6 in the NET2

Luke 6 in the NIV11

Luke 6 in the NNT

Luke 6 in the NNT2

Luke 6 in the NNT3

Luke 6 in the PDDPT

Luke 6 in the PFNT

Luke 6 in the RMNT

Luke 6 in the SBIAS

Luke 6 in the SBIBS

Luke 6 in the SBIBS2

Luke 6 in the SBICS

Luke 6 in the SBIDS

Luke 6 in the SBIGS

Luke 6 in the SBIHS

Luke 6 in the SBIIS

Luke 6 in the SBIIS2

Luke 6 in the SBIIS3

Luke 6 in the SBIKS

Luke 6 in the SBIKS2

Luke 6 in the SBIMS

Luke 6 in the SBIOS

Luke 6 in the SBIPS

Luke 6 in the SBISS

Luke 6 in the SBITS

Luke 6 in the SBITS2

Luke 6 in the SBITS3

Luke 6 in the SBITS4

Luke 6 in the SBIUS

Luke 6 in the SBIVS

Luke 6 in the SBT

Luke 6 in the SBT1E

Luke 6 in the SCHL

Luke 6 in the SNT

Luke 6 in the SUSU

Luke 6 in the SUSU2

Luke 6 in the SYNO

Luke 6 in the TBIAOTANT

Luke 6 in the TBT1E

Luke 6 in the TBT1E2

Luke 6 in the TFTIP

Luke 6 in the TFTU

Luke 6 in the TGNTATF3T

Luke 6 in the THAI

Luke 6 in the TNFD

Luke 6 in the TNT

Luke 6 in the TNTIK

Luke 6 in the TNTIL

Luke 6 in the TNTIN

Luke 6 in the TNTIP

Luke 6 in the TNTIZ

Luke 6 in the TOMA

Luke 6 in the TTENT

Luke 6 in the UBG

Luke 6 in the UGV

Luke 6 in the UGV2

Luke 6 in the UGV3

Luke 6 in the VBL

Luke 6 in the VDCC

Luke 6 in the YALU

Luke 6 in the YAPE

Luke 6 in the YBVTP

Luke 6 in the ZBP