Mark 6 (BOLCB)

1 Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe. 2 Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?” 3 Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima. 4 Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.” 5 Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. 6 N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo. 7 Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu. 8 N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. 9 Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” 10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11 Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.” 12 Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” 13 Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya. 14 Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.” 15 Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.”N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.” 16 Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.” 17 Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza. 18 Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.” 19 Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza. 20 Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba. 21 Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya. 22 Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga.Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.” 23 Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!” 24 Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!” 25 Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!” 26 Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe. 27 Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe, 28 n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina. 29 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika. 30 Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza. 31 N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja. 32 Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu. 33 Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo. 34 Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi. 35 Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde. 36 Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.” 37 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?” 38 Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.” 39 Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. 40 Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. 41 Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. 42 Bonna ne balya ne bakkuta. 43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri. 44 Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano. 45 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu. 46 Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba. 47 Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu, 48 n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako. 49 Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, 50 kubanga bonna baamulaba ne batya.Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.” 51 Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo. 52 Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu. 53 Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti, 54 ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo. 55 Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda. 56 Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

In Other Versions

Mark 6 in the ANGEFD

Mark 6 in the ANTPNG2D

Mark 6 in the AS21

Mark 6 in the BAGH

Mark 6 in the BBPNG

Mark 6 in the BBT1E

Mark 6 in the BDS

Mark 6 in the BEV

Mark 6 in the BHAD

Mark 6 in the BIB

Mark 6 in the BLPT

Mark 6 in the BNT

Mark 6 in the BNTABOOT

Mark 6 in the BNTLV

Mark 6 in the BOATCB

Mark 6 in the BOATCB2

Mark 6 in the BOBCV

Mark 6 in the BOCNT

Mark 6 in the BOECS

Mark 6 in the BOGWICC

Mark 6 in the BOHCB

Mark 6 in the BOHCV

Mark 6 in the BOHLNT

Mark 6 in the BOHNTLTAL

Mark 6 in the BOICB

Mark 6 in the BOILNTAP

Mark 6 in the BOITCV

Mark 6 in the BOKCV

Mark 6 in the BOKCV2

Mark 6 in the BOKHWOG

Mark 6 in the BOKSSV

Mark 6 in the BOLCB2

Mark 6 in the BOMCV

Mark 6 in the BONAV

Mark 6 in the BONCB

Mark 6 in the BONLT

Mark 6 in the BONUT2

Mark 6 in the BOPLNT

Mark 6 in the BOSCB

Mark 6 in the BOSNC

Mark 6 in the BOTLNT

Mark 6 in the BOVCB

Mark 6 in the BOYCB

Mark 6 in the BPBB

Mark 6 in the BPH

Mark 6 in the BSB

Mark 6 in the CCB

Mark 6 in the CUV

Mark 6 in the CUVS

Mark 6 in the DBT

Mark 6 in the DGDNT

Mark 6 in the DHNT

Mark 6 in the DNT

Mark 6 in the ELBE

Mark 6 in the EMTV

Mark 6 in the ESV

Mark 6 in the FBV

Mark 6 in the FEB

Mark 6 in the GGMNT

Mark 6 in the GNT

Mark 6 in the HARY

Mark 6 in the HNT

Mark 6 in the IRVA

Mark 6 in the IRVB

Mark 6 in the IRVG

Mark 6 in the IRVH

Mark 6 in the IRVK

Mark 6 in the IRVM

Mark 6 in the IRVM2

Mark 6 in the IRVO

Mark 6 in the IRVP

Mark 6 in the IRVT

Mark 6 in the IRVT2

Mark 6 in the IRVU

Mark 6 in the ISVN

Mark 6 in the JSNT

Mark 6 in the KAPI

Mark 6 in the KBT1ETNIK

Mark 6 in the KBV

Mark 6 in the KJV

Mark 6 in the KNFD

Mark 6 in the LBA

Mark 6 in the LBLA

Mark 6 in the LNT

Mark 6 in the LSV

Mark 6 in the MAAL

Mark 6 in the MBV

Mark 6 in the MBV2

Mark 6 in the MHNT

Mark 6 in the MKNFD

Mark 6 in the MNG

Mark 6 in the MNT

Mark 6 in the MNT2

Mark 6 in the MRS1T

Mark 6 in the NAA

Mark 6 in the NASB

Mark 6 in the NBLA

Mark 6 in the NBS

Mark 6 in the NBVTP

Mark 6 in the NET2

Mark 6 in the NIV11

Mark 6 in the NNT

Mark 6 in the NNT2

Mark 6 in the NNT3

Mark 6 in the PDDPT

Mark 6 in the PFNT

Mark 6 in the RMNT

Mark 6 in the SBIAS

Mark 6 in the SBIBS

Mark 6 in the SBIBS2

Mark 6 in the SBICS

Mark 6 in the SBIDS

Mark 6 in the SBIGS

Mark 6 in the SBIHS

Mark 6 in the SBIIS

Mark 6 in the SBIIS2

Mark 6 in the SBIIS3

Mark 6 in the SBIKS

Mark 6 in the SBIKS2

Mark 6 in the SBIMS

Mark 6 in the SBIOS

Mark 6 in the SBIPS

Mark 6 in the SBISS

Mark 6 in the SBITS

Mark 6 in the SBITS2

Mark 6 in the SBITS3

Mark 6 in the SBITS4

Mark 6 in the SBIUS

Mark 6 in the SBIVS

Mark 6 in the SBT

Mark 6 in the SBT1E

Mark 6 in the SCHL

Mark 6 in the SNT

Mark 6 in the SUSU

Mark 6 in the SUSU2

Mark 6 in the SYNO

Mark 6 in the TBIAOTANT

Mark 6 in the TBT1E

Mark 6 in the TBT1E2

Mark 6 in the TFTIP

Mark 6 in the TFTU

Mark 6 in the TGNTATF3T

Mark 6 in the THAI

Mark 6 in the TNFD

Mark 6 in the TNT

Mark 6 in the TNTIK

Mark 6 in the TNTIL

Mark 6 in the TNTIN

Mark 6 in the TNTIP

Mark 6 in the TNTIZ

Mark 6 in the TOMA

Mark 6 in the TTENT

Mark 6 in the UBG

Mark 6 in the UGV

Mark 6 in the UGV2

Mark 6 in the UGV3

Mark 6 in the VBL

Mark 6 in the VDCC

Mark 6 in the YALU

Mark 6 in the YAPE

Mark 6 in the YBVTP

Mark 6 in the ZBP