Obadiah 1 (BOLCB)
1 Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya. MUKAMA Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.” 2 “Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,era olinyoomererwa ddala. 3 Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.Mmwe aboogera nti,‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’ 4 Wadde nga mwewanika waggulu ng’empunguera ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”bw’ayogera MUKAMA. 5 “Singa ababbi babajjira,n’abanyazi ne babalumba ekiro,akabi nga kaba kabatuuseeko.Tebandibabbyeko byonna bye baagala?Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo? 6 Esawu alinyagulurwa,eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa. 7 Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;abo abalya emmere yo balikutega omutego,balikutega omutego kyokka toliguvumbula. 8 “Ku lunaku olwo,sirizikiriza bagezi b’e Edomu,abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera MUKAMA. 9 “Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,era na buli muntu mu nsozi za Esawualittibwa. 10 Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,oliswazibwa.Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa. 11 Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,wali omu ku bo. 12 Tosaanye kusekerera muganda womu biseera bye eby’okulaba ennaku,wadde okusanyuka ku lunakuolw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,newaakubadde okwewaana ennyoku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo. 13 Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bangeku lunaku kwe baalabira obuyinike,wadde okubasekereraku lunaku kwe baabonaabonera,newaakubadde okutwala obugagga bwabweku lunaku lwe baatuukibwako akabi. 14 Temulindira mu masaŋŋanziraokutta abo abadduka,wadde okuwaayo abawonyeewomu biro eby’okulabiramu ennaku. 15 “Olunaku luli kumpi kwe ndisaliraamawanga gonna omusango.Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.Ebikolwa byammwe biribaddira. 16 Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvun’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;balikinywa,babe ng’abataganywangako. 17 Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,kubanga lutukuvu,n’ennyumba ya Yakoboeritwala omugabo gwabwe. 18 Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,era baligyokya n’eggwaawo.Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawun’omu alisigalawo,kubanga MUKAMA akyogedde. 19 “Abantu b’e Negebu balitwalaolusozi Esawu,n’abantu ab’omu biwonvu balitwalaensi y’Abafirisuuti.Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi. 20 Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,balyetwalira ebibuga mu Negebu. 21 Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,okufuga ensozi za Esawu.Obwakabaka buliba bwa MUKAMA.”
In Other Versions
Obadiah 1 in the ANGEFD
Obadiah 1 in the ANTPNG2D
Obadiah 1 in the AS21
Obadiah 1 in the BAGH
Obadiah 1 in the BBPNG
Obadiah 1 in the BBT1E
Obadiah 1 in the BDS
Obadiah 1 in the BEV
Obadiah 1 in the BHAD
Obadiah 1 in the BIB
Obadiah 1 in the BLPT
Obadiah 1 in the BNT
Obadiah 1 in the BNTABOOT
Obadiah 1 in the BNTLV
Obadiah 1 in the BOATCB
Obadiah 1 in the BOATCB2
Obadiah 1 in the BOBCV
Obadiah 1 in the BOCNT
Obadiah 1 in the BOECS
Obadiah 1 in the BOGWICC
Obadiah 1 in the BOHCB
Obadiah 1 in the BOHCV
Obadiah 1 in the BOHLNT
Obadiah 1 in the BOHNTLTAL
Obadiah 1 in the BOICB
Obadiah 1 in the BOILNTAP
Obadiah 1 in the BOITCV
Obadiah 1 in the BOKCV
Obadiah 1 in the BOKCV2
Obadiah 1 in the BOKHWOG
Obadiah 1 in the BOKSSV
Obadiah 1 in the BOLCB2
Obadiah 1 in the BOMCV
Obadiah 1 in the BONAV
Obadiah 1 in the BONCB
Obadiah 1 in the BONLT
Obadiah 1 in the BONUT2
Obadiah 1 in the BOPLNT
Obadiah 1 in the BOSCB
Obadiah 1 in the BOSNC
Obadiah 1 in the BOTLNT
Obadiah 1 in the BOVCB
Obadiah 1 in the BOYCB
Obadiah 1 in the BPBB
Obadiah 1 in the BPH
Obadiah 1 in the BSB
Obadiah 1 in the CCB
Obadiah 1 in the CUV
Obadiah 1 in the CUVS
Obadiah 1 in the DBT
Obadiah 1 in the DGDNT
Obadiah 1 in the DHNT
Obadiah 1 in the DNT
Obadiah 1 in the ELBE
Obadiah 1 in the EMTV
Obadiah 1 in the ESV
Obadiah 1 in the FBV
Obadiah 1 in the FEB
Obadiah 1 in the GGMNT
Obadiah 1 in the GNT
Obadiah 1 in the HARY
Obadiah 1 in the HNT
Obadiah 1 in the IRVA
Obadiah 1 in the IRVB
Obadiah 1 in the IRVG
Obadiah 1 in the IRVH
Obadiah 1 in the IRVK
Obadiah 1 in the IRVM
Obadiah 1 in the IRVM2
Obadiah 1 in the IRVO
Obadiah 1 in the IRVP
Obadiah 1 in the IRVT
Obadiah 1 in the IRVT2
Obadiah 1 in the IRVU
Obadiah 1 in the ISVN
Obadiah 1 in the JSNT
Obadiah 1 in the KAPI
Obadiah 1 in the KBT1ETNIK
Obadiah 1 in the KBV
Obadiah 1 in the KJV
Obadiah 1 in the KNFD
Obadiah 1 in the LBA
Obadiah 1 in the LBLA
Obadiah 1 in the LNT
Obadiah 1 in the LSV
Obadiah 1 in the MAAL
Obadiah 1 in the MBV
Obadiah 1 in the MBV2
Obadiah 1 in the MHNT
Obadiah 1 in the MKNFD
Obadiah 1 in the MNG
Obadiah 1 in the MNT
Obadiah 1 in the MNT2
Obadiah 1 in the MRS1T
Obadiah 1 in the NAA
Obadiah 1 in the NASB
Obadiah 1 in the NBLA
Obadiah 1 in the NBS
Obadiah 1 in the NBVTP
Obadiah 1 in the NET2
Obadiah 1 in the NIV11
Obadiah 1 in the NNT
Obadiah 1 in the NNT2
Obadiah 1 in the NNT3
Obadiah 1 in the PDDPT
Obadiah 1 in the PFNT
Obadiah 1 in the RMNT
Obadiah 1 in the SBIAS
Obadiah 1 in the SBIBS
Obadiah 1 in the SBIBS2
Obadiah 1 in the SBICS
Obadiah 1 in the SBIDS
Obadiah 1 in the SBIGS
Obadiah 1 in the SBIHS
Obadiah 1 in the SBIIS
Obadiah 1 in the SBIIS2
Obadiah 1 in the SBIIS3
Obadiah 1 in the SBIKS
Obadiah 1 in the SBIKS2
Obadiah 1 in the SBIMS
Obadiah 1 in the SBIOS
Obadiah 1 in the SBIPS
Obadiah 1 in the SBISS
Obadiah 1 in the SBITS
Obadiah 1 in the SBITS2
Obadiah 1 in the SBITS3
Obadiah 1 in the SBITS4
Obadiah 1 in the SBIUS
Obadiah 1 in the SBIVS
Obadiah 1 in the SBT
Obadiah 1 in the SBT1E
Obadiah 1 in the SCHL
Obadiah 1 in the SNT
Obadiah 1 in the SUSU
Obadiah 1 in the SUSU2
Obadiah 1 in the SYNO
Obadiah 1 in the TBIAOTANT
Obadiah 1 in the TBT1E
Obadiah 1 in the TBT1E2
Obadiah 1 in the TFTIP
Obadiah 1 in the TFTU
Obadiah 1 in the TGNTATF3T
Obadiah 1 in the THAI
Obadiah 1 in the TNFD
Obadiah 1 in the TNT
Obadiah 1 in the TNTIK
Obadiah 1 in the TNTIL
Obadiah 1 in the TNTIN
Obadiah 1 in the TNTIP
Obadiah 1 in the TNTIZ
Obadiah 1 in the TOMA
Obadiah 1 in the TTENT
Obadiah 1 in the UBG
Obadiah 1 in the UGV
Obadiah 1 in the UGV2
Obadiah 1 in the UGV3
Obadiah 1 in the VBL
Obadiah 1 in the VDCC
Obadiah 1 in the YALU
Obadiah 1 in the YAPE
Obadiah 1 in the YBVTP
Obadiah 1 in the ZBP