Proverbs 15 (BOLCB)
        
        
          1 Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.   2 Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.   3 Amaaso ga MUKAMA galaba buli wantu,alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.   4 Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,naye olulimi olulimba lubetenta omutima.   5 Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.   6 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.   7 Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.   8 Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri MUKAMA,naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.   9 Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri MUKAMA,naye MUKAMA ayagala oyo anoonya obutuukirivu.   10 Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.   11 Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga MUKAMA,n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!   12 Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,era teeyeebuuza ku b’amagezi.   13 Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.   14 Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.   15 Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera,naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.   16 Okuba n’akatono ng’otya MUKAMA,kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.   17 Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.   18 Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,naye omugumiikiriza akakkanya embeera.   19 Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.   20 Omwana omugezi asanyusa kitaawe,naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.   21 Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.   22 Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.   23 Okuddamu obulungi kisanyusa,era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.   24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,ne limuziyiza okukka emagombe.   25 MUKAMA azikiriza ennyumba y’ab’amalala,kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.   26 Enkwe za muzizo eri MUKAMA,naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.   27 Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.   28 Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.   29 MUKAMA ali wala n’aboonoonyi,naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.   30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.   31 Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,alituula wamu n’abagezi.   32 Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.   33 Okutya MUKAMA kuyigiriza omuntu amagezi,n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
        
        
          In Other Versions
        
        
  
    Proverbs 15 in the ANGEFD
  
  
    Proverbs 15 in the ANTPNG2D
  
  
    Proverbs 15 in the AS21
  
  
    Proverbs 15 in the BAGH
  
  
    Proverbs 15 in the BBPNG
  
  
    Proverbs 15 in the BBT1E
  
  
    Proverbs 15 in the BDS
  
  
    Proverbs 15 in the BEV
  
  
    Proverbs 15 in the BHAD
  
  
    Proverbs 15 in the BIB
  
  
    Proverbs 15 in the BLPT
  
  
    Proverbs 15 in the BNT
  
  
    Proverbs 15 in the BNTABOOT
  
  
    Proverbs 15 in the BNTLV
  
  
    Proverbs 15 in the BOATCB
  
  
    Proverbs 15 in the BOATCB2
  
  
    Proverbs 15 in the BOBCV
  
  
    Proverbs 15 in the BOCNT
  
  
    Proverbs 15 in the BOECS
  
  
    Proverbs 15 in the BOGWICC
  
  
    Proverbs 15 in the BOHCB
  
  
    Proverbs 15 in the BOHCV
  
  
    Proverbs 15 in the BOHLNT
  
  
    Proverbs 15 in the BOHNTLTAL
  
  
    Proverbs 15 in the BOICB
  
  
    Proverbs 15 in the BOILNTAP
  
  
    Proverbs 15 in the BOITCV
  
  
    Proverbs 15 in the BOKCV
  
  
    Proverbs 15 in the BOKCV2
  
  
    Proverbs 15 in the BOKHWOG
  
  
    Proverbs 15 in the BOKSSV
  
  
    Proverbs 15 in the BOLCB2
  
  
    Proverbs 15 in the BOMCV
  
  
    Proverbs 15 in the BONAV
  
  
    Proverbs 15 in the BONCB
  
  
    Proverbs 15 in the BONLT
  
  
    Proverbs 15 in the BONUT2
  
  
    Proverbs 15 in the BOPLNT
  
  
    Proverbs 15 in the BOSCB
  
  
    Proverbs 15 in the BOSNC
  
  
    Proverbs 15 in the BOTLNT
  
  
    Proverbs 15 in the BOVCB
  
  
    Proverbs 15 in the BOYCB
  
  
    Proverbs 15 in the BPBB
  
  
    Proverbs 15 in the BPH
  
  
    Proverbs 15 in the BSB
  
  
    Proverbs 15 in the CCB
  
  
    Proverbs 15 in the CUV
  
  
    Proverbs 15 in the CUVS
  
  
    Proverbs 15 in the DBT
  
  
    Proverbs 15 in the DGDNT
  
  
    Proverbs 15 in the DHNT
  
  
    Proverbs 15 in the DNT
  
  
    Proverbs 15 in the ELBE
  
  
    Proverbs 15 in the EMTV
  
  
    Proverbs 15 in the ESV
  
  
    Proverbs 15 in the FBV
  
  
    Proverbs 15 in the FEB
  
  
    Proverbs 15 in the GGMNT
  
  
    Proverbs 15 in the GNT
  
  
    Proverbs 15 in the HARY
  
  
    Proverbs 15 in the HNT
  
  
    Proverbs 15 in the IRVA
  
  
    Proverbs 15 in the IRVB
  
  
    Proverbs 15 in the IRVG
  
  
    Proverbs 15 in the IRVH
  
  
    Proverbs 15 in the IRVK
  
  
    Proverbs 15 in the IRVM
  
  
    Proverbs 15 in the IRVM2
  
  
    Proverbs 15 in the IRVO
  
  
    Proverbs 15 in the IRVP
  
  
    Proverbs 15 in the IRVT
  
  
    Proverbs 15 in the IRVT2
  
  
    Proverbs 15 in the IRVU
  
  
    Proverbs 15 in the ISVN
  
  
    Proverbs 15 in the JSNT
  
  
    Proverbs 15 in the KAPI
  
  
    Proverbs 15 in the KBT1ETNIK
  
  
    Proverbs 15 in the KBV
  
  
    Proverbs 15 in the KJV
  
  
    Proverbs 15 in the KNFD
  
  
    Proverbs 15 in the LBA
  
  
    Proverbs 15 in the LBLA
  
  
    Proverbs 15 in the LNT
  
  
    Proverbs 15 in the LSV
  
  
    Proverbs 15 in the MAAL
  
  
    Proverbs 15 in the MBV
  
  
    Proverbs 15 in the MBV2
  
  
    Proverbs 15 in the MHNT
  
  
    Proverbs 15 in the MKNFD
  
  
    Proverbs 15 in the MNG
  
  
    Proverbs 15 in the MNT
  
  
    Proverbs 15 in the MNT2
  
  
    Proverbs 15 in the MRS1T
  
  
    Proverbs 15 in the NAA
  
  
    Proverbs 15 in the NASB
  
  
    Proverbs 15 in the NBLA
  
  
    Proverbs 15 in the NBS
  
  
    Proverbs 15 in the NBVTP
  
  
    Proverbs 15 in the NET2
  
  
    Proverbs 15 in the NIV11
  
  
    Proverbs 15 in the NNT
  
  
    Proverbs 15 in the NNT2
  
  
    Proverbs 15 in the NNT3
  
  
    Proverbs 15 in the PDDPT
  
  
    Proverbs 15 in the PFNT
  
  
    Proverbs 15 in the RMNT
  
  
    Proverbs 15 in the SBIAS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIBS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIBS2
  
  
    Proverbs 15 in the SBICS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIDS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIGS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIHS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIIS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIIS2
  
  
    Proverbs 15 in the SBIIS3
  
  
    Proverbs 15 in the SBIKS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIKS2
  
  
    Proverbs 15 in the SBIMS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIOS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIPS
  
  
    Proverbs 15 in the SBISS
  
  
    Proverbs 15 in the SBITS
  
  
    Proverbs 15 in the SBITS2
  
  
    Proverbs 15 in the SBITS3
  
  
    Proverbs 15 in the SBITS4
  
  
    Proverbs 15 in the SBIUS
  
  
    Proverbs 15 in the SBIVS
  
  
    Proverbs 15 in the SBT
  
  
    Proverbs 15 in the SBT1E
  
  
    Proverbs 15 in the SCHL
  
  
    Proverbs 15 in the SNT
  
  
    Proverbs 15 in the SUSU
  
  
    Proverbs 15 in the SUSU2
  
  
    Proverbs 15 in the SYNO
  
  
    Proverbs 15 in the TBIAOTANT
  
  
    Proverbs 15 in the TBT1E
  
  
    Proverbs 15 in the TBT1E2
  
  
    Proverbs 15 in the TFTIP
  
  
    Proverbs 15 in the TFTU
  
  
    Proverbs 15 in the TGNTATF3T
  
  
    Proverbs 15 in the THAI
  
  
    Proverbs 15 in the TNFD
  
  
    Proverbs 15 in the TNT
  
  
    Proverbs 15 in the TNTIK
  
  
    Proverbs 15 in the TNTIL
  
  
    Proverbs 15 in the TNTIN
  
  
    Proverbs 15 in the TNTIP
  
  
    Proverbs 15 in the TNTIZ
  
  
    Proverbs 15 in the TOMA
  
  
    Proverbs 15 in the TTENT
  
  
    Proverbs 15 in the UBG
  
  
    Proverbs 15 in the UGV
  
  
    Proverbs 15 in the UGV2
  
  
    Proverbs 15 in the UGV3
  
  
    Proverbs 15 in the VBL
  
  
    Proverbs 15 in the VDCC
  
  
    Proverbs 15 in the YALU
  
  
    Proverbs 15 in the YAPE
  
  
    Proverbs 15 in the YBVTP
  
  
    Proverbs 15 in the ZBP