Proverbs 30 (BOLCB)

1 Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali. 2 Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,sirina kutegeera kwa bantu. 3 Siyize magezi,so n’oyo Omutukuvu simumanyi. 4 Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka?Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?Mbulira obanga obimanyi. 5 Buli kigambo kya Katonda kya mazima,era aba ngabo eri abo abamwesiga. 6 Toyongeranga ku bigambo bye,alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba. 7 Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi MUKAMA,tobinnyimanga nga sinnafa: 8 Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. 9 Nneme okukkutanga ne nkwegaanane njogera nti, “MUKAMA ye y’ani?”Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,ne nvumisa erinnya lya Katonda wange. 10 Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga. 11 Waliwo abo abakolimira bakitaabwene batasabira na bannyaabwe mukisa; 12 abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe. 13 Waliwo abo ab’amalala amayitirivu,abatunuza okwemanya okw’ekitalo, 14 n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,okusaanyaawo abaavu mu nsi,n’abo abali mu kwetaaga. 15 Ekinoso kirina bawala baakyo babiriabaleekaana nti, “Mpa! mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,” 16 Amagombe,olubuto olugumba,ettaka eritakutta mazzi,n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!” 17 Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,era n’atagondera nnyina,liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,ne liriibwa ensega. 18 Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,weewaawo bina bye sitegeera: 19 Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera. 20 Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:alya n’asiimuula emimwa gyen’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.” 21 Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatuweewaawo bina: 22 omuweereza bw’afuuka kabaka,n’omusirusiru bw’akutta emmere; 23 n’omukazi eyadibira mu ddya;n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we. 24 Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,ebirina amagezi amangi ennyo. 25 Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya; 26 obumyu busolo bunafunaye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja; 27 enzige tezirina kabaka,kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo; 28 omunya oyinza okugukwasa engalo,naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu. 29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa: 30 empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna; 31 sseggwanga,n’embuzi ennume,ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye. 32 Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,weekomeko weekwate ku mumwa. 33 Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.

In Other Versions

Proverbs 30 in the ANGEFD

Proverbs 30 in the ANTPNG2D

Proverbs 30 in the AS21

Proverbs 30 in the BAGH

Proverbs 30 in the BBPNG

Proverbs 30 in the BBT1E

Proverbs 30 in the BDS

Proverbs 30 in the BEV

Proverbs 30 in the BHAD

Proverbs 30 in the BIB

Proverbs 30 in the BLPT

Proverbs 30 in the BNT

Proverbs 30 in the BNTABOOT

Proverbs 30 in the BNTLV

Proverbs 30 in the BOATCB

Proverbs 30 in the BOATCB2

Proverbs 30 in the BOBCV

Proverbs 30 in the BOCNT

Proverbs 30 in the BOECS

Proverbs 30 in the BOGWICC

Proverbs 30 in the BOHCB

Proverbs 30 in the BOHCV

Proverbs 30 in the BOHLNT

Proverbs 30 in the BOHNTLTAL

Proverbs 30 in the BOICB

Proverbs 30 in the BOILNTAP

Proverbs 30 in the BOITCV

Proverbs 30 in the BOKCV

Proverbs 30 in the BOKCV2

Proverbs 30 in the BOKHWOG

Proverbs 30 in the BOKSSV

Proverbs 30 in the BOLCB2

Proverbs 30 in the BOMCV

Proverbs 30 in the BONAV

Proverbs 30 in the BONCB

Proverbs 30 in the BONLT

Proverbs 30 in the BONUT2

Proverbs 30 in the BOPLNT

Proverbs 30 in the BOSCB

Proverbs 30 in the BOSNC

Proverbs 30 in the BOTLNT

Proverbs 30 in the BOVCB

Proverbs 30 in the BOYCB

Proverbs 30 in the BPBB

Proverbs 30 in the BPH

Proverbs 30 in the BSB

Proverbs 30 in the CCB

Proverbs 30 in the CUV

Proverbs 30 in the CUVS

Proverbs 30 in the DBT

Proverbs 30 in the DGDNT

Proverbs 30 in the DHNT

Proverbs 30 in the DNT

Proverbs 30 in the ELBE

Proverbs 30 in the EMTV

Proverbs 30 in the ESV

Proverbs 30 in the FBV

Proverbs 30 in the FEB

Proverbs 30 in the GGMNT

Proverbs 30 in the GNT

Proverbs 30 in the HARY

Proverbs 30 in the HNT

Proverbs 30 in the IRVA

Proverbs 30 in the IRVB

Proverbs 30 in the IRVG

Proverbs 30 in the IRVH

Proverbs 30 in the IRVK

Proverbs 30 in the IRVM

Proverbs 30 in the IRVM2

Proverbs 30 in the IRVO

Proverbs 30 in the IRVP

Proverbs 30 in the IRVT

Proverbs 30 in the IRVT2

Proverbs 30 in the IRVU

Proverbs 30 in the ISVN

Proverbs 30 in the JSNT

Proverbs 30 in the KAPI

Proverbs 30 in the KBT1ETNIK

Proverbs 30 in the KBV

Proverbs 30 in the KJV

Proverbs 30 in the KNFD

Proverbs 30 in the LBA

Proverbs 30 in the LBLA

Proverbs 30 in the LNT

Proverbs 30 in the LSV

Proverbs 30 in the MAAL

Proverbs 30 in the MBV

Proverbs 30 in the MBV2

Proverbs 30 in the MHNT

Proverbs 30 in the MKNFD

Proverbs 30 in the MNG

Proverbs 30 in the MNT

Proverbs 30 in the MNT2

Proverbs 30 in the MRS1T

Proverbs 30 in the NAA

Proverbs 30 in the NASB

Proverbs 30 in the NBLA

Proverbs 30 in the NBS

Proverbs 30 in the NBVTP

Proverbs 30 in the NET2

Proverbs 30 in the NIV11

Proverbs 30 in the NNT

Proverbs 30 in the NNT2

Proverbs 30 in the NNT3

Proverbs 30 in the PDDPT

Proverbs 30 in the PFNT

Proverbs 30 in the RMNT

Proverbs 30 in the SBIAS

Proverbs 30 in the SBIBS

Proverbs 30 in the SBIBS2

Proverbs 30 in the SBICS

Proverbs 30 in the SBIDS

Proverbs 30 in the SBIGS

Proverbs 30 in the SBIHS

Proverbs 30 in the SBIIS

Proverbs 30 in the SBIIS2

Proverbs 30 in the SBIIS3

Proverbs 30 in the SBIKS

Proverbs 30 in the SBIKS2

Proverbs 30 in the SBIMS

Proverbs 30 in the SBIOS

Proverbs 30 in the SBIPS

Proverbs 30 in the SBISS

Proverbs 30 in the SBITS

Proverbs 30 in the SBITS2

Proverbs 30 in the SBITS3

Proverbs 30 in the SBITS4

Proverbs 30 in the SBIUS

Proverbs 30 in the SBIVS

Proverbs 30 in the SBT

Proverbs 30 in the SBT1E

Proverbs 30 in the SCHL

Proverbs 30 in the SNT

Proverbs 30 in the SUSU

Proverbs 30 in the SUSU2

Proverbs 30 in the SYNO

Proverbs 30 in the TBIAOTANT

Proverbs 30 in the TBT1E

Proverbs 30 in the TBT1E2

Proverbs 30 in the TFTIP

Proverbs 30 in the TFTU

Proverbs 30 in the TGNTATF3T

Proverbs 30 in the THAI

Proverbs 30 in the TNFD

Proverbs 30 in the TNT

Proverbs 30 in the TNTIK

Proverbs 30 in the TNTIL

Proverbs 30 in the TNTIN

Proverbs 30 in the TNTIP

Proverbs 30 in the TNTIZ

Proverbs 30 in the TOMA

Proverbs 30 in the TTENT

Proverbs 30 in the UBG

Proverbs 30 in the UGV

Proverbs 30 in the UGV2

Proverbs 30 in the UGV3

Proverbs 30 in the VBL

Proverbs 30 in the VDCC

Proverbs 30 in the YALU

Proverbs 30 in the YAPE

Proverbs 30 in the YBVTP

Proverbs 30 in the ZBP