Psalms 101 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Dawudi. 1 Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;nnaayimbiranga ggwe, Ayi MUKAMA. 2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yangenga siriiko kya kunenyezebwa. 3 Sijjanga kwereetereza kintukyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;sijjanga kubyeteekako. 4 Sijjanga kuba mukuusa;ekibi nnaakyewaliranga ddala. 5 Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalalasijja kubigumiikirizanga. 6 Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,balyoke babeerenga nange;akola eby’obutuukirivuy’anamperezanga. 7 Atayogera mazimataabeerenga mu nnyumba yange.Omuntu alimbasirimuganya kwongera kubeera nange. 8 Buli nkya nnaazikirizangaabakola ebibi bonna mu nsi,bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddalamu kibuga kya MUKAMA.