Psalms 104 (BOLCB)
1 Weebaze MUKAMA, ggwe emmeeme yange. Ayi MUKAMA Katonda wange, oli mukulu nnyo;ojjudde obukulu n’ekitiibwa. 2 Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalon’abamba eggulu ng’eweema, 3 n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;ebire abifuula amagaali ge,ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo. 4 Afuula empewo ababaka be,n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be. 5 Yassaawo ensi ku misingi gyayo;teyinza kunyeenyezebwa. 6 Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene. 7 Bwe wagaboggolera ne gadduka;bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala; 8 gaakulukutira ku nsozi ennene,ne gakkirira wansi mu biwonvumu bifo bye wagategekera. 9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,na kuddayo kubuutikira nsi. 10 Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;ne gakulukutira wakati w’ensozi. 11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;n’endogoyi ne gazimalako ennyonta. 12 Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,ne biyimbira mu matabi. 13 Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo. 14 Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,n’ebirime abantu bye balima,balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka. 15 Ne wayini okusanyusa omutima gwe,n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,n’emmere okumuwa obulamu. 16 Emiti gya MUKAMA gifuna amazzi mangi;gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba. 17 Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;ne ssekanyolya asula mu miti omwo. 18 Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu. 19 Wakola omwezi okutegeeza ebiro;n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku. 20 Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo. 21 Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda. 22 Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyumane zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo. 23 Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,ne bakola okutuusa akawungeezi. 24 Ayi MUKAMA, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;ensi ejjudde ebitonde byo. 25 Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,ejjudde ebitonde ebitabalika,ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono. 26 Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo. 27 Ebyo byonna bitunuulira ggweokubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse. 28 Bw’ogibiwa,nga bigikuŋŋaanya;bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungine bikkusibwa. 29 Bw’okweka amaaso gone byeraliikirira nnyo;bw’obiggyamu omukka nga bifa,nga biddayo mu nfuufu. 30 Bw’oweereza Omwoyo wo,ne bifuna obulamu obuggya;olwo ensi n’ogizza buggya. 31 Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;era MUKAMA asanyukirenga ebyo bye yakola. 32 Atunuulira ensi, n’ekankana;bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka. 33 Nnaayimbiranga MUKAMA obulamu bwange bwonna;nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu. 34 Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;kubanga mu MUKAMA mwe neeyagalira. 35 Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;aboonoonyi baleme kulabikirako ddala. Weebaze MUKAMA, gwe emmeeme yange. Mumutenderezenga MUKAMA.
In Other Versions
Psalms 104 in the ANGEFD
Psalms 104 in the ANTPNG2D
Psalms 104 in the AS21
Psalms 104 in the BAGH
Psalms 104 in the BBPNG
Psalms 104 in the BBT1E
Psalms 104 in the BDS
Psalms 104 in the BEV
Psalms 104 in the BHAD
Psalms 104 in the BIB
Psalms 104 in the BLPT
Psalms 104 in the BNT
Psalms 104 in the BNTABOOT
Psalms 104 in the BNTLV
Psalms 104 in the BOATCB
Psalms 104 in the BOATCB2
Psalms 104 in the BOBCV
Psalms 104 in the BOCNT
Psalms 104 in the BOECS
Psalms 104 in the BOGWICC
Psalms 104 in the BOHCB
Psalms 104 in the BOHCV
Psalms 104 in the BOHLNT
Psalms 104 in the BOHNTLTAL
Psalms 104 in the BOICB
Psalms 104 in the BOILNTAP
Psalms 104 in the BOITCV
Psalms 104 in the BOKCV
Psalms 104 in the BOKCV2
Psalms 104 in the BOKHWOG
Psalms 104 in the BOKSSV
Psalms 104 in the BOLCB2
Psalms 104 in the BOMCV
Psalms 104 in the BONAV
Psalms 104 in the BONCB
Psalms 104 in the BONLT
Psalms 104 in the BONUT2
Psalms 104 in the BOPLNT
Psalms 104 in the BOSCB
Psalms 104 in the BOSNC
Psalms 104 in the BOTLNT
Psalms 104 in the BOVCB
Psalms 104 in the BOYCB
Psalms 104 in the BPBB
Psalms 104 in the BPH
Psalms 104 in the BSB
Psalms 104 in the CCB
Psalms 104 in the CUV
Psalms 104 in the CUVS
Psalms 104 in the DBT
Psalms 104 in the DGDNT
Psalms 104 in the DHNT
Psalms 104 in the DNT
Psalms 104 in the ELBE
Psalms 104 in the EMTV
Psalms 104 in the ESV
Psalms 104 in the FBV
Psalms 104 in the FEB
Psalms 104 in the GGMNT
Psalms 104 in the GNT
Psalms 104 in the HARY
Psalms 104 in the HNT
Psalms 104 in the IRVA
Psalms 104 in the IRVB
Psalms 104 in the IRVG
Psalms 104 in the IRVH
Psalms 104 in the IRVK
Psalms 104 in the IRVM
Psalms 104 in the IRVM2
Psalms 104 in the IRVO
Psalms 104 in the IRVP
Psalms 104 in the IRVT
Psalms 104 in the IRVT2
Psalms 104 in the IRVU
Psalms 104 in the ISVN
Psalms 104 in the JSNT
Psalms 104 in the KAPI
Psalms 104 in the KBT1ETNIK
Psalms 104 in the KBV
Psalms 104 in the KJV
Psalms 104 in the KNFD
Psalms 104 in the LBA
Psalms 104 in the LBLA
Psalms 104 in the LNT
Psalms 104 in the LSV
Psalms 104 in the MAAL
Psalms 104 in the MBV
Psalms 104 in the MBV2
Psalms 104 in the MHNT
Psalms 104 in the MKNFD
Psalms 104 in the MNG
Psalms 104 in the MNT
Psalms 104 in the MNT2
Psalms 104 in the MRS1T
Psalms 104 in the NAA
Psalms 104 in the NASB
Psalms 104 in the NBLA
Psalms 104 in the NBS
Psalms 104 in the NBVTP
Psalms 104 in the NET2
Psalms 104 in the NIV11
Psalms 104 in the NNT
Psalms 104 in the NNT2
Psalms 104 in the NNT3
Psalms 104 in the PDDPT
Psalms 104 in the PFNT
Psalms 104 in the RMNT
Psalms 104 in the SBIAS
Psalms 104 in the SBIBS
Psalms 104 in the SBIBS2
Psalms 104 in the SBICS
Psalms 104 in the SBIDS
Psalms 104 in the SBIGS
Psalms 104 in the SBIHS
Psalms 104 in the SBIIS
Psalms 104 in the SBIIS2
Psalms 104 in the SBIIS3
Psalms 104 in the SBIKS
Psalms 104 in the SBIKS2
Psalms 104 in the SBIMS
Psalms 104 in the SBIOS
Psalms 104 in the SBIPS
Psalms 104 in the SBISS
Psalms 104 in the SBITS
Psalms 104 in the SBITS2
Psalms 104 in the SBITS3
Psalms 104 in the SBITS4
Psalms 104 in the SBIUS
Psalms 104 in the SBIVS
Psalms 104 in the SBT
Psalms 104 in the SBT1E
Psalms 104 in the SCHL
Psalms 104 in the SNT
Psalms 104 in the SUSU
Psalms 104 in the SUSU2
Psalms 104 in the SYNO
Psalms 104 in the TBIAOTANT
Psalms 104 in the TBT1E
Psalms 104 in the TBT1E2
Psalms 104 in the TFTIP
Psalms 104 in the TFTU
Psalms 104 in the TGNTATF3T
Psalms 104 in the THAI
Psalms 104 in the TNFD
Psalms 104 in the TNT
Psalms 104 in the TNTIK
Psalms 104 in the TNTIL
Psalms 104 in the TNTIN
Psalms 104 in the TNTIP
Psalms 104 in the TNTIZ
Psalms 104 in the TOMA
Psalms 104 in the TTENT
Psalms 104 in the UBG
Psalms 104 in the UGV
Psalms 104 in the UGV2
Psalms 104 in the UGV3
Psalms 104 in the VBL
Psalms 104 in the VDCC
Psalms 104 in the YALU
Psalms 104 in the YAPE
Psalms 104 in the YBVTP
Psalms 104 in the ZBP