Psalms 120 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Nkoowoola MUKAMA nga ndi mu nnaku,era n’annyanukula. 2 Omponye, Ayi MUKAMA,emimwa egy’obulimba,n’olulimi olw’obukuusa. 3 Onooweebwa ki,era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa? 4 Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa. 5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;nsula mu weema za Kedali! 6 Ndudde nnyomu bantu abakyawa eddembe. 7 Nze njagala mirembe,naye bwe njogera bo baagala ntalo.