Psalms 121 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,okubeerwa kwange kuva wa? 2 Okubeerwa kwange kuva eri MUKAMA,eyakola eggulu n’ensi. 3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;oyo akukuuma taabongootenga. 4 Laba, oyo akuuma Isirayiritaabongootenga so teyeebakenga. 5 MUKAMA ye mukuumi wo; MUKAMA y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; 6 emisana enjuba teekwokyenga,wadde omwezi ekiro. 7 MUKAMA anaakukuumanga mu buli kabi;anaalabiriranga obulamu bwo. 8 MUKAMA anaakukumanga amagenda go n’amadda,okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.