Psalms 131 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1 Ayi MUKAMA siri wa malala,so n’amaaso gange tegeegulumiza.Siruubirira bintu binsukiriddenewaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga. 2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizzang’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo. 3 Ayi Isirayiri, weesigenga MUKAMAokuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.