Psalms 133 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1 Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,abooluganda okubeera awamu nga batabaganye. 2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Aloonine gakulukutira mu kirevu;gakulukutira mu kirevu kya Alooni,ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye. 3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;kubanga eyo MUKAMA gy’agabira omukisan’obulamu emirembe gyonna.