Psalms 82 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Asafu. 1 Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,ng’alamula bakatonda. 2 Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,nga musalira abanafu? 3 Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya. 4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi. 5 Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.Batambulira mu kizikiza;emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa. 6 Njogedde nti, Muli bakatonda,era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. 7 “Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.” 8 Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;kubanga amawanga gonna gago.