Revelation 1 (BOLCB)

1 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana 2 eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba. 3 Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo. 4 Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka, 5 era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6 n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina. 7 “Laba, ajja n’ebire,na buli liiso lirimulaba,n’abaamufumita balimulaba,era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.”Weewaawo. Amiina! 8 “Nze Alufa ne Omega,” bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.” 9 Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu. 10 Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe, 11 nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.” 12 Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu. 13 Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu. 14 Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro. 15 Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi. 16 Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo. 17 Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero, 18 era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe. 19 “Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo. 20 Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”

In Other Versions

Revelation 1 in the ANGEFD

Revelation 1 in the ANTPNG2D

Revelation 1 in the AS21

Revelation 1 in the BAGH

Revelation 1 in the BBPNG

Revelation 1 in the BBT1E

Revelation 1 in the BDS

Revelation 1 in the BEV

Revelation 1 in the BHAD

Revelation 1 in the BIB

Revelation 1 in the BLPT

Revelation 1 in the BNT

Revelation 1 in the BNTABOOT

Revelation 1 in the BNTLV

Revelation 1 in the BOATCB

Revelation 1 in the BOATCB2

Revelation 1 in the BOBCV

Revelation 1 in the BOCNT

Revelation 1 in the BOECS

Revelation 1 in the BOGWICC

Revelation 1 in the BOHCB

Revelation 1 in the BOHCV

Revelation 1 in the BOHLNT

Revelation 1 in the BOHNTLTAL

Revelation 1 in the BOICB

Revelation 1 in the BOILNTAP

Revelation 1 in the BOITCV

Revelation 1 in the BOKCV

Revelation 1 in the BOKCV2

Revelation 1 in the BOKHWOG

Revelation 1 in the BOKSSV

Revelation 1 in the BOLCB2

Revelation 1 in the BOMCV

Revelation 1 in the BONAV

Revelation 1 in the BONCB

Revelation 1 in the BONLT

Revelation 1 in the BONUT2

Revelation 1 in the BOPLNT

Revelation 1 in the BOSCB

Revelation 1 in the BOSNC

Revelation 1 in the BOTLNT

Revelation 1 in the BOVCB

Revelation 1 in the BOYCB

Revelation 1 in the BPBB

Revelation 1 in the BPH

Revelation 1 in the BSB

Revelation 1 in the CCB

Revelation 1 in the CUV

Revelation 1 in the CUVS

Revelation 1 in the DBT

Revelation 1 in the DGDNT

Revelation 1 in the DHNT

Revelation 1 in the DNT

Revelation 1 in the ELBE

Revelation 1 in the EMTV

Revelation 1 in the ESV

Revelation 1 in the FBV

Revelation 1 in the FEB

Revelation 1 in the GGMNT

Revelation 1 in the GNT

Revelation 1 in the HARY

Revelation 1 in the HNT

Revelation 1 in the IRVA

Revelation 1 in the IRVB

Revelation 1 in the IRVG

Revelation 1 in the IRVH

Revelation 1 in the IRVK

Revelation 1 in the IRVM

Revelation 1 in the IRVM2

Revelation 1 in the IRVO

Revelation 1 in the IRVP

Revelation 1 in the IRVT

Revelation 1 in the IRVT2

Revelation 1 in the IRVU

Revelation 1 in the ISVN

Revelation 1 in the JSNT

Revelation 1 in the KAPI

Revelation 1 in the KBT1ETNIK

Revelation 1 in the KBV

Revelation 1 in the KJV

Revelation 1 in the KNFD

Revelation 1 in the LBA

Revelation 1 in the LBLA

Revelation 1 in the LNT

Revelation 1 in the LSV

Revelation 1 in the MAAL

Revelation 1 in the MBV

Revelation 1 in the MBV2

Revelation 1 in the MHNT

Revelation 1 in the MKNFD

Revelation 1 in the MNG

Revelation 1 in the MNT

Revelation 1 in the MNT2

Revelation 1 in the MRS1T

Revelation 1 in the NAA

Revelation 1 in the NASB

Revelation 1 in the NBLA

Revelation 1 in the NBS

Revelation 1 in the NBVTP

Revelation 1 in the NET2

Revelation 1 in the NIV11

Revelation 1 in the NNT

Revelation 1 in the NNT2

Revelation 1 in the NNT3

Revelation 1 in the PDDPT

Revelation 1 in the PFNT

Revelation 1 in the RMNT

Revelation 1 in the SBIAS

Revelation 1 in the SBIBS

Revelation 1 in the SBIBS2

Revelation 1 in the SBICS

Revelation 1 in the SBIDS

Revelation 1 in the SBIGS

Revelation 1 in the SBIHS

Revelation 1 in the SBIIS

Revelation 1 in the SBIIS2

Revelation 1 in the SBIIS3

Revelation 1 in the SBIKS

Revelation 1 in the SBIKS2

Revelation 1 in the SBIMS

Revelation 1 in the SBIOS

Revelation 1 in the SBIPS

Revelation 1 in the SBISS

Revelation 1 in the SBITS

Revelation 1 in the SBITS2

Revelation 1 in the SBITS3

Revelation 1 in the SBITS4

Revelation 1 in the SBIUS

Revelation 1 in the SBIVS

Revelation 1 in the SBT

Revelation 1 in the SBT1E

Revelation 1 in the SCHL

Revelation 1 in the SNT

Revelation 1 in the SUSU

Revelation 1 in the SUSU2

Revelation 1 in the SYNO

Revelation 1 in the TBIAOTANT

Revelation 1 in the TBT1E

Revelation 1 in the TBT1E2

Revelation 1 in the TFTIP

Revelation 1 in the TFTU

Revelation 1 in the TGNTATF3T

Revelation 1 in the THAI

Revelation 1 in the TNFD

Revelation 1 in the TNT

Revelation 1 in the TNTIK

Revelation 1 in the TNTIL

Revelation 1 in the TNTIN

Revelation 1 in the TNTIP

Revelation 1 in the TNTIZ

Revelation 1 in the TOMA

Revelation 1 in the TTENT

Revelation 1 in the UBG

Revelation 1 in the UGV

Revelation 1 in the UGV2

Revelation 1 in the UGV3

Revelation 1 in the VBL

Revelation 1 in the VDCC

Revelation 1 in the YALU

Revelation 1 in the YAPE

Revelation 1 in the YBVTP

Revelation 1 in the ZBP