Revelation 11 (BOLCB)
1 Ne mpeebwa olumuli oluli ng’omuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda n’ekyoto n’abo abasinziza mu Yeekaalu. 2 Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). 3 Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” 4 Abajulirwa abo ababiri gy’emiti emizeeyituuni ebiri era ebikondo by’ettaala ebibiri, abayimirira mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. 5 Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. 6 Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde. 7 Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. 8 Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo 9 Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika. 10 Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo. 11 Naye oluvannyuma lw’ennaku essatu n’ekitundu omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba. 12 Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba. 13 Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu. 14 Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu. 15 Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuusebwa Mukama waffe ne Kristo we,era anaafuganga emirembe n’emirembe.” 16 Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 nga bagamba nti,“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,ggwe aliwo kati era eyaliwo,kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,Era ofuga. 18 Amawanga gaakunyiigira,naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyoera ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyoabakulu n’abato,n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.” 19 Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.
In Other Versions
Revelation 11 in the ANGEFD
Revelation 11 in the ANTPNG2D
Revelation 11 in the AS21
Revelation 11 in the BAGH
Revelation 11 in the BBPNG
Revelation 11 in the BBT1E
Revelation 11 in the BDS
Revelation 11 in the BEV
Revelation 11 in the BHAD
Revelation 11 in the BIB
Revelation 11 in the BLPT
Revelation 11 in the BNT
Revelation 11 in the BNTABOOT
Revelation 11 in the BNTLV
Revelation 11 in the BOATCB
Revelation 11 in the BOATCB2
Revelation 11 in the BOBCV
Revelation 11 in the BOCNT
Revelation 11 in the BOECS
Revelation 11 in the BOGWICC
Revelation 11 in the BOHCB
Revelation 11 in the BOHCV
Revelation 11 in the BOHLNT
Revelation 11 in the BOHNTLTAL
Revelation 11 in the BOICB
Revelation 11 in the BOILNTAP
Revelation 11 in the BOITCV
Revelation 11 in the BOKCV
Revelation 11 in the BOKCV2
Revelation 11 in the BOKHWOG
Revelation 11 in the BOKSSV
Revelation 11 in the BOLCB2
Revelation 11 in the BOMCV
Revelation 11 in the BONAV
Revelation 11 in the BONCB
Revelation 11 in the BONLT
Revelation 11 in the BONUT2
Revelation 11 in the BOPLNT
Revelation 11 in the BOSCB
Revelation 11 in the BOSNC
Revelation 11 in the BOTLNT
Revelation 11 in the BOVCB
Revelation 11 in the BOYCB
Revelation 11 in the BPBB
Revelation 11 in the BPH
Revelation 11 in the BSB
Revelation 11 in the CCB
Revelation 11 in the CUV
Revelation 11 in the CUVS
Revelation 11 in the DBT
Revelation 11 in the DGDNT
Revelation 11 in the DHNT
Revelation 11 in the DNT
Revelation 11 in the ELBE
Revelation 11 in the EMTV
Revelation 11 in the ESV
Revelation 11 in the FBV
Revelation 11 in the FEB
Revelation 11 in the GGMNT
Revelation 11 in the GNT
Revelation 11 in the HARY
Revelation 11 in the HNT
Revelation 11 in the IRVA
Revelation 11 in the IRVB
Revelation 11 in the IRVG
Revelation 11 in the IRVH
Revelation 11 in the IRVK
Revelation 11 in the IRVM
Revelation 11 in the IRVM2
Revelation 11 in the IRVO
Revelation 11 in the IRVP
Revelation 11 in the IRVT
Revelation 11 in the IRVT2
Revelation 11 in the IRVU
Revelation 11 in the ISVN
Revelation 11 in the JSNT
Revelation 11 in the KAPI
Revelation 11 in the KBT1ETNIK
Revelation 11 in the KBV
Revelation 11 in the KJV
Revelation 11 in the KNFD
Revelation 11 in the LBA
Revelation 11 in the LBLA
Revelation 11 in the LNT
Revelation 11 in the LSV
Revelation 11 in the MAAL
Revelation 11 in the MBV
Revelation 11 in the MBV2
Revelation 11 in the MHNT
Revelation 11 in the MKNFD
Revelation 11 in the MNG
Revelation 11 in the MNT
Revelation 11 in the MNT2
Revelation 11 in the MRS1T
Revelation 11 in the NAA
Revelation 11 in the NASB
Revelation 11 in the NBLA
Revelation 11 in the NBS
Revelation 11 in the NBVTP
Revelation 11 in the NET2
Revelation 11 in the NIV11
Revelation 11 in the NNT
Revelation 11 in the NNT2
Revelation 11 in the NNT3
Revelation 11 in the PDDPT
Revelation 11 in the PFNT
Revelation 11 in the RMNT
Revelation 11 in the SBIAS
Revelation 11 in the SBIBS
Revelation 11 in the SBIBS2
Revelation 11 in the SBICS
Revelation 11 in the SBIDS
Revelation 11 in the SBIGS
Revelation 11 in the SBIHS
Revelation 11 in the SBIIS
Revelation 11 in the SBIIS2
Revelation 11 in the SBIIS3
Revelation 11 in the SBIKS
Revelation 11 in the SBIKS2
Revelation 11 in the SBIMS
Revelation 11 in the SBIOS
Revelation 11 in the SBIPS
Revelation 11 in the SBISS
Revelation 11 in the SBITS
Revelation 11 in the SBITS2
Revelation 11 in the SBITS3
Revelation 11 in the SBITS4
Revelation 11 in the SBIUS
Revelation 11 in the SBIVS
Revelation 11 in the SBT
Revelation 11 in the SBT1E
Revelation 11 in the SCHL
Revelation 11 in the SNT
Revelation 11 in the SUSU
Revelation 11 in the SUSU2
Revelation 11 in the SYNO
Revelation 11 in the TBIAOTANT
Revelation 11 in the TBT1E
Revelation 11 in the TBT1E2
Revelation 11 in the TFTIP
Revelation 11 in the TFTU
Revelation 11 in the TGNTATF3T
Revelation 11 in the THAI
Revelation 11 in the TNFD
Revelation 11 in the TNT
Revelation 11 in the TNTIK
Revelation 11 in the TNTIL
Revelation 11 in the TNTIN
Revelation 11 in the TNTIP
Revelation 11 in the TNTIZ
Revelation 11 in the TOMA
Revelation 11 in the TTENT
Revelation 11 in the UBG
Revelation 11 in the UGV
Revelation 11 in the UGV2
Revelation 11 in the UGV3
Revelation 11 in the VBL
Revelation 11 in the VDCC
Revelation 11 in the YALU
Revelation 11 in the YAPE
Revelation 11 in the YBVTP
Revelation 11 in the ZBP