Revelation 2 (BOLCB)
1 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu. 2 Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa. 4 Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti nga nange bwe mbikyawa. 7 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda. 8 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu. 11 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri. 12 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera. 14 Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange. 17 Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.” 18 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka. 20 Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri. 24 Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja. 26 Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 ‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
In Other Versions
Revelation 2 in the ANGEFD
Revelation 2 in the ANTPNG2D
Revelation 2 in the AS21
Revelation 2 in the BAGH
Revelation 2 in the BBPNG
Revelation 2 in the BBT1E
Revelation 2 in the BDS
Revelation 2 in the BEV
Revelation 2 in the BHAD
Revelation 2 in the BIB
Revelation 2 in the BLPT
Revelation 2 in the BNT
Revelation 2 in the BNTABOOT
Revelation 2 in the BNTLV
Revelation 2 in the BOATCB
Revelation 2 in the BOATCB2
Revelation 2 in the BOBCV
Revelation 2 in the BOCNT
Revelation 2 in the BOECS
Revelation 2 in the BOGWICC
Revelation 2 in the BOHCB
Revelation 2 in the BOHCV
Revelation 2 in the BOHLNT
Revelation 2 in the BOHNTLTAL
Revelation 2 in the BOICB
Revelation 2 in the BOILNTAP
Revelation 2 in the BOITCV
Revelation 2 in the BOKCV
Revelation 2 in the BOKCV2
Revelation 2 in the BOKHWOG
Revelation 2 in the BOKSSV
Revelation 2 in the BOLCB2
Revelation 2 in the BOMCV
Revelation 2 in the BONAV
Revelation 2 in the BONCB
Revelation 2 in the BONLT
Revelation 2 in the BONUT2
Revelation 2 in the BOPLNT
Revelation 2 in the BOSCB
Revelation 2 in the BOSNC
Revelation 2 in the BOTLNT
Revelation 2 in the BOVCB
Revelation 2 in the BOYCB
Revelation 2 in the BPBB
Revelation 2 in the BPH
Revelation 2 in the BSB
Revelation 2 in the CCB
Revelation 2 in the CUV
Revelation 2 in the CUVS
Revelation 2 in the DBT
Revelation 2 in the DGDNT
Revelation 2 in the DHNT
Revelation 2 in the DNT
Revelation 2 in the ELBE
Revelation 2 in the EMTV
Revelation 2 in the ESV
Revelation 2 in the FBV
Revelation 2 in the FEB
Revelation 2 in the GGMNT
Revelation 2 in the GNT
Revelation 2 in the HARY
Revelation 2 in the HNT
Revelation 2 in the IRVA
Revelation 2 in the IRVB
Revelation 2 in the IRVG
Revelation 2 in the IRVH
Revelation 2 in the IRVK
Revelation 2 in the IRVM
Revelation 2 in the IRVM2
Revelation 2 in the IRVO
Revelation 2 in the IRVP
Revelation 2 in the IRVT
Revelation 2 in the IRVT2
Revelation 2 in the IRVU
Revelation 2 in the ISVN
Revelation 2 in the JSNT
Revelation 2 in the KAPI
Revelation 2 in the KBT1ETNIK
Revelation 2 in the KBV
Revelation 2 in the KJV
Revelation 2 in the KNFD
Revelation 2 in the LBA
Revelation 2 in the LBLA
Revelation 2 in the LNT
Revelation 2 in the LSV
Revelation 2 in the MAAL
Revelation 2 in the MBV
Revelation 2 in the MBV2
Revelation 2 in the MHNT
Revelation 2 in the MKNFD
Revelation 2 in the MNG
Revelation 2 in the MNT
Revelation 2 in the MNT2
Revelation 2 in the MRS1T
Revelation 2 in the NAA
Revelation 2 in the NASB
Revelation 2 in the NBLA
Revelation 2 in the NBS
Revelation 2 in the NBVTP
Revelation 2 in the NET2
Revelation 2 in the NIV11
Revelation 2 in the NNT
Revelation 2 in the NNT2
Revelation 2 in the NNT3
Revelation 2 in the PDDPT
Revelation 2 in the PFNT
Revelation 2 in the RMNT
Revelation 2 in the SBIAS
Revelation 2 in the SBIBS
Revelation 2 in the SBIBS2
Revelation 2 in the SBICS
Revelation 2 in the SBIDS
Revelation 2 in the SBIGS
Revelation 2 in the SBIHS
Revelation 2 in the SBIIS
Revelation 2 in the SBIIS2
Revelation 2 in the SBIIS3
Revelation 2 in the SBIKS
Revelation 2 in the SBIKS2
Revelation 2 in the SBIMS
Revelation 2 in the SBIOS
Revelation 2 in the SBIPS
Revelation 2 in the SBISS
Revelation 2 in the SBITS
Revelation 2 in the SBITS2
Revelation 2 in the SBITS3
Revelation 2 in the SBITS4
Revelation 2 in the SBIUS
Revelation 2 in the SBIVS
Revelation 2 in the SBT
Revelation 2 in the SBT1E
Revelation 2 in the SCHL
Revelation 2 in the SNT
Revelation 2 in the SUSU
Revelation 2 in the SUSU2
Revelation 2 in the SYNO
Revelation 2 in the TBIAOTANT
Revelation 2 in the TBT1E
Revelation 2 in the TBT1E2
Revelation 2 in the TFTIP
Revelation 2 in the TFTU
Revelation 2 in the TGNTATF3T
Revelation 2 in the THAI
Revelation 2 in the TNFD
Revelation 2 in the TNT
Revelation 2 in the TNTIK
Revelation 2 in the TNTIL
Revelation 2 in the TNTIN
Revelation 2 in the TNTIP
Revelation 2 in the TNTIZ
Revelation 2 in the TOMA
Revelation 2 in the TTENT
Revelation 2 in the UBG
Revelation 2 in the UGV
Revelation 2 in the UGV2
Revelation 2 in the UGV3
Revelation 2 in the VBL
Revelation 2 in the VDCC
Revelation 2 in the YALU
Revelation 2 in the YAPE
Revelation 2 in the YBVTP
Revelation 2 in the ZBP