Revelation 4 (BOLCB)
1 Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” 2 Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. 3 Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi. 4 Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. 5 Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda. 6 Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola. 7 Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. 8 Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,Mukama Katonda Ayinzabyonna,Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.” 9 Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, 10 abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti, 11 “Mukama waffe era Katonda waffe,osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,kubanga gwe watonda ebintu byonnaera byonna byatondebwa ku lulwoera gwe wasiima okubiteekawo.”
In Other Versions
Revelation 4 in the ANGEFD
Revelation 4 in the ANTPNG2D
Revelation 4 in the AS21
Revelation 4 in the BAGH
Revelation 4 in the BBPNG
Revelation 4 in the BBT1E
Revelation 4 in the BDS
Revelation 4 in the BEV
Revelation 4 in the BHAD
Revelation 4 in the BIB
Revelation 4 in the BLPT
Revelation 4 in the BNT
Revelation 4 in the BNTABOOT
Revelation 4 in the BNTLV
Revelation 4 in the BOATCB
Revelation 4 in the BOATCB2
Revelation 4 in the BOBCV
Revelation 4 in the BOCNT
Revelation 4 in the BOECS
Revelation 4 in the BOGWICC
Revelation 4 in the BOHCB
Revelation 4 in the BOHCV
Revelation 4 in the BOHLNT
Revelation 4 in the BOHNTLTAL
Revelation 4 in the BOICB
Revelation 4 in the BOILNTAP
Revelation 4 in the BOITCV
Revelation 4 in the BOKCV
Revelation 4 in the BOKCV2
Revelation 4 in the BOKHWOG
Revelation 4 in the BOKSSV
Revelation 4 in the BOLCB2
Revelation 4 in the BOMCV
Revelation 4 in the BONAV
Revelation 4 in the BONCB
Revelation 4 in the BONLT
Revelation 4 in the BONUT2
Revelation 4 in the BOPLNT
Revelation 4 in the BOSCB
Revelation 4 in the BOSNC
Revelation 4 in the BOTLNT
Revelation 4 in the BOVCB
Revelation 4 in the BOYCB
Revelation 4 in the BPBB
Revelation 4 in the BPH
Revelation 4 in the BSB
Revelation 4 in the CCB
Revelation 4 in the CUV
Revelation 4 in the CUVS
Revelation 4 in the DBT
Revelation 4 in the DGDNT
Revelation 4 in the DHNT
Revelation 4 in the DNT
Revelation 4 in the ELBE
Revelation 4 in the EMTV
Revelation 4 in the ESV
Revelation 4 in the FBV
Revelation 4 in the FEB
Revelation 4 in the GGMNT
Revelation 4 in the GNT
Revelation 4 in the HARY
Revelation 4 in the HNT
Revelation 4 in the IRVA
Revelation 4 in the IRVB
Revelation 4 in the IRVG
Revelation 4 in the IRVH
Revelation 4 in the IRVK
Revelation 4 in the IRVM
Revelation 4 in the IRVM2
Revelation 4 in the IRVO
Revelation 4 in the IRVP
Revelation 4 in the IRVT
Revelation 4 in the IRVT2
Revelation 4 in the IRVU
Revelation 4 in the ISVN
Revelation 4 in the JSNT
Revelation 4 in the KAPI
Revelation 4 in the KBT1ETNIK
Revelation 4 in the KBV
Revelation 4 in the KJV
Revelation 4 in the KNFD
Revelation 4 in the LBA
Revelation 4 in the LBLA
Revelation 4 in the LNT
Revelation 4 in the LSV
Revelation 4 in the MAAL
Revelation 4 in the MBV
Revelation 4 in the MBV2
Revelation 4 in the MHNT
Revelation 4 in the MKNFD
Revelation 4 in the MNG
Revelation 4 in the MNT
Revelation 4 in the MNT2
Revelation 4 in the MRS1T
Revelation 4 in the NAA
Revelation 4 in the NASB
Revelation 4 in the NBLA
Revelation 4 in the NBS
Revelation 4 in the NBVTP
Revelation 4 in the NET2
Revelation 4 in the NIV11
Revelation 4 in the NNT
Revelation 4 in the NNT2
Revelation 4 in the NNT3
Revelation 4 in the PDDPT
Revelation 4 in the PFNT
Revelation 4 in the RMNT
Revelation 4 in the SBIAS
Revelation 4 in the SBIBS
Revelation 4 in the SBIBS2
Revelation 4 in the SBICS
Revelation 4 in the SBIDS
Revelation 4 in the SBIGS
Revelation 4 in the SBIHS
Revelation 4 in the SBIIS
Revelation 4 in the SBIIS2
Revelation 4 in the SBIIS3
Revelation 4 in the SBIKS
Revelation 4 in the SBIKS2
Revelation 4 in the SBIMS
Revelation 4 in the SBIOS
Revelation 4 in the SBIPS
Revelation 4 in the SBISS
Revelation 4 in the SBITS
Revelation 4 in the SBITS2
Revelation 4 in the SBITS3
Revelation 4 in the SBITS4
Revelation 4 in the SBIUS
Revelation 4 in the SBIVS
Revelation 4 in the SBT
Revelation 4 in the SBT1E
Revelation 4 in the SCHL
Revelation 4 in the SNT
Revelation 4 in the SUSU
Revelation 4 in the SUSU2
Revelation 4 in the SYNO
Revelation 4 in the TBIAOTANT
Revelation 4 in the TBT1E
Revelation 4 in the TBT1E2
Revelation 4 in the TFTIP
Revelation 4 in the TFTU
Revelation 4 in the TGNTATF3T
Revelation 4 in the THAI
Revelation 4 in the TNFD
Revelation 4 in the TNT
Revelation 4 in the TNTIK
Revelation 4 in the TNTIL
Revelation 4 in the TNTIN
Revelation 4 in the TNTIP
Revelation 4 in the TNTIZ
Revelation 4 in the TOMA
Revelation 4 in the TTENT
Revelation 4 in the UBG
Revelation 4 in the UGV
Revelation 4 in the UGV2
Revelation 4 in the UGV3
Revelation 4 in the VBL
Revelation 4 in the VDCC
Revelation 4 in the YALU
Revelation 4 in the YAPE
Revelation 4 in the YBVTP
Revelation 4 in the ZBP