Romans 15 (BOLCB)

1 Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka. 2 Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza. 3 Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.” 4 Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi. 5 Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, 6 mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. 7 Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 8 Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 9 n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,era ne ntendereza erinnya lyo.” 10 Era n’ayongera n’agamba nti:“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.” 11 Era nate nti,“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,era abantu bonna bamutenderezenga.” 12 Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijjaera alisituka okufuga Abaamawanga,era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.” 13 Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu. 14 Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana. 15 Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda, 16 kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu. 17 Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda; 18 kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa, 19 ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu. 20 Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala, 21 nga bwe kyawandiikibwa nti,“Abo abatategeezebwanga bimufaako baliraba,n’abo abatawulirangako balitegeera.” 22 Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli; 23 naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo, 24 bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka. 25 Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu. 26 Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi. 27 Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri. 28 Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya. 29 Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja n’omukisa gwa Kristo mu bujjuvu. 30 Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda, 31 mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi, 32 ndyoke nsobole okujja gye muli olw’okwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu. 33 Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.

In Other Versions

Romans 15 in the ANGEFD

Romans 15 in the ANTPNG2D

Romans 15 in the AS21

Romans 15 in the BAGH

Romans 15 in the BBPNG

Romans 15 in the BBT1E

Romans 15 in the BDS

Romans 15 in the BEV

Romans 15 in the BHAD

Romans 15 in the BIB

Romans 15 in the BLPT

Romans 15 in the BNT

Romans 15 in the BNTABOOT

Romans 15 in the BNTLV

Romans 15 in the BOATCB

Romans 15 in the BOATCB2

Romans 15 in the BOBCV

Romans 15 in the BOCNT

Romans 15 in the BOECS

Romans 15 in the BOGWICC

Romans 15 in the BOHCB

Romans 15 in the BOHCV

Romans 15 in the BOHLNT

Romans 15 in the BOHNTLTAL

Romans 15 in the BOICB

Romans 15 in the BOILNTAP

Romans 15 in the BOITCV

Romans 15 in the BOKCV

Romans 15 in the BOKCV2

Romans 15 in the BOKHWOG

Romans 15 in the BOKSSV

Romans 15 in the BOLCB2

Romans 15 in the BOMCV

Romans 15 in the BONAV

Romans 15 in the BONCB

Romans 15 in the BONLT

Romans 15 in the BONUT2

Romans 15 in the BOPLNT

Romans 15 in the BOSCB

Romans 15 in the BOSNC

Romans 15 in the BOTLNT

Romans 15 in the BOVCB

Romans 15 in the BOYCB

Romans 15 in the BPBB

Romans 15 in the BPH

Romans 15 in the BSB

Romans 15 in the CCB

Romans 15 in the CUV

Romans 15 in the CUVS

Romans 15 in the DBT

Romans 15 in the DGDNT

Romans 15 in the DHNT

Romans 15 in the DNT

Romans 15 in the ELBE

Romans 15 in the EMTV

Romans 15 in the ESV

Romans 15 in the FBV

Romans 15 in the FEB

Romans 15 in the GGMNT

Romans 15 in the GNT

Romans 15 in the HARY

Romans 15 in the HNT

Romans 15 in the IRVA

Romans 15 in the IRVB

Romans 15 in the IRVG

Romans 15 in the IRVH

Romans 15 in the IRVK

Romans 15 in the IRVM

Romans 15 in the IRVM2

Romans 15 in the IRVO

Romans 15 in the IRVP

Romans 15 in the IRVT

Romans 15 in the IRVT2

Romans 15 in the IRVU

Romans 15 in the ISVN

Romans 15 in the JSNT

Romans 15 in the KAPI

Romans 15 in the KBT1ETNIK

Romans 15 in the KBV

Romans 15 in the KJV

Romans 15 in the KNFD

Romans 15 in the LBA

Romans 15 in the LBLA

Romans 15 in the LNT

Romans 15 in the LSV

Romans 15 in the MAAL

Romans 15 in the MBV

Romans 15 in the MBV2

Romans 15 in the MHNT

Romans 15 in the MKNFD

Romans 15 in the MNG

Romans 15 in the MNT

Romans 15 in the MNT2

Romans 15 in the MRS1T

Romans 15 in the NAA

Romans 15 in the NASB

Romans 15 in the NBLA

Romans 15 in the NBS

Romans 15 in the NBVTP

Romans 15 in the NET2

Romans 15 in the NIV11

Romans 15 in the NNT

Romans 15 in the NNT2

Romans 15 in the NNT3

Romans 15 in the PDDPT

Romans 15 in the PFNT

Romans 15 in the RMNT

Romans 15 in the SBIAS

Romans 15 in the SBIBS

Romans 15 in the SBIBS2

Romans 15 in the SBICS

Romans 15 in the SBIDS

Romans 15 in the SBIGS

Romans 15 in the SBIHS

Romans 15 in the SBIIS

Romans 15 in the SBIIS2

Romans 15 in the SBIIS3

Romans 15 in the SBIKS

Romans 15 in the SBIKS2

Romans 15 in the SBIMS

Romans 15 in the SBIOS

Romans 15 in the SBIPS

Romans 15 in the SBISS

Romans 15 in the SBITS

Romans 15 in the SBITS2

Romans 15 in the SBITS3

Romans 15 in the SBITS4

Romans 15 in the SBIUS

Romans 15 in the SBIVS

Romans 15 in the SBT

Romans 15 in the SBT1E

Romans 15 in the SCHL

Romans 15 in the SNT

Romans 15 in the SUSU

Romans 15 in the SUSU2

Romans 15 in the SYNO

Romans 15 in the TBIAOTANT

Romans 15 in the TBT1E

Romans 15 in the TBT1E2

Romans 15 in the TFTIP

Romans 15 in the TFTU

Romans 15 in the TGNTATF3T

Romans 15 in the THAI

Romans 15 in the TNFD

Romans 15 in the TNT

Romans 15 in the TNTIK

Romans 15 in the TNTIL

Romans 15 in the TNTIN

Romans 15 in the TNTIP

Romans 15 in the TNTIZ

Romans 15 in the TOMA

Romans 15 in the TTENT

Romans 15 in the UBG

Romans 15 in the UGV

Romans 15 in the UGV2

Romans 15 in the UGV3

Romans 15 in the VBL

Romans 15 in the VDCC

Romans 15 in the YALU

Romans 15 in the YAPE

Romans 15 in the YBVTP

Romans 15 in the ZBP