1 Peter 3 (BOLCB)

1 Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. 2 Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. 3 Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo. 4 Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. 5 Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe. 6 Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna. 7 Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga. 8 Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. 9 Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,n’emimwa gyeokwogera ebyobukuusa. 11 Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo. 12 Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,n’amatu ge gawuliriza bye basaba.Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.” 13 Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 14 Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 15 Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 16 era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 17 Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 19 Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 20 Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 21 Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22 eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.

In Other Versions

1 Peter 3 in the ANGEFD

1 Peter 3 in the ANTPNG2D

1 Peter 3 in the AS21

1 Peter 3 in the BAGH

1 Peter 3 in the BBPNG

1 Peter 3 in the BBT1E

1 Peter 3 in the BDS

1 Peter 3 in the BEV

1 Peter 3 in the BHAD

1 Peter 3 in the BIB

1 Peter 3 in the BLPT

1 Peter 3 in the BNT

1 Peter 3 in the BNTABOOT

1 Peter 3 in the BNTLV

1 Peter 3 in the BOATCB

1 Peter 3 in the BOATCB2

1 Peter 3 in the BOBCV

1 Peter 3 in the BOCNT

1 Peter 3 in the BOECS

1 Peter 3 in the BOGWICC

1 Peter 3 in the BOHCB

1 Peter 3 in the BOHCV

1 Peter 3 in the BOHLNT

1 Peter 3 in the BOHNTLTAL

1 Peter 3 in the BOICB

1 Peter 3 in the BOILNTAP

1 Peter 3 in the BOITCV

1 Peter 3 in the BOKCV

1 Peter 3 in the BOKCV2

1 Peter 3 in the BOKHWOG

1 Peter 3 in the BOKSSV

1 Peter 3 in the BOLCB2

1 Peter 3 in the BOMCV

1 Peter 3 in the BONAV

1 Peter 3 in the BONCB

1 Peter 3 in the BONLT

1 Peter 3 in the BONUT2

1 Peter 3 in the BOPLNT

1 Peter 3 in the BOSCB

1 Peter 3 in the BOSNC

1 Peter 3 in the BOTLNT

1 Peter 3 in the BOVCB

1 Peter 3 in the BOYCB

1 Peter 3 in the BPBB

1 Peter 3 in the BPH

1 Peter 3 in the BSB

1 Peter 3 in the CCB

1 Peter 3 in the CUV

1 Peter 3 in the CUVS

1 Peter 3 in the DBT

1 Peter 3 in the DGDNT

1 Peter 3 in the DHNT

1 Peter 3 in the DNT

1 Peter 3 in the ELBE

1 Peter 3 in the EMTV

1 Peter 3 in the ESV

1 Peter 3 in the FBV

1 Peter 3 in the FEB

1 Peter 3 in the GGMNT

1 Peter 3 in the GNT

1 Peter 3 in the HARY

1 Peter 3 in the HNT

1 Peter 3 in the IRVA

1 Peter 3 in the IRVB

1 Peter 3 in the IRVG

1 Peter 3 in the IRVH

1 Peter 3 in the IRVK

1 Peter 3 in the IRVM

1 Peter 3 in the IRVM2

1 Peter 3 in the IRVO

1 Peter 3 in the IRVP

1 Peter 3 in the IRVT

1 Peter 3 in the IRVT2

1 Peter 3 in the IRVU

1 Peter 3 in the ISVN

1 Peter 3 in the JSNT

1 Peter 3 in the KAPI

1 Peter 3 in the KBT1ETNIK

1 Peter 3 in the KBV

1 Peter 3 in the KJV

1 Peter 3 in the KNFD

1 Peter 3 in the LBA

1 Peter 3 in the LBLA

1 Peter 3 in the LNT

1 Peter 3 in the LSV

1 Peter 3 in the MAAL

1 Peter 3 in the MBV

1 Peter 3 in the MBV2

1 Peter 3 in the MHNT

1 Peter 3 in the MKNFD

1 Peter 3 in the MNG

1 Peter 3 in the MNT

1 Peter 3 in the MNT2

1 Peter 3 in the MRS1T

1 Peter 3 in the NAA

1 Peter 3 in the NASB

1 Peter 3 in the NBLA

1 Peter 3 in the NBS

1 Peter 3 in the NBVTP

1 Peter 3 in the NET2

1 Peter 3 in the NIV11

1 Peter 3 in the NNT

1 Peter 3 in the NNT2

1 Peter 3 in the NNT3

1 Peter 3 in the PDDPT

1 Peter 3 in the PFNT

1 Peter 3 in the RMNT

1 Peter 3 in the SBIAS

1 Peter 3 in the SBIBS

1 Peter 3 in the SBIBS2

1 Peter 3 in the SBICS

1 Peter 3 in the SBIDS

1 Peter 3 in the SBIGS

1 Peter 3 in the SBIHS

1 Peter 3 in the SBIIS

1 Peter 3 in the SBIIS2

1 Peter 3 in the SBIIS3

1 Peter 3 in the SBIKS

1 Peter 3 in the SBIKS2

1 Peter 3 in the SBIMS

1 Peter 3 in the SBIOS

1 Peter 3 in the SBIPS

1 Peter 3 in the SBISS

1 Peter 3 in the SBITS

1 Peter 3 in the SBITS2

1 Peter 3 in the SBITS3

1 Peter 3 in the SBITS4

1 Peter 3 in the SBIUS

1 Peter 3 in the SBIVS

1 Peter 3 in the SBT

1 Peter 3 in the SBT1E

1 Peter 3 in the SCHL

1 Peter 3 in the SNT

1 Peter 3 in the SUSU

1 Peter 3 in the SUSU2

1 Peter 3 in the SYNO

1 Peter 3 in the TBIAOTANT

1 Peter 3 in the TBT1E

1 Peter 3 in the TBT1E2

1 Peter 3 in the TFTIP

1 Peter 3 in the TFTU

1 Peter 3 in the TGNTATF3T

1 Peter 3 in the THAI

1 Peter 3 in the TNFD

1 Peter 3 in the TNT

1 Peter 3 in the TNTIK

1 Peter 3 in the TNTIL

1 Peter 3 in the TNTIN

1 Peter 3 in the TNTIP

1 Peter 3 in the TNTIZ

1 Peter 3 in the TOMA

1 Peter 3 in the TTENT

1 Peter 3 in the UBG

1 Peter 3 in the UGV

1 Peter 3 in the UGV2

1 Peter 3 in the UGV3

1 Peter 3 in the VBL

1 Peter 3 in the VDCC

1 Peter 3 in the YALU

1 Peter 3 in the YAPE

1 Peter 3 in the YBVTP

1 Peter 3 in the ZBP