2 Chronicles 13 (BOLCB)
1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda, 2 era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea.Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. 3 Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana. 4 Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize! 5 Temumanyi nga MUKAMA Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo? 6 Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera. 7 Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina. 8 “Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa MUKAMA obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala? 9 Mwagoba bakabona ba MUKAMA, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala. 10 “Naye ffe, MUKAMA ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza MUKAMA, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi. 11 Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri MUKAMA, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera MUKAMA Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako. 12 Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa MUKAMA, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.” 13 Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda. 14 Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira MUKAMA, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere. 15 Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 16 Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye MUKAMA n’abawaayo mu mukono gwa Yuda. 17 Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa. 18 Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga MUKAMA, Katonda wa bajjajjaabwe. 19 Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. 20 Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, MUKAMA n’alwaza Yerobowaamu n’afa. 21 Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga. 22 Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.
In Other Versions
2 Chronicles 13 in the ANGEFD
2 Chronicles 13 in the ANTPNG2D
2 Chronicles 13 in the AS21
2 Chronicles 13 in the BAGH
2 Chronicles 13 in the BBPNG
2 Chronicles 13 in the BBT1E
2 Chronicles 13 in the BDS
2 Chronicles 13 in the BEV
2 Chronicles 13 in the BHAD
2 Chronicles 13 in the BIB
2 Chronicles 13 in the BLPT
2 Chronicles 13 in the BNT
2 Chronicles 13 in the BNTABOOT
2 Chronicles 13 in the BNTLV
2 Chronicles 13 in the BOATCB
2 Chronicles 13 in the BOATCB2
2 Chronicles 13 in the BOBCV
2 Chronicles 13 in the BOCNT
2 Chronicles 13 in the BOECS
2 Chronicles 13 in the BOGWICC
2 Chronicles 13 in the BOHCB
2 Chronicles 13 in the BOHCV
2 Chronicles 13 in the BOHLNT
2 Chronicles 13 in the BOHNTLTAL
2 Chronicles 13 in the BOICB
2 Chronicles 13 in the BOILNTAP
2 Chronicles 13 in the BOITCV
2 Chronicles 13 in the BOKCV
2 Chronicles 13 in the BOKCV2
2 Chronicles 13 in the BOKHWOG
2 Chronicles 13 in the BOKSSV
2 Chronicles 13 in the BOLCB2
2 Chronicles 13 in the BOMCV
2 Chronicles 13 in the BONAV
2 Chronicles 13 in the BONCB
2 Chronicles 13 in the BONLT
2 Chronicles 13 in the BONUT2
2 Chronicles 13 in the BOPLNT
2 Chronicles 13 in the BOSCB
2 Chronicles 13 in the BOSNC
2 Chronicles 13 in the BOTLNT
2 Chronicles 13 in the BOVCB
2 Chronicles 13 in the BOYCB
2 Chronicles 13 in the BPBB
2 Chronicles 13 in the BPH
2 Chronicles 13 in the BSB
2 Chronicles 13 in the CCB
2 Chronicles 13 in the CUV
2 Chronicles 13 in the CUVS
2 Chronicles 13 in the DBT
2 Chronicles 13 in the DGDNT
2 Chronicles 13 in the DHNT
2 Chronicles 13 in the DNT
2 Chronicles 13 in the ELBE
2 Chronicles 13 in the EMTV
2 Chronicles 13 in the ESV
2 Chronicles 13 in the FBV
2 Chronicles 13 in the FEB
2 Chronicles 13 in the GGMNT
2 Chronicles 13 in the GNT
2 Chronicles 13 in the HARY
2 Chronicles 13 in the HNT
2 Chronicles 13 in the IRVA
2 Chronicles 13 in the IRVB
2 Chronicles 13 in the IRVG
2 Chronicles 13 in the IRVH
2 Chronicles 13 in the IRVK
2 Chronicles 13 in the IRVM
2 Chronicles 13 in the IRVM2
2 Chronicles 13 in the IRVO
2 Chronicles 13 in the IRVP
2 Chronicles 13 in the IRVT
2 Chronicles 13 in the IRVT2
2 Chronicles 13 in the IRVU
2 Chronicles 13 in the ISVN
2 Chronicles 13 in the JSNT
2 Chronicles 13 in the KAPI
2 Chronicles 13 in the KBT1ETNIK
2 Chronicles 13 in the KBV
2 Chronicles 13 in the KJV
2 Chronicles 13 in the KNFD
2 Chronicles 13 in the LBA
2 Chronicles 13 in the LBLA
2 Chronicles 13 in the LNT
2 Chronicles 13 in the LSV
2 Chronicles 13 in the MAAL
2 Chronicles 13 in the MBV
2 Chronicles 13 in the MBV2
2 Chronicles 13 in the MHNT
2 Chronicles 13 in the MKNFD
2 Chronicles 13 in the MNG
2 Chronicles 13 in the MNT
2 Chronicles 13 in the MNT2
2 Chronicles 13 in the MRS1T
2 Chronicles 13 in the NAA
2 Chronicles 13 in the NASB
2 Chronicles 13 in the NBLA
2 Chronicles 13 in the NBS
2 Chronicles 13 in the NBVTP
2 Chronicles 13 in the NET2
2 Chronicles 13 in the NIV11
2 Chronicles 13 in the NNT
2 Chronicles 13 in the NNT2
2 Chronicles 13 in the NNT3
2 Chronicles 13 in the PDDPT
2 Chronicles 13 in the PFNT
2 Chronicles 13 in the RMNT
2 Chronicles 13 in the SBIAS
2 Chronicles 13 in the SBIBS
2 Chronicles 13 in the SBIBS2
2 Chronicles 13 in the SBICS
2 Chronicles 13 in the SBIDS
2 Chronicles 13 in the SBIGS
2 Chronicles 13 in the SBIHS
2 Chronicles 13 in the SBIIS
2 Chronicles 13 in the SBIIS2
2 Chronicles 13 in the SBIIS3
2 Chronicles 13 in the SBIKS
2 Chronicles 13 in the SBIKS2
2 Chronicles 13 in the SBIMS
2 Chronicles 13 in the SBIOS
2 Chronicles 13 in the SBIPS
2 Chronicles 13 in the SBISS
2 Chronicles 13 in the SBITS
2 Chronicles 13 in the SBITS2
2 Chronicles 13 in the SBITS3
2 Chronicles 13 in the SBITS4
2 Chronicles 13 in the SBIUS
2 Chronicles 13 in the SBIVS
2 Chronicles 13 in the SBT
2 Chronicles 13 in the SBT1E
2 Chronicles 13 in the SCHL
2 Chronicles 13 in the SNT
2 Chronicles 13 in the SUSU
2 Chronicles 13 in the SUSU2
2 Chronicles 13 in the SYNO
2 Chronicles 13 in the TBIAOTANT
2 Chronicles 13 in the TBT1E
2 Chronicles 13 in the TBT1E2
2 Chronicles 13 in the TFTIP
2 Chronicles 13 in the TFTU
2 Chronicles 13 in the TGNTATF3T
2 Chronicles 13 in the THAI
2 Chronicles 13 in the TNFD
2 Chronicles 13 in the TNT
2 Chronicles 13 in the TNTIK
2 Chronicles 13 in the TNTIL
2 Chronicles 13 in the TNTIN
2 Chronicles 13 in the TNTIP
2 Chronicles 13 in the TNTIZ
2 Chronicles 13 in the TOMA
2 Chronicles 13 in the TTENT
2 Chronicles 13 in the UBG
2 Chronicles 13 in the UGV
2 Chronicles 13 in the UGV2
2 Chronicles 13 in the UGV3
2 Chronicles 13 in the VBL
2 Chronicles 13 in the VDCC
2 Chronicles 13 in the YALU
2 Chronicles 13 in the YAPE
2 Chronicles 13 in the YBVTP
2 Chronicles 13 in the ZBP