2 Chronicles 23 (BOLCB)

1 Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. 2 Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi. 3 Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga MUKAMA bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. 4 Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki, 5 ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya MUKAMA. 6 Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya MUKAMA wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo MUKAMA kye yalagira. 7 Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.” 8 Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo. 9 N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda. 10 Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu. 11 Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!” 12 Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya MUKAMA. 13 N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!” 14 Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya MUKAMA.” 15 Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo. 16 Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba MUKAMA. 17 Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali. 18 Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya MUKAMA, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. 19 N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya MUKAMA, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira. 20 N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya MUKAMA, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka. 21 Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.

In Other Versions

2 Chronicles 23 in the ANGEFD

2 Chronicles 23 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 23 in the AS21

2 Chronicles 23 in the BAGH

2 Chronicles 23 in the BBPNG

2 Chronicles 23 in the BBT1E

2 Chronicles 23 in the BDS

2 Chronicles 23 in the BEV

2 Chronicles 23 in the BHAD

2 Chronicles 23 in the BIB

2 Chronicles 23 in the BLPT

2 Chronicles 23 in the BNT

2 Chronicles 23 in the BNTABOOT

2 Chronicles 23 in the BNTLV

2 Chronicles 23 in the BOATCB

2 Chronicles 23 in the BOATCB2

2 Chronicles 23 in the BOBCV

2 Chronicles 23 in the BOCNT

2 Chronicles 23 in the BOECS

2 Chronicles 23 in the BOGWICC

2 Chronicles 23 in the BOHCB

2 Chronicles 23 in the BOHCV

2 Chronicles 23 in the BOHLNT

2 Chronicles 23 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 23 in the BOICB

2 Chronicles 23 in the BOILNTAP

2 Chronicles 23 in the BOITCV

2 Chronicles 23 in the BOKCV

2 Chronicles 23 in the BOKCV2

2 Chronicles 23 in the BOKHWOG

2 Chronicles 23 in the BOKSSV

2 Chronicles 23 in the BOLCB2

2 Chronicles 23 in the BOMCV

2 Chronicles 23 in the BONAV

2 Chronicles 23 in the BONCB

2 Chronicles 23 in the BONLT

2 Chronicles 23 in the BONUT2

2 Chronicles 23 in the BOPLNT

2 Chronicles 23 in the BOSCB

2 Chronicles 23 in the BOSNC

2 Chronicles 23 in the BOTLNT

2 Chronicles 23 in the BOVCB

2 Chronicles 23 in the BOYCB

2 Chronicles 23 in the BPBB

2 Chronicles 23 in the BPH

2 Chronicles 23 in the BSB

2 Chronicles 23 in the CCB

2 Chronicles 23 in the CUV

2 Chronicles 23 in the CUVS

2 Chronicles 23 in the DBT

2 Chronicles 23 in the DGDNT

2 Chronicles 23 in the DHNT

2 Chronicles 23 in the DNT

2 Chronicles 23 in the ELBE

2 Chronicles 23 in the EMTV

2 Chronicles 23 in the ESV

2 Chronicles 23 in the FBV

2 Chronicles 23 in the FEB

2 Chronicles 23 in the GGMNT

2 Chronicles 23 in the GNT

2 Chronicles 23 in the HARY

2 Chronicles 23 in the HNT

2 Chronicles 23 in the IRVA

2 Chronicles 23 in the IRVB

2 Chronicles 23 in the IRVG

2 Chronicles 23 in the IRVH

2 Chronicles 23 in the IRVK

2 Chronicles 23 in the IRVM

2 Chronicles 23 in the IRVM2

2 Chronicles 23 in the IRVO

2 Chronicles 23 in the IRVP

2 Chronicles 23 in the IRVT

2 Chronicles 23 in the IRVT2

2 Chronicles 23 in the IRVU

2 Chronicles 23 in the ISVN

2 Chronicles 23 in the JSNT

2 Chronicles 23 in the KAPI

2 Chronicles 23 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 23 in the KBV

2 Chronicles 23 in the KJV

2 Chronicles 23 in the KNFD

2 Chronicles 23 in the LBA

2 Chronicles 23 in the LBLA

2 Chronicles 23 in the LNT

2 Chronicles 23 in the LSV

2 Chronicles 23 in the MAAL

2 Chronicles 23 in the MBV

2 Chronicles 23 in the MBV2

2 Chronicles 23 in the MHNT

2 Chronicles 23 in the MKNFD

2 Chronicles 23 in the MNG

2 Chronicles 23 in the MNT

2 Chronicles 23 in the MNT2

2 Chronicles 23 in the MRS1T

2 Chronicles 23 in the NAA

2 Chronicles 23 in the NASB

2 Chronicles 23 in the NBLA

2 Chronicles 23 in the NBS

2 Chronicles 23 in the NBVTP

2 Chronicles 23 in the NET2

2 Chronicles 23 in the NIV11

2 Chronicles 23 in the NNT

2 Chronicles 23 in the NNT2

2 Chronicles 23 in the NNT3

2 Chronicles 23 in the PDDPT

2 Chronicles 23 in the PFNT

2 Chronicles 23 in the RMNT

2 Chronicles 23 in the SBIAS

2 Chronicles 23 in the SBIBS

2 Chronicles 23 in the SBIBS2

2 Chronicles 23 in the SBICS

2 Chronicles 23 in the SBIDS

2 Chronicles 23 in the SBIGS

2 Chronicles 23 in the SBIHS

2 Chronicles 23 in the SBIIS

2 Chronicles 23 in the SBIIS2

2 Chronicles 23 in the SBIIS3

2 Chronicles 23 in the SBIKS

2 Chronicles 23 in the SBIKS2

2 Chronicles 23 in the SBIMS

2 Chronicles 23 in the SBIOS

2 Chronicles 23 in the SBIPS

2 Chronicles 23 in the SBISS

2 Chronicles 23 in the SBITS

2 Chronicles 23 in the SBITS2

2 Chronicles 23 in the SBITS3

2 Chronicles 23 in the SBITS4

2 Chronicles 23 in the SBIUS

2 Chronicles 23 in the SBIVS

2 Chronicles 23 in the SBT

2 Chronicles 23 in the SBT1E

2 Chronicles 23 in the SCHL

2 Chronicles 23 in the SNT

2 Chronicles 23 in the SUSU

2 Chronicles 23 in the SUSU2

2 Chronicles 23 in the SYNO

2 Chronicles 23 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 23 in the TBT1E

2 Chronicles 23 in the TBT1E2

2 Chronicles 23 in the TFTIP

2 Chronicles 23 in the TFTU

2 Chronicles 23 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 23 in the THAI

2 Chronicles 23 in the TNFD

2 Chronicles 23 in the TNT

2 Chronicles 23 in the TNTIK

2 Chronicles 23 in the TNTIL

2 Chronicles 23 in the TNTIN

2 Chronicles 23 in the TNTIP

2 Chronicles 23 in the TNTIZ

2 Chronicles 23 in the TOMA

2 Chronicles 23 in the TTENT

2 Chronicles 23 in the UBG

2 Chronicles 23 in the UGV

2 Chronicles 23 in the UGV2

2 Chronicles 23 in the UGV3

2 Chronicles 23 in the VBL

2 Chronicles 23 in the VDCC

2 Chronicles 23 in the YALU

2 Chronicles 23 in the YAPE

2 Chronicles 23 in the YBVTP

2 Chronicles 23 in the ZBP