2 Thessalonians 2 (BOLCB)
1 Kaakano abooluganda, ku by’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’okukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba 2 muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olw’omwoyo, newaakubadde olw’ekigambo wadde olw’ebbaluwa, ebirabika ng’ebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse. 3 Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ng’obujeemu busoose okujja, n’omuntu oli ow’obujeemu, omwana w’okuzikirira ng’amaze okulabisibwa, 4 oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda. 5 Temujjukira ng’ebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe? 6 Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ng’ekiseera kye kituuse. 7 Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo. 8 Olwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe. 9 Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba, 10 era n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa. 11 Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba. 12 Era bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu. 13 Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima, 14 ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo. 15 Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe. 16 Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, 17 abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.
In Other Versions
2 Thessalonians 2 in the ANGEFD
2 Thessalonians 2 in the ANTPNG2D
2 Thessalonians 2 in the BBPNG
2 Thessalonians 2 in the BBT1E
2 Thessalonians 2 in the BNTABOOT
2 Thessalonians 2 in the BNTLV
2 Thessalonians 2 in the BOATCB
2 Thessalonians 2 in the BOATCB2
2 Thessalonians 2 in the BOBCV
2 Thessalonians 2 in the BOCNT
2 Thessalonians 2 in the BOECS
2 Thessalonians 2 in the BOGWICC
2 Thessalonians 2 in the BOHCB
2 Thessalonians 2 in the BOHCV
2 Thessalonians 2 in the BOHLNT
2 Thessalonians 2 in the BOHNTLTAL
2 Thessalonians 2 in the BOICB
2 Thessalonians 2 in the BOILNTAP
2 Thessalonians 2 in the BOITCV
2 Thessalonians 2 in the BOKCV
2 Thessalonians 2 in the BOKCV2
2 Thessalonians 2 in the BOKHWOG
2 Thessalonians 2 in the BOKSSV
2 Thessalonians 2 in the BOLCB2
2 Thessalonians 2 in the BOMCV
2 Thessalonians 2 in the BONAV
2 Thessalonians 2 in the BONCB
2 Thessalonians 2 in the BONLT
2 Thessalonians 2 in the BONUT2
2 Thessalonians 2 in the BOPLNT
2 Thessalonians 2 in the BOSCB
2 Thessalonians 2 in the BOSNC
2 Thessalonians 2 in the BOTLNT
2 Thessalonians 2 in the BOVCB
2 Thessalonians 2 in the BOYCB
2 Thessalonians 2 in the DGDNT
2 Thessalonians 2 in the GGMNT
2 Thessalonians 2 in the IRVM2
2 Thessalonians 2 in the IRVT2
2 Thessalonians 2 in the KBT1ETNIK
2 Thessalonians 2 in the MKNFD
2 Thessalonians 2 in the MRS1T
2 Thessalonians 2 in the NBVTP
2 Thessalonians 2 in the NIV11
2 Thessalonians 2 in the PDDPT
2 Thessalonians 2 in the SBIAS
2 Thessalonians 2 in the SBIBS
2 Thessalonians 2 in the SBIBS2
2 Thessalonians 2 in the SBICS
2 Thessalonians 2 in the SBIDS
2 Thessalonians 2 in the SBIGS
2 Thessalonians 2 in the SBIHS
2 Thessalonians 2 in the SBIIS
2 Thessalonians 2 in the SBIIS2
2 Thessalonians 2 in the SBIIS3
2 Thessalonians 2 in the SBIKS
2 Thessalonians 2 in the SBIKS2
2 Thessalonians 2 in the SBIMS
2 Thessalonians 2 in the SBIOS
2 Thessalonians 2 in the SBIPS
2 Thessalonians 2 in the SBISS
2 Thessalonians 2 in the SBITS
2 Thessalonians 2 in the SBITS2
2 Thessalonians 2 in the SBITS3
2 Thessalonians 2 in the SBITS4
2 Thessalonians 2 in the SBIUS
2 Thessalonians 2 in the SBIVS
2 Thessalonians 2 in the SBT1E
2 Thessalonians 2 in the SUSU2
2 Thessalonians 2 in the TBIAOTANT
2 Thessalonians 2 in the TBT1E
2 Thessalonians 2 in the TBT1E2
2 Thessalonians 2 in the TFTIP
2 Thessalonians 2 in the TGNTATF3T
2 Thessalonians 2 in the TNTIK
2 Thessalonians 2 in the TNTIL
2 Thessalonians 2 in the TNTIN
2 Thessalonians 2 in the TNTIP
2 Thessalonians 2 in the TNTIZ
2 Thessalonians 2 in the TTENT