Acts 5 (BOLCB)

1 Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye 2 ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume. 3 Naye Peetero n’agamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, n’okulimba n’olimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? 4 Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.” 5 Ananiya olwawulira ebigambo ebyo n’agwa eri n’afiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi. 6 Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. 7 Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo. 8 Peetero n’amubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala n’addamu nti, “Yee, gwe guugwo.” 9 Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.” 10 Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. 11 Entiisa ey’amaanyi n’ebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo. 12 Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. 13 So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo. 14 Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. 15 Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze. 16 Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa. 17 Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya. 18 Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna. 19 Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya, 20 n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.” 21 Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. 22 Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu 23 nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.” 24 Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma. 25 Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” 26 Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja. 27 Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza 28 ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.” 29 Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu. 30 Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. 31 Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi. 32 Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.” 33 Awo ab’Olukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi n’okwagala ne baagala okubatta. 34 Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru. 35 N’alyoka agamba banne ab’omu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako. 36 Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo. 37 Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako. 38 Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma. 39 Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira. 40 Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata. 41 Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi n’okubonaabona olw’Erinnya. 42 Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.

In Other Versions

Acts 5 in the ANGEFD

Acts 5 in the ANTPNG2D

Acts 5 in the AS21

Acts 5 in the BAGH

Acts 5 in the BBPNG

Acts 5 in the BBT1E

Acts 5 in the BDS

Acts 5 in the BEV

Acts 5 in the BHAD

Acts 5 in the BIB

Acts 5 in the BLPT

Acts 5 in the BNT

Acts 5 in the BNTABOOT

Acts 5 in the BNTLV

Acts 5 in the BOATCB

Acts 5 in the BOATCB2

Acts 5 in the BOBCV

Acts 5 in the BOCNT

Acts 5 in the BOECS

Acts 5 in the BOGWICC

Acts 5 in the BOHCB

Acts 5 in the BOHCV

Acts 5 in the BOHLNT

Acts 5 in the BOHNTLTAL

Acts 5 in the BOICB

Acts 5 in the BOILNTAP

Acts 5 in the BOITCV

Acts 5 in the BOKCV

Acts 5 in the BOKCV2

Acts 5 in the BOKHWOG

Acts 5 in the BOKSSV

Acts 5 in the BOLCB2

Acts 5 in the BOMCV

Acts 5 in the BONAV

Acts 5 in the BONCB

Acts 5 in the BONLT

Acts 5 in the BONUT2

Acts 5 in the BOPLNT

Acts 5 in the BOSCB

Acts 5 in the BOSNC

Acts 5 in the BOTLNT

Acts 5 in the BOVCB

Acts 5 in the BOYCB

Acts 5 in the BPBB

Acts 5 in the BPH

Acts 5 in the BSB

Acts 5 in the CCB

Acts 5 in the CUV

Acts 5 in the CUVS

Acts 5 in the DBT

Acts 5 in the DGDNT

Acts 5 in the DHNT

Acts 5 in the DNT

Acts 5 in the ELBE

Acts 5 in the EMTV

Acts 5 in the ESV

Acts 5 in the FBV

Acts 5 in the FEB

Acts 5 in the GGMNT

Acts 5 in the GNT

Acts 5 in the HARY

Acts 5 in the HNT

Acts 5 in the IRVA

Acts 5 in the IRVB

Acts 5 in the IRVG

Acts 5 in the IRVH

Acts 5 in the IRVK

Acts 5 in the IRVM

Acts 5 in the IRVM2

Acts 5 in the IRVO

Acts 5 in the IRVP

Acts 5 in the IRVT

Acts 5 in the IRVT2

Acts 5 in the IRVU

Acts 5 in the ISVN

Acts 5 in the JSNT

Acts 5 in the KAPI

Acts 5 in the KBT1ETNIK

Acts 5 in the KBV

Acts 5 in the KJV

Acts 5 in the KNFD

Acts 5 in the LBA

Acts 5 in the LBLA

Acts 5 in the LNT

Acts 5 in the LSV

Acts 5 in the MAAL

Acts 5 in the MBV

Acts 5 in the MBV2

Acts 5 in the MHNT

Acts 5 in the MKNFD

Acts 5 in the MNG

Acts 5 in the MNT

Acts 5 in the MNT2

Acts 5 in the MRS1T

Acts 5 in the NAA

Acts 5 in the NASB

Acts 5 in the NBLA

Acts 5 in the NBS

Acts 5 in the NBVTP

Acts 5 in the NET2

Acts 5 in the NIV11

Acts 5 in the NNT

Acts 5 in the NNT2

Acts 5 in the NNT3

Acts 5 in the PDDPT

Acts 5 in the PFNT

Acts 5 in the RMNT

Acts 5 in the SBIAS

Acts 5 in the SBIBS

Acts 5 in the SBIBS2

Acts 5 in the SBICS

Acts 5 in the SBIDS

Acts 5 in the SBIGS

Acts 5 in the SBIHS

Acts 5 in the SBIIS

Acts 5 in the SBIIS2

Acts 5 in the SBIIS3

Acts 5 in the SBIKS

Acts 5 in the SBIKS2

Acts 5 in the SBIMS

Acts 5 in the SBIOS

Acts 5 in the SBIPS

Acts 5 in the SBISS

Acts 5 in the SBITS

Acts 5 in the SBITS2

Acts 5 in the SBITS3

Acts 5 in the SBITS4

Acts 5 in the SBIUS

Acts 5 in the SBIVS

Acts 5 in the SBT

Acts 5 in the SBT1E

Acts 5 in the SCHL

Acts 5 in the SNT

Acts 5 in the SUSU

Acts 5 in the SUSU2

Acts 5 in the SYNO

Acts 5 in the TBIAOTANT

Acts 5 in the TBT1E

Acts 5 in the TBT1E2

Acts 5 in the TFTIP

Acts 5 in the TFTU

Acts 5 in the TGNTATF3T

Acts 5 in the THAI

Acts 5 in the TNFD

Acts 5 in the TNT

Acts 5 in the TNTIK

Acts 5 in the TNTIL

Acts 5 in the TNTIN

Acts 5 in the TNTIP

Acts 5 in the TNTIZ

Acts 5 in the TOMA

Acts 5 in the TTENT

Acts 5 in the UBG

Acts 5 in the UGV

Acts 5 in the UGV2

Acts 5 in the UGV3

Acts 5 in the VBL

Acts 5 in the VDCC

Acts 5 in the YALU

Acts 5 in the YAPE

Acts 5 in the YBVTP

Acts 5 in the ZBP