Ephesians 4 (BOLCB)
1 Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. 2 Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. 3 Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. 4 Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. 5 Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. 6 Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna. 7 Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 8 Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,“Bwe yalinnya mu ggulu,n’atwala omunyago,n’awa abantu ebirabo.” 9 Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 11 Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 12 Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 13 Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali. 14 Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 15 Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 16 Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala. 17 Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri. 20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima. 25 Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga. 28 Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga. 29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 30 Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
In Other Versions
Ephesians 4 in the ANGEFD
Ephesians 4 in the ANTPNG2D
Ephesians 4 in the AS21
Ephesians 4 in the BAGH
Ephesians 4 in the BBPNG
Ephesians 4 in the BBT1E
Ephesians 4 in the BDS
Ephesians 4 in the BEV
Ephesians 4 in the BHAD
Ephesians 4 in the BIB
Ephesians 4 in the BLPT
Ephesians 4 in the BNT
Ephesians 4 in the BNTABOOT
Ephesians 4 in the BNTLV
Ephesians 4 in the BOATCB
Ephesians 4 in the BOATCB2
Ephesians 4 in the BOBCV
Ephesians 4 in the BOCNT
Ephesians 4 in the BOECS
Ephesians 4 in the BOGWICC
Ephesians 4 in the BOHCB
Ephesians 4 in the BOHCV
Ephesians 4 in the BOHLNT
Ephesians 4 in the BOHNTLTAL
Ephesians 4 in the BOICB
Ephesians 4 in the BOILNTAP
Ephesians 4 in the BOITCV
Ephesians 4 in the BOKCV
Ephesians 4 in the BOKCV2
Ephesians 4 in the BOKHWOG
Ephesians 4 in the BOKSSV
Ephesians 4 in the BOLCB2
Ephesians 4 in the BOMCV
Ephesians 4 in the BONAV
Ephesians 4 in the BONCB
Ephesians 4 in the BONLT
Ephesians 4 in the BONUT2
Ephesians 4 in the BOPLNT
Ephesians 4 in the BOSCB
Ephesians 4 in the BOSNC
Ephesians 4 in the BOTLNT
Ephesians 4 in the BOVCB
Ephesians 4 in the BOYCB
Ephesians 4 in the BPBB
Ephesians 4 in the BPH
Ephesians 4 in the BSB
Ephesians 4 in the CCB
Ephesians 4 in the CUV
Ephesians 4 in the CUVS
Ephesians 4 in the DBT
Ephesians 4 in the DGDNT
Ephesians 4 in the DHNT
Ephesians 4 in the DNT
Ephesians 4 in the ELBE
Ephesians 4 in the EMTV
Ephesians 4 in the ESV
Ephesians 4 in the FBV
Ephesians 4 in the FEB
Ephesians 4 in the GGMNT
Ephesians 4 in the GNT
Ephesians 4 in the HARY
Ephesians 4 in the HNT
Ephesians 4 in the IRVA
Ephesians 4 in the IRVB
Ephesians 4 in the IRVG
Ephesians 4 in the IRVH
Ephesians 4 in the IRVK
Ephesians 4 in the IRVM
Ephesians 4 in the IRVM2
Ephesians 4 in the IRVO
Ephesians 4 in the IRVP
Ephesians 4 in the IRVT
Ephesians 4 in the IRVT2
Ephesians 4 in the IRVU
Ephesians 4 in the ISVN
Ephesians 4 in the JSNT
Ephesians 4 in the KAPI
Ephesians 4 in the KBT1ETNIK
Ephesians 4 in the KBV
Ephesians 4 in the KJV
Ephesians 4 in the KNFD
Ephesians 4 in the LBA
Ephesians 4 in the LBLA
Ephesians 4 in the LNT
Ephesians 4 in the LSV
Ephesians 4 in the MAAL
Ephesians 4 in the MBV
Ephesians 4 in the MBV2
Ephesians 4 in the MHNT
Ephesians 4 in the MKNFD
Ephesians 4 in the MNG
Ephesians 4 in the MNT
Ephesians 4 in the MNT2
Ephesians 4 in the MRS1T
Ephesians 4 in the NAA
Ephesians 4 in the NASB
Ephesians 4 in the NBLA
Ephesians 4 in the NBS
Ephesians 4 in the NBVTP
Ephesians 4 in the NET2
Ephesians 4 in the NIV11
Ephesians 4 in the NNT
Ephesians 4 in the NNT2
Ephesians 4 in the NNT3
Ephesians 4 in the PDDPT
Ephesians 4 in the PFNT
Ephesians 4 in the RMNT
Ephesians 4 in the SBIAS
Ephesians 4 in the SBIBS
Ephesians 4 in the SBIBS2
Ephesians 4 in the SBICS
Ephesians 4 in the SBIDS
Ephesians 4 in the SBIGS
Ephesians 4 in the SBIHS
Ephesians 4 in the SBIIS
Ephesians 4 in the SBIIS2
Ephesians 4 in the SBIIS3
Ephesians 4 in the SBIKS
Ephesians 4 in the SBIKS2
Ephesians 4 in the SBIMS
Ephesians 4 in the SBIOS
Ephesians 4 in the SBIPS
Ephesians 4 in the SBISS
Ephesians 4 in the SBITS
Ephesians 4 in the SBITS2
Ephesians 4 in the SBITS3
Ephesians 4 in the SBITS4
Ephesians 4 in the SBIUS
Ephesians 4 in the SBIVS
Ephesians 4 in the SBT
Ephesians 4 in the SBT1E
Ephesians 4 in the SCHL
Ephesians 4 in the SNT
Ephesians 4 in the SUSU
Ephesians 4 in the SUSU2
Ephesians 4 in the SYNO
Ephesians 4 in the TBIAOTANT
Ephesians 4 in the TBT1E
Ephesians 4 in the TBT1E2
Ephesians 4 in the TFTIP
Ephesians 4 in the TFTU
Ephesians 4 in the TGNTATF3T
Ephesians 4 in the THAI
Ephesians 4 in the TNFD
Ephesians 4 in the TNT
Ephesians 4 in the TNTIK
Ephesians 4 in the TNTIL
Ephesians 4 in the TNTIN
Ephesians 4 in the TNTIP
Ephesians 4 in the TNTIZ
Ephesians 4 in the TOMA
Ephesians 4 in the TTENT
Ephesians 4 in the UBG
Ephesians 4 in the UGV
Ephesians 4 in the UGV2
Ephesians 4 in the UGV3
Ephesians 4 in the VBL
Ephesians 4 in the VDCC
Ephesians 4 in the YALU
Ephesians 4 in the YAPE
Ephesians 4 in the YBVTP
Ephesians 4 in the ZBP