Exodus 15 (BOLCB)
1 Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira MUKAMA oluyimba luno nga bagamba nti,“Nnaayimbiranga MUKAMA,kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.Asudde mu nnyanjaembalaasi n’omwebagazi waayo. 2 MUKAMA ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,era afuuse obulokozi bwange.Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga. 3 MUKAMA mulwanyi; MUKAMA, ly’erinnya lye. 4 Amagaali ga Falaawo n’eggye lyeabisudde mu nnyanja;n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemubasaanyeewo mu Nnyanja Emyufu. 5 Obuziba bubasaanikidde;basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja. 6 “Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi MUKAMA,gwalina amaanyi n’ekitiibwa;omukono gwo ogwa ddyo, Ayi MUKAMA,gwasesebbula omulabe. 7 Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,wamegga abalabe bo,wabalaga obusungu bwo,ne bubasiriiza ng’ebisasiro. 8 Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,amazzi ne geetuuma;amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja. 9 “Omulabe n’ayogera nti,‘Ka mbagobe, mbakwate.Nnaagabana omunyago;mbeemalireko eggoga.Nnaasowolayo ekitala kyange,ndyoke mbazikirize.’ 10 Naye wakunsa embuyaga zo,ennyanja n’ebasaanikira.Bakka ng’ekyuma,ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi. 11 Ani akufaanana, Ayi MUKAMA,mu bakatonda bonna?Ani akufaanana, ggwe,Omutukuvu Oweekitiibwa,atiibwa era atenderezebwa,akola ebyamagero? 12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,ensi n’ebamira. 13 Mu kwagala kwo okutaggwaawo,abantu be wanunula olibakulembera.Mu maanyi go,olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu. 14 Amawanga galikiwulira ne gakankana,ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku. 15 Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi. 16 Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi MUKAMA,okutuusa abantu bo, be wanunula,lwe baliyitawo. 17 Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,kye kifo, Ayi MUKAMA kye weekolera mw’onoobeeranga,ekifo kyo Ekitukuvu,kye weekolera, Ayi MUKAMA, n’emikono gyo. 18 MUKAMA anaafugangaemirembe n’emirembe.” 19 Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, MUKAMA n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,“Muyimbire MUKAMA,kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.Asudde mu nnyanjaembalaasi n’agyebagadde.” 22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?” 25 Musa ne yeegayirira MUKAMA; MUKAMA n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.Mu kifo kino MUKAMA we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya MUKAMA Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze MUKAMA, nze mbawonya endwadde zammwe.” 27 Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.
In Other Versions
Exodus 15 in the ANGEFD
Exodus 15 in the ANTPNG2D
Exodus 15 in the AS21
Exodus 15 in the BAGH
Exodus 15 in the BBPNG
Exodus 15 in the BBT1E
Exodus 15 in the BDS
Exodus 15 in the BEV
Exodus 15 in the BHAD
Exodus 15 in the BIB
Exodus 15 in the BLPT
Exodus 15 in the BNT
Exodus 15 in the BNTABOOT
Exodus 15 in the BNTLV
Exodus 15 in the BOATCB
Exodus 15 in the BOATCB2
Exodus 15 in the BOBCV
Exodus 15 in the BOCNT
Exodus 15 in the BOECS
Exodus 15 in the BOGWICC
Exodus 15 in the BOHCB
Exodus 15 in the BOHCV
Exodus 15 in the BOHLNT
Exodus 15 in the BOHNTLTAL
Exodus 15 in the BOICB
Exodus 15 in the BOILNTAP
Exodus 15 in the BOITCV
Exodus 15 in the BOKCV
Exodus 15 in the BOKCV2
Exodus 15 in the BOKHWOG
Exodus 15 in the BOKSSV
Exodus 15 in the BOLCB2
Exodus 15 in the BOMCV
Exodus 15 in the BONAV
Exodus 15 in the BONCB
Exodus 15 in the BONLT
Exodus 15 in the BONUT2
Exodus 15 in the BOPLNT
Exodus 15 in the BOSCB
Exodus 15 in the BOSNC
Exodus 15 in the BOTLNT
Exodus 15 in the BOVCB
Exodus 15 in the BOYCB
Exodus 15 in the BPBB
Exodus 15 in the BPH
Exodus 15 in the BSB
Exodus 15 in the CCB
Exodus 15 in the CUV
Exodus 15 in the CUVS
Exodus 15 in the DBT
Exodus 15 in the DGDNT
Exodus 15 in the DHNT
Exodus 15 in the DNT
Exodus 15 in the ELBE
Exodus 15 in the EMTV
Exodus 15 in the ESV
Exodus 15 in the FBV
Exodus 15 in the FEB
Exodus 15 in the GGMNT
Exodus 15 in the GNT
Exodus 15 in the HARY
Exodus 15 in the HNT
Exodus 15 in the IRVA
Exodus 15 in the IRVB
Exodus 15 in the IRVG
Exodus 15 in the IRVH
Exodus 15 in the IRVK
Exodus 15 in the IRVM
Exodus 15 in the IRVM2
Exodus 15 in the IRVO
Exodus 15 in the IRVP
Exodus 15 in the IRVT
Exodus 15 in the IRVT2
Exodus 15 in the IRVU
Exodus 15 in the ISVN
Exodus 15 in the JSNT
Exodus 15 in the KAPI
Exodus 15 in the KBT1ETNIK
Exodus 15 in the KBV
Exodus 15 in the KJV
Exodus 15 in the KNFD
Exodus 15 in the LBA
Exodus 15 in the LBLA
Exodus 15 in the LNT
Exodus 15 in the LSV
Exodus 15 in the MAAL
Exodus 15 in the MBV
Exodus 15 in the MBV2
Exodus 15 in the MHNT
Exodus 15 in the MKNFD
Exodus 15 in the MNG
Exodus 15 in the MNT
Exodus 15 in the MNT2
Exodus 15 in the MRS1T
Exodus 15 in the NAA
Exodus 15 in the NASB
Exodus 15 in the NBLA
Exodus 15 in the NBS
Exodus 15 in the NBVTP
Exodus 15 in the NET2
Exodus 15 in the NIV11
Exodus 15 in the NNT
Exodus 15 in the NNT2
Exodus 15 in the NNT3
Exodus 15 in the PDDPT
Exodus 15 in the PFNT
Exodus 15 in the RMNT
Exodus 15 in the SBIAS
Exodus 15 in the SBIBS
Exodus 15 in the SBIBS2
Exodus 15 in the SBICS
Exodus 15 in the SBIDS
Exodus 15 in the SBIGS
Exodus 15 in the SBIHS
Exodus 15 in the SBIIS
Exodus 15 in the SBIIS2
Exodus 15 in the SBIIS3
Exodus 15 in the SBIKS
Exodus 15 in the SBIKS2
Exodus 15 in the SBIMS
Exodus 15 in the SBIOS
Exodus 15 in the SBIPS
Exodus 15 in the SBISS
Exodus 15 in the SBITS
Exodus 15 in the SBITS2
Exodus 15 in the SBITS3
Exodus 15 in the SBITS4
Exodus 15 in the SBIUS
Exodus 15 in the SBIVS
Exodus 15 in the SBT
Exodus 15 in the SBT1E
Exodus 15 in the SCHL
Exodus 15 in the SNT
Exodus 15 in the SUSU
Exodus 15 in the SUSU2
Exodus 15 in the SYNO
Exodus 15 in the TBIAOTANT
Exodus 15 in the TBT1E
Exodus 15 in the TBT1E2
Exodus 15 in the TFTIP
Exodus 15 in the TFTU
Exodus 15 in the TGNTATF3T
Exodus 15 in the THAI
Exodus 15 in the TNFD
Exodus 15 in the TNT
Exodus 15 in the TNTIK
Exodus 15 in the TNTIL
Exodus 15 in the TNTIN
Exodus 15 in the TNTIP
Exodus 15 in the TNTIZ
Exodus 15 in the TOMA
Exodus 15 in the TTENT
Exodus 15 in the UBG
Exodus 15 in the UGV
Exodus 15 in the UGV2
Exodus 15 in the UGV3
Exodus 15 in the VBL
Exodus 15 in the VDCC
Exodus 15 in the YALU
Exodus 15 in the YAPE
Exodus 15 in the YBVTP
Exodus 15 in the ZBP