Hebrews 12 (BOLCB)
1 Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza. 6 Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,Era abonereza buli gw’ayita omwana we.” 7 Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala. 9 Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe. 11 Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe. 14 Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama. 15 Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. 16 Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu. 17 Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi. 18 Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga, 19 n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira. 20 Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.” 21 Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.” 22 Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye, 23 n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa, 24 n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi. 25 Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula? 26 Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.” 27 Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo. 28 Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. 29 Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”
In Other Versions
Hebrews 12 in the ANGEFD
Hebrews 12 in the ANTPNG2D
Hebrews 12 in the AS21
Hebrews 12 in the BAGH
Hebrews 12 in the BBPNG
Hebrews 12 in the BBT1E
Hebrews 12 in the BDS
Hebrews 12 in the BEV
Hebrews 12 in the BHAD
Hebrews 12 in the BIB
Hebrews 12 in the BLPT
Hebrews 12 in the BNT
Hebrews 12 in the BNTABOOT
Hebrews 12 in the BNTLV
Hebrews 12 in the BOATCB
Hebrews 12 in the BOATCB2
Hebrews 12 in the BOBCV
Hebrews 12 in the BOCNT
Hebrews 12 in the BOECS
Hebrews 12 in the BOGWICC
Hebrews 12 in the BOHCB
Hebrews 12 in the BOHCV
Hebrews 12 in the BOHLNT
Hebrews 12 in the BOHNTLTAL
Hebrews 12 in the BOICB
Hebrews 12 in the BOILNTAP
Hebrews 12 in the BOITCV
Hebrews 12 in the BOKCV
Hebrews 12 in the BOKCV2
Hebrews 12 in the BOKHWOG
Hebrews 12 in the BOKSSV
Hebrews 12 in the BOLCB2
Hebrews 12 in the BOMCV
Hebrews 12 in the BONAV
Hebrews 12 in the BONCB
Hebrews 12 in the BONLT
Hebrews 12 in the BONUT2
Hebrews 12 in the BOPLNT
Hebrews 12 in the BOSCB
Hebrews 12 in the BOSNC
Hebrews 12 in the BOTLNT
Hebrews 12 in the BOVCB
Hebrews 12 in the BOYCB
Hebrews 12 in the BPBB
Hebrews 12 in the BPH
Hebrews 12 in the BSB
Hebrews 12 in the CCB
Hebrews 12 in the CUV
Hebrews 12 in the CUVS
Hebrews 12 in the DBT
Hebrews 12 in the DGDNT
Hebrews 12 in the DHNT
Hebrews 12 in the DNT
Hebrews 12 in the ELBE
Hebrews 12 in the EMTV
Hebrews 12 in the ESV
Hebrews 12 in the FBV
Hebrews 12 in the FEB
Hebrews 12 in the GGMNT
Hebrews 12 in the GNT
Hebrews 12 in the HARY
Hebrews 12 in the HNT
Hebrews 12 in the IRVA
Hebrews 12 in the IRVB
Hebrews 12 in the IRVG
Hebrews 12 in the IRVH
Hebrews 12 in the IRVK
Hebrews 12 in the IRVM
Hebrews 12 in the IRVM2
Hebrews 12 in the IRVO
Hebrews 12 in the IRVP
Hebrews 12 in the IRVT
Hebrews 12 in the IRVT2
Hebrews 12 in the IRVU
Hebrews 12 in the ISVN
Hebrews 12 in the JSNT
Hebrews 12 in the KAPI
Hebrews 12 in the KBT1ETNIK
Hebrews 12 in the KBV
Hebrews 12 in the KJV
Hebrews 12 in the KNFD
Hebrews 12 in the LBA
Hebrews 12 in the LBLA
Hebrews 12 in the LNT
Hebrews 12 in the LSV
Hebrews 12 in the MAAL
Hebrews 12 in the MBV
Hebrews 12 in the MBV2
Hebrews 12 in the MHNT
Hebrews 12 in the MKNFD
Hebrews 12 in the MNG
Hebrews 12 in the MNT
Hebrews 12 in the MNT2
Hebrews 12 in the MRS1T
Hebrews 12 in the NAA
Hebrews 12 in the NASB
Hebrews 12 in the NBLA
Hebrews 12 in the NBS
Hebrews 12 in the NBVTP
Hebrews 12 in the NET2
Hebrews 12 in the NIV11
Hebrews 12 in the NNT
Hebrews 12 in the NNT2
Hebrews 12 in the NNT3
Hebrews 12 in the PDDPT
Hebrews 12 in the PFNT
Hebrews 12 in the RMNT
Hebrews 12 in the SBIAS
Hebrews 12 in the SBIBS
Hebrews 12 in the SBIBS2
Hebrews 12 in the SBICS
Hebrews 12 in the SBIDS
Hebrews 12 in the SBIGS
Hebrews 12 in the SBIHS
Hebrews 12 in the SBIIS
Hebrews 12 in the SBIIS2
Hebrews 12 in the SBIIS3
Hebrews 12 in the SBIKS
Hebrews 12 in the SBIKS2
Hebrews 12 in the SBIMS
Hebrews 12 in the SBIOS
Hebrews 12 in the SBIPS
Hebrews 12 in the SBISS
Hebrews 12 in the SBITS
Hebrews 12 in the SBITS2
Hebrews 12 in the SBITS3
Hebrews 12 in the SBITS4
Hebrews 12 in the SBIUS
Hebrews 12 in the SBIVS
Hebrews 12 in the SBT
Hebrews 12 in the SBT1E
Hebrews 12 in the SCHL
Hebrews 12 in the SNT
Hebrews 12 in the SUSU
Hebrews 12 in the SUSU2
Hebrews 12 in the SYNO
Hebrews 12 in the TBIAOTANT
Hebrews 12 in the TBT1E
Hebrews 12 in the TBT1E2
Hebrews 12 in the TFTIP
Hebrews 12 in the TFTU
Hebrews 12 in the TGNTATF3T
Hebrews 12 in the THAI
Hebrews 12 in the TNFD
Hebrews 12 in the TNT
Hebrews 12 in the TNTIK
Hebrews 12 in the TNTIL
Hebrews 12 in the TNTIN
Hebrews 12 in the TNTIP
Hebrews 12 in the TNTIZ
Hebrews 12 in the TOMA
Hebrews 12 in the TTENT
Hebrews 12 in the UBG
Hebrews 12 in the UGV
Hebrews 12 in the UGV2
Hebrews 12 in the UGV3
Hebrews 12 in the VBL
Hebrews 12 in the VDCC
Hebrews 12 in the YALU
Hebrews 12 in the YAPE
Hebrews 12 in the YBVTP
Hebrews 12 in the ZBP