Hebrews 7 (BOLCB)
1 Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. 2 Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. 3 Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda. 4 Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. 5 N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. 6 Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. 7 Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. 8 Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. 9 Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana. 11 Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 Kubanga Kristo ayogerwako nti,“Oli kabona okutuusa emirembe gyonnang’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.” 18 Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 19 kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda. 20 Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 21 naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,“Mukama yalayiraera tagenda kwejjusa:‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ” 22 Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi. 23 Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa. 24 Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. 25 Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza. 26 Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, 27 ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 28 Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.
In Other Versions
Hebrews 7 in the ANGEFD
Hebrews 7 in the ANTPNG2D
Hebrews 7 in the AS21
Hebrews 7 in the BAGH
Hebrews 7 in the BBPNG
Hebrews 7 in the BBT1E
Hebrews 7 in the BDS
Hebrews 7 in the BEV
Hebrews 7 in the BHAD
Hebrews 7 in the BIB
Hebrews 7 in the BLPT
Hebrews 7 in the BNT
Hebrews 7 in the BNTABOOT
Hebrews 7 in the BNTLV
Hebrews 7 in the BOATCB
Hebrews 7 in the BOATCB2
Hebrews 7 in the BOBCV
Hebrews 7 in the BOCNT
Hebrews 7 in the BOECS
Hebrews 7 in the BOGWICC
Hebrews 7 in the BOHCB
Hebrews 7 in the BOHCV
Hebrews 7 in the BOHLNT
Hebrews 7 in the BOHNTLTAL
Hebrews 7 in the BOICB
Hebrews 7 in the BOILNTAP
Hebrews 7 in the BOITCV
Hebrews 7 in the BOKCV
Hebrews 7 in the BOKCV2
Hebrews 7 in the BOKHWOG
Hebrews 7 in the BOKSSV
Hebrews 7 in the BOLCB2
Hebrews 7 in the BOMCV
Hebrews 7 in the BONAV
Hebrews 7 in the BONCB
Hebrews 7 in the BONLT
Hebrews 7 in the BONUT2
Hebrews 7 in the BOPLNT
Hebrews 7 in the BOSCB
Hebrews 7 in the BOSNC
Hebrews 7 in the BOTLNT
Hebrews 7 in the BOVCB
Hebrews 7 in the BOYCB
Hebrews 7 in the BPBB
Hebrews 7 in the BPH
Hebrews 7 in the BSB
Hebrews 7 in the CCB
Hebrews 7 in the CUV
Hebrews 7 in the CUVS
Hebrews 7 in the DBT
Hebrews 7 in the DGDNT
Hebrews 7 in the DHNT
Hebrews 7 in the DNT
Hebrews 7 in the ELBE
Hebrews 7 in the EMTV
Hebrews 7 in the ESV
Hebrews 7 in the FBV
Hebrews 7 in the FEB
Hebrews 7 in the GGMNT
Hebrews 7 in the GNT
Hebrews 7 in the HARY
Hebrews 7 in the HNT
Hebrews 7 in the IRVA
Hebrews 7 in the IRVB
Hebrews 7 in the IRVG
Hebrews 7 in the IRVH
Hebrews 7 in the IRVK
Hebrews 7 in the IRVM
Hebrews 7 in the IRVM2
Hebrews 7 in the IRVO
Hebrews 7 in the IRVP
Hebrews 7 in the IRVT
Hebrews 7 in the IRVT2
Hebrews 7 in the IRVU
Hebrews 7 in the ISVN
Hebrews 7 in the JSNT
Hebrews 7 in the KAPI
Hebrews 7 in the KBT1ETNIK
Hebrews 7 in the KBV
Hebrews 7 in the KJV
Hebrews 7 in the KNFD
Hebrews 7 in the LBA
Hebrews 7 in the LBLA
Hebrews 7 in the LNT
Hebrews 7 in the LSV
Hebrews 7 in the MAAL
Hebrews 7 in the MBV
Hebrews 7 in the MBV2
Hebrews 7 in the MHNT
Hebrews 7 in the MKNFD
Hebrews 7 in the MNG
Hebrews 7 in the MNT
Hebrews 7 in the MNT2
Hebrews 7 in the MRS1T
Hebrews 7 in the NAA
Hebrews 7 in the NASB
Hebrews 7 in the NBLA
Hebrews 7 in the NBS
Hebrews 7 in the NBVTP
Hebrews 7 in the NET2
Hebrews 7 in the NIV11
Hebrews 7 in the NNT
Hebrews 7 in the NNT2
Hebrews 7 in the NNT3
Hebrews 7 in the PDDPT
Hebrews 7 in the PFNT
Hebrews 7 in the RMNT
Hebrews 7 in the SBIAS
Hebrews 7 in the SBIBS
Hebrews 7 in the SBIBS2
Hebrews 7 in the SBICS
Hebrews 7 in the SBIDS
Hebrews 7 in the SBIGS
Hebrews 7 in the SBIHS
Hebrews 7 in the SBIIS
Hebrews 7 in the SBIIS2
Hebrews 7 in the SBIIS3
Hebrews 7 in the SBIKS
Hebrews 7 in the SBIKS2
Hebrews 7 in the SBIMS
Hebrews 7 in the SBIOS
Hebrews 7 in the SBIPS
Hebrews 7 in the SBISS
Hebrews 7 in the SBITS
Hebrews 7 in the SBITS2
Hebrews 7 in the SBITS3
Hebrews 7 in the SBITS4
Hebrews 7 in the SBIUS
Hebrews 7 in the SBIVS
Hebrews 7 in the SBT
Hebrews 7 in the SBT1E
Hebrews 7 in the SCHL
Hebrews 7 in the SNT
Hebrews 7 in the SUSU
Hebrews 7 in the SUSU2
Hebrews 7 in the SYNO
Hebrews 7 in the TBIAOTANT
Hebrews 7 in the TBT1E
Hebrews 7 in the TBT1E2
Hebrews 7 in the TFTIP
Hebrews 7 in the TFTU
Hebrews 7 in the TGNTATF3T
Hebrews 7 in the THAI
Hebrews 7 in the TNFD
Hebrews 7 in the TNT
Hebrews 7 in the TNTIK
Hebrews 7 in the TNTIL
Hebrews 7 in the TNTIN
Hebrews 7 in the TNTIP
Hebrews 7 in the TNTIZ
Hebrews 7 in the TOMA
Hebrews 7 in the TTENT
Hebrews 7 in the UBG
Hebrews 7 in the UGV
Hebrews 7 in the UGV2
Hebrews 7 in the UGV3
Hebrews 7 in the VBL
Hebrews 7 in the VDCC
Hebrews 7 in the YALU
Hebrews 7 in the YAPE
Hebrews 7 in the YBVTP
Hebrews 7 in the ZBP