Isaiah 30 (BOLCB)

1 “Zibasanze abaana abajeemu,Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukirizane batta omukago awatali Mwoyo wangene bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera MUKAMA. 2 “Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,n’okuva eri ekisiikirize kya Misiriokuba obuddukiro. 3 Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza. 4 Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowanin’ababaka baabwe batuuse e Kanesi, 5 buli muntu aliswazibwaolw’eggwanga eritabagasa,abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera MUKAMA. 6 Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennakune batawaanyizibwamu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwanga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamiranga boolekedde ensi etaliimu magoba. 7 Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.Kyenva muyita Lakabuataliiko kyayinza kukola. 8 Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,okiwandiike ku mizingo,kibabeererenga obujuliziobw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja. 9 Weewaawo bano bantu bajeemu,baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya MUKAMA. 10 Bagamba abalabi nti,“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”N’eri bannabbi boogera nti,“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.Mututegeeze ebitusanyusa,mulagule ebituwabya. 11 Muve mu kkubo lino,mukyame muve ku luguudo luno,mulekeraawo okututegeezaku Mutukuvu wa Isirayiri.” 12 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,“Olw’okugaana obubaka buno,ne mwesiga okunyigirizibwa,ne mwesiga omulimba, 13 ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,alimu enjatika era azimbye,okutemya n’okuzibula ng’agudde. 14 Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabikaokusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,oba okusenyesa amazzi mu kinnya.” 15 Weewaawo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,naye temufuddeeyo. 16 Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’Kyoliva odduka.Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde. 17 Abantu olukumi baliddukaolw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,olidduka,Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,ng’ebendera eri ku kasozi.” 18 Songa MUKAMA ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;era agolokoka okukulaga okusaasira.Kubanga MUKAMA Katonda wa bwenkanya,balina omukisa bonna abamulindirira. 19 Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21 Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.” 23 Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, MUKAMA bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa. 27 Laba, erinnya lya MUKAMA liva walan’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;emimwa gye gijjudde ekiruyi,n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo. 28 Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazziagakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwaera mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya. 29 Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endereku lusozi lwa MUKAMA, ku lwazi lwa Isirayiri. 30 MUKAMA aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira. 31 Weewaawo eddoboozi lya MUKAMA lirisesebbula Bwasuli,alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka. 32 Buli muggo MUKAMA gw’anakukubangan’oluga lwe olubonereza,guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo. 33 Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;ky’ateekebwateekebwa kabaka.Ekinnya kyakyo eky’omulirokiwanvu era kigazi,kijjudde omuliro n’enku;omukka gwa MUKAMAgugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

In Other Versions

Isaiah 30 in the ANGEFD

Isaiah 30 in the ANTPNG2D

Isaiah 30 in the AS21

Isaiah 30 in the BAGH

Isaiah 30 in the BBPNG

Isaiah 30 in the BBT1E

Isaiah 30 in the BDS

Isaiah 30 in the BEV

Isaiah 30 in the BHAD

Isaiah 30 in the BIB

Isaiah 30 in the BLPT

Isaiah 30 in the BNT

Isaiah 30 in the BNTABOOT

Isaiah 30 in the BNTLV

Isaiah 30 in the BOATCB

Isaiah 30 in the BOATCB2

Isaiah 30 in the BOBCV

Isaiah 30 in the BOCNT

Isaiah 30 in the BOECS

Isaiah 30 in the BOGWICC

Isaiah 30 in the BOHCB

Isaiah 30 in the BOHCV

Isaiah 30 in the BOHLNT

Isaiah 30 in the BOHNTLTAL

Isaiah 30 in the BOICB

Isaiah 30 in the BOILNTAP

Isaiah 30 in the BOITCV

Isaiah 30 in the BOKCV

Isaiah 30 in the BOKCV2

Isaiah 30 in the BOKHWOG

Isaiah 30 in the BOKSSV

Isaiah 30 in the BOLCB2

Isaiah 30 in the BOMCV

Isaiah 30 in the BONAV

Isaiah 30 in the BONCB

Isaiah 30 in the BONLT

Isaiah 30 in the BONUT2

Isaiah 30 in the BOPLNT

Isaiah 30 in the BOSCB

Isaiah 30 in the BOSNC

Isaiah 30 in the BOTLNT

Isaiah 30 in the BOVCB

Isaiah 30 in the BOYCB

Isaiah 30 in the BPBB

Isaiah 30 in the BPH

Isaiah 30 in the BSB

Isaiah 30 in the CCB

Isaiah 30 in the CUV

Isaiah 30 in the CUVS

Isaiah 30 in the DBT

Isaiah 30 in the DGDNT

Isaiah 30 in the DHNT

Isaiah 30 in the DNT

Isaiah 30 in the ELBE

Isaiah 30 in the EMTV

Isaiah 30 in the ESV

Isaiah 30 in the FBV

Isaiah 30 in the FEB

Isaiah 30 in the GGMNT

Isaiah 30 in the GNT

Isaiah 30 in the HARY

Isaiah 30 in the HNT

Isaiah 30 in the IRVA

Isaiah 30 in the IRVB

Isaiah 30 in the IRVG

Isaiah 30 in the IRVH

Isaiah 30 in the IRVK

Isaiah 30 in the IRVM

Isaiah 30 in the IRVM2

Isaiah 30 in the IRVO

Isaiah 30 in the IRVP

Isaiah 30 in the IRVT

Isaiah 30 in the IRVT2

Isaiah 30 in the IRVU

Isaiah 30 in the ISVN

Isaiah 30 in the JSNT

Isaiah 30 in the KAPI

Isaiah 30 in the KBT1ETNIK

Isaiah 30 in the KBV

Isaiah 30 in the KJV

Isaiah 30 in the KNFD

Isaiah 30 in the LBA

Isaiah 30 in the LBLA

Isaiah 30 in the LNT

Isaiah 30 in the LSV

Isaiah 30 in the MAAL

Isaiah 30 in the MBV

Isaiah 30 in the MBV2

Isaiah 30 in the MHNT

Isaiah 30 in the MKNFD

Isaiah 30 in the MNG

Isaiah 30 in the MNT

Isaiah 30 in the MNT2

Isaiah 30 in the MRS1T

Isaiah 30 in the NAA

Isaiah 30 in the NASB

Isaiah 30 in the NBLA

Isaiah 30 in the NBS

Isaiah 30 in the NBVTP

Isaiah 30 in the NET2

Isaiah 30 in the NIV11

Isaiah 30 in the NNT

Isaiah 30 in the NNT2

Isaiah 30 in the NNT3

Isaiah 30 in the PDDPT

Isaiah 30 in the PFNT

Isaiah 30 in the RMNT

Isaiah 30 in the SBIAS

Isaiah 30 in the SBIBS

Isaiah 30 in the SBIBS2

Isaiah 30 in the SBICS

Isaiah 30 in the SBIDS

Isaiah 30 in the SBIGS

Isaiah 30 in the SBIHS

Isaiah 30 in the SBIIS

Isaiah 30 in the SBIIS2

Isaiah 30 in the SBIIS3

Isaiah 30 in the SBIKS

Isaiah 30 in the SBIKS2

Isaiah 30 in the SBIMS

Isaiah 30 in the SBIOS

Isaiah 30 in the SBIPS

Isaiah 30 in the SBISS

Isaiah 30 in the SBITS

Isaiah 30 in the SBITS2

Isaiah 30 in the SBITS3

Isaiah 30 in the SBITS4

Isaiah 30 in the SBIUS

Isaiah 30 in the SBIVS

Isaiah 30 in the SBT

Isaiah 30 in the SBT1E

Isaiah 30 in the SCHL

Isaiah 30 in the SNT

Isaiah 30 in the SUSU

Isaiah 30 in the SUSU2

Isaiah 30 in the SYNO

Isaiah 30 in the TBIAOTANT

Isaiah 30 in the TBT1E

Isaiah 30 in the TBT1E2

Isaiah 30 in the TFTIP

Isaiah 30 in the TFTU

Isaiah 30 in the TGNTATF3T

Isaiah 30 in the THAI

Isaiah 30 in the TNFD

Isaiah 30 in the TNT

Isaiah 30 in the TNTIK

Isaiah 30 in the TNTIL

Isaiah 30 in the TNTIN

Isaiah 30 in the TNTIP

Isaiah 30 in the TNTIZ

Isaiah 30 in the TOMA

Isaiah 30 in the TTENT

Isaiah 30 in the UBG

Isaiah 30 in the UGV

Isaiah 30 in the UGV2

Isaiah 30 in the UGV3

Isaiah 30 in the VBL

Isaiah 30 in the VDCC

Isaiah 30 in the YALU

Isaiah 30 in the YAPE

Isaiah 30 in the YBVTP

Isaiah 30 in the ZBP