Isaiah 5 (BOLCB)
1 Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimbaolukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibuku lusozi olugimu. 2 Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.N’agisimamu n’essogoleron’agisuubira okubala emizabbibu emirunginaye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono. 3 “Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.” 4 Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,kye ssaagikolera?Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,lwaki saalabamu mirungi? 5 Kaakano muleke mbabuulirekye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe. 6 Era ndigireka n’ezika,sirigirima wadde okugisalira.Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.Ndiragira n’ebireobutatonnyesaamu nkuba. 7 Ennyumba ya Isirayiriy’ennimiro ya MUKAMA Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.Abantu ba Yuday’ennimiro gye yasiima.Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana. 8 Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,n’ennimiro ne muzongerako endalane wataba kafo konna kasigadde,ne mubeera mwekka wakati mu nsi! 9 MUKAMA Katonda alayidde nga mpulira nti,“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu. 10 Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.” 11 Zibasanze abo abakeera enkya ku makyabanoonye ekitamiiza,abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,okutuusa omwenge lwe gubalalusa! 12 Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,n’omwenge ku mbaga zaabwe;naye ne batalowooza ku mulimu gwa MUKAMA Katonda,wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda. 13 Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋangusekubanga tebalina kutegeera.Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta. 14 Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwen’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu. 15 Buli muntu alitoowazibwa,abantu bonna balikkakkanyizibwaera amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe. 16 Naye MUKAMA Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe. 17 Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava. 18 Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabweng’embalaasi bw’esika ekigaali. 19 Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,zituuke nazo tuzimanye.” 20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungin’ekirungi ekibi,abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,n’ekitangaala okuba ekizikiza,abafuula ekikaawa okuba ekiwoomereran’ekiwoomerera okuba ekikaawa. 21 Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,era abagezigezi bo nga bwe balaba. 22 Zibasanze abo abazira mu kunywa omwengeera mu kutabula ekitamiiza, 23 abejjeereza abatemu olw’enguziera abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde. 24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;kubanga baajeemera etteeka lya MUKAMA Katonda ow’Eggye,era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri. 25 Noolwekyo obusungu bwa MUKAMA Katonda bubuubuukira ku bantu be,n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,ensozi ne zikankanaera n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo. Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa MUKAMA Katonda tebunnakakkanaera omukono gwe gukyagoloddwa. 26 Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,era laba,balyanguwako okujja. 27 Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka. 28 Obusaale bwabwe bwogi,n’emitego gyabwe gyonna mireege.Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu. 29 Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,balikaaba ng’empologoma ento:weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwebagutwalire ddala awatali adduukirira. 30 Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabweng’ennyanja eyira.Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,aliraba ekizikiza n’ennaku;n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.