James 2 (BOLCB)
1 Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. 2 Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, 3 ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” 4 kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi? 5 Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? 6 Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? 7 Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa? 8 Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 9 Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna. 12 Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango. 14 Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu. 18 Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana! 20 Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka. 25 Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
In Other Versions
James 2 in the ANGEFD
James 2 in the ANTPNG2D
James 2 in the AS21
James 2 in the BAGH
James 2 in the BBPNG
James 2 in the BBT1E
James 2 in the BDS
James 2 in the BEV
James 2 in the BHAD
James 2 in the BIB
James 2 in the BLPT
James 2 in the BNT
James 2 in the BNTABOOT
James 2 in the BNTLV
James 2 in the BOATCB
James 2 in the BOATCB2
James 2 in the BOBCV
James 2 in the BOCNT
James 2 in the BOECS
James 2 in the BOGWICC
James 2 in the BOHCB
James 2 in the BOHCV
James 2 in the BOHLNT
James 2 in the BOHNTLTAL
James 2 in the BOICB
James 2 in the BOILNTAP
James 2 in the BOITCV
James 2 in the BOKCV
James 2 in the BOKCV2
James 2 in the BOKHWOG
James 2 in the BOKSSV
James 2 in the BOLCB2
James 2 in the BOMCV
James 2 in the BONAV
James 2 in the BONCB
James 2 in the BONLT
James 2 in the BONUT2
James 2 in the BOPLNT
James 2 in the BOSCB
James 2 in the BOSNC
James 2 in the BOTLNT
James 2 in the BOVCB
James 2 in the BOYCB
James 2 in the BPBB
James 2 in the BPH
James 2 in the BSB
James 2 in the CCB
James 2 in the CUV
James 2 in the CUVS
James 2 in the DBT
James 2 in the DGDNT
James 2 in the DHNT
James 2 in the DNT
James 2 in the ELBE
James 2 in the EMTV
James 2 in the ESV
James 2 in the FBV
James 2 in the FEB
James 2 in the GGMNT
James 2 in the GNT
James 2 in the HARY
James 2 in the HNT
James 2 in the IRVA
James 2 in the IRVB
James 2 in the IRVG
James 2 in the IRVH
James 2 in the IRVK
James 2 in the IRVM
James 2 in the IRVM2
James 2 in the IRVO
James 2 in the IRVP
James 2 in the IRVT
James 2 in the IRVT2
James 2 in the IRVU
James 2 in the ISVN
James 2 in the JSNT
James 2 in the KAPI
James 2 in the KBT1ETNIK
James 2 in the KBV
James 2 in the KJV
James 2 in the KNFD
James 2 in the LBA
James 2 in the LBLA
James 2 in the LNT
James 2 in the LSV
James 2 in the MAAL
James 2 in the MBV
James 2 in the MBV2
James 2 in the MHNT
James 2 in the MKNFD
James 2 in the MNG
James 2 in the MNT
James 2 in the MNT2
James 2 in the MRS1T
James 2 in the NAA
James 2 in the NASB
James 2 in the NBLA
James 2 in the NBS
James 2 in the NBVTP
James 2 in the NET2
James 2 in the NIV11
James 2 in the NNT
James 2 in the NNT2
James 2 in the NNT3
James 2 in the PDDPT
James 2 in the PFNT
James 2 in the RMNT
James 2 in the SBIAS
James 2 in the SBIBS
James 2 in the SBIBS2
James 2 in the SBICS
James 2 in the SBIDS
James 2 in the SBIGS
James 2 in the SBIHS
James 2 in the SBIIS
James 2 in the SBIIS2
James 2 in the SBIIS3
James 2 in the SBIKS
James 2 in the SBIKS2
James 2 in the SBIMS
James 2 in the SBIOS
James 2 in the SBIPS
James 2 in the SBISS
James 2 in the SBITS
James 2 in the SBITS2
James 2 in the SBITS3
James 2 in the SBITS4
James 2 in the SBIUS
James 2 in the SBIVS
James 2 in the SBT
James 2 in the SBT1E
James 2 in the SCHL
James 2 in the SNT
James 2 in the SUSU
James 2 in the SUSU2
James 2 in the SYNO
James 2 in the TBIAOTANT
James 2 in the TBT1E
James 2 in the TBT1E2
James 2 in the TFTIP
James 2 in the TFTU
James 2 in the TGNTATF3T
James 2 in the THAI
James 2 in the TNFD
James 2 in the TNT
James 2 in the TNTIK
James 2 in the TNTIL
James 2 in the TNTIN
James 2 in the TNTIP
James 2 in the TNTIZ
James 2 in the TOMA
James 2 in the TTENT
James 2 in the UBG
James 2 in the UGV
James 2 in the UGV2
James 2 in the UGV3
James 2 in the VBL
James 2 in the VDCC
James 2 in the YALU
James 2 in the YAPE
James 2 in the YBVTP
James 2 in the ZBP