Jeremiah 13 (BOLCB)

1 Bw’ati MUKAMA bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” 2 Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga MUKAMA bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange. 3 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira omulundi ogwokubiri 4 nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” 5 Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga MUKAMA bwe yandagira. 6 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate MUKAMA nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” 7 Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa. 8 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira nga kyogera nti, 9 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera MUKAMA, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ” 12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera MUKAMA. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ” 15 Wuliriza ontegere okutu;toba na malala, MUKAMA y’akyogedde. 16 MUKAMA Katonda womugulumize nga tannaleeta kizikiza,nga ebigere byo tebinneesittala ku nsoziezikutte ekizikiza.Musuubira ekitangaala,naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufaakikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo. 17 Naye bwe mutaafeeyo,emmeeme yange eneekaabira mu kyamaolw’amalala gammwe;amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyinigakulukuse amazigaera ekisibo kya MUKAMA kijja kuwambibwa. 18 Gamba kabaka era ne namasole nti,“Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,kubanga engule zammwe ez’ebitiibwazijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.” 19 Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,tewali n’omu anaabiggulawo;Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,yonna yaakutwalibwa. 20 Muyimuse amaaso gammwemulabe abo abava mu bukiikakkono.Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,endiga ezaabeeyinuzanga? 21 Muligamba mutya MUKAMAbw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?Temulirumwang’omukazi alumwa okuzaala? 22 Era bwe weebuuza nti,“Lwaki kino kintuseeko?”Olw’ebibi byo ebingiengoye zo kyezivudde ziyuzibwa,era omubiri gwo ne gubonerezebwa. 23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gweoba engo okukyusa amabala gaayo?Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,mmwe abaamanyiira okukola ebibi. 24 “Ndibasaasaanya ng’ebisusunkuebifuuyibwa empewo eva mu ddungu. 25 Guno gwe mugabo gwogwe nakupimira,” bw’ayogera MUKAMA,“kubanga wanneerabirane weesiga bakatonda ab’obulimba. 26 Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,obwereere bwammwe ne bulabika. 27 Ndabye obwenzi bwammwen’obwamalaaya bwe mukoze.Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busoziera ne mu nnimiro.Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”

In Other Versions

Jeremiah 13 in the ANGEFD

Jeremiah 13 in the ANTPNG2D

Jeremiah 13 in the AS21

Jeremiah 13 in the BAGH

Jeremiah 13 in the BBPNG

Jeremiah 13 in the BBT1E

Jeremiah 13 in the BDS

Jeremiah 13 in the BEV

Jeremiah 13 in the BHAD

Jeremiah 13 in the BIB

Jeremiah 13 in the BLPT

Jeremiah 13 in the BNT

Jeremiah 13 in the BNTABOOT

Jeremiah 13 in the BNTLV

Jeremiah 13 in the BOATCB

Jeremiah 13 in the BOATCB2

Jeremiah 13 in the BOBCV

Jeremiah 13 in the BOCNT

Jeremiah 13 in the BOECS

Jeremiah 13 in the BOGWICC

Jeremiah 13 in the BOHCB

Jeremiah 13 in the BOHCV

Jeremiah 13 in the BOHLNT

Jeremiah 13 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 13 in the BOICB

Jeremiah 13 in the BOILNTAP

Jeremiah 13 in the BOITCV

Jeremiah 13 in the BOKCV

Jeremiah 13 in the BOKCV2

Jeremiah 13 in the BOKHWOG

Jeremiah 13 in the BOKSSV

Jeremiah 13 in the BOLCB2

Jeremiah 13 in the BOMCV

Jeremiah 13 in the BONAV

Jeremiah 13 in the BONCB

Jeremiah 13 in the BONLT

Jeremiah 13 in the BONUT2

Jeremiah 13 in the BOPLNT

Jeremiah 13 in the BOSCB

Jeremiah 13 in the BOSNC

Jeremiah 13 in the BOTLNT

Jeremiah 13 in the BOVCB

Jeremiah 13 in the BOYCB

Jeremiah 13 in the BPBB

Jeremiah 13 in the BPH

Jeremiah 13 in the BSB

Jeremiah 13 in the CCB

Jeremiah 13 in the CUV

Jeremiah 13 in the CUVS

Jeremiah 13 in the DBT

Jeremiah 13 in the DGDNT

Jeremiah 13 in the DHNT

Jeremiah 13 in the DNT

Jeremiah 13 in the ELBE

Jeremiah 13 in the EMTV

Jeremiah 13 in the ESV

Jeremiah 13 in the FBV

Jeremiah 13 in the FEB

Jeremiah 13 in the GGMNT

Jeremiah 13 in the GNT

Jeremiah 13 in the HARY

Jeremiah 13 in the HNT

Jeremiah 13 in the IRVA

Jeremiah 13 in the IRVB

Jeremiah 13 in the IRVG

Jeremiah 13 in the IRVH

Jeremiah 13 in the IRVK

Jeremiah 13 in the IRVM

Jeremiah 13 in the IRVM2

Jeremiah 13 in the IRVO

Jeremiah 13 in the IRVP

Jeremiah 13 in the IRVT

Jeremiah 13 in the IRVT2

Jeremiah 13 in the IRVU

Jeremiah 13 in the ISVN

Jeremiah 13 in the JSNT

Jeremiah 13 in the KAPI

Jeremiah 13 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 13 in the KBV

Jeremiah 13 in the KJV

Jeremiah 13 in the KNFD

Jeremiah 13 in the LBA

Jeremiah 13 in the LBLA

Jeremiah 13 in the LNT

Jeremiah 13 in the LSV

Jeremiah 13 in the MAAL

Jeremiah 13 in the MBV

Jeremiah 13 in the MBV2

Jeremiah 13 in the MHNT

Jeremiah 13 in the MKNFD

Jeremiah 13 in the MNG

Jeremiah 13 in the MNT

Jeremiah 13 in the MNT2

Jeremiah 13 in the MRS1T

Jeremiah 13 in the NAA

Jeremiah 13 in the NASB

Jeremiah 13 in the NBLA

Jeremiah 13 in the NBS

Jeremiah 13 in the NBVTP

Jeremiah 13 in the NET2

Jeremiah 13 in the NIV11

Jeremiah 13 in the NNT

Jeremiah 13 in the NNT2

Jeremiah 13 in the NNT3

Jeremiah 13 in the PDDPT

Jeremiah 13 in the PFNT

Jeremiah 13 in the RMNT

Jeremiah 13 in the SBIAS

Jeremiah 13 in the SBIBS

Jeremiah 13 in the SBIBS2

Jeremiah 13 in the SBICS

Jeremiah 13 in the SBIDS

Jeremiah 13 in the SBIGS

Jeremiah 13 in the SBIHS

Jeremiah 13 in the SBIIS

Jeremiah 13 in the SBIIS2

Jeremiah 13 in the SBIIS3

Jeremiah 13 in the SBIKS

Jeremiah 13 in the SBIKS2

Jeremiah 13 in the SBIMS

Jeremiah 13 in the SBIOS

Jeremiah 13 in the SBIPS

Jeremiah 13 in the SBISS

Jeremiah 13 in the SBITS

Jeremiah 13 in the SBITS2

Jeremiah 13 in the SBITS3

Jeremiah 13 in the SBITS4

Jeremiah 13 in the SBIUS

Jeremiah 13 in the SBIVS

Jeremiah 13 in the SBT

Jeremiah 13 in the SBT1E

Jeremiah 13 in the SCHL

Jeremiah 13 in the SNT

Jeremiah 13 in the SUSU

Jeremiah 13 in the SUSU2

Jeremiah 13 in the SYNO

Jeremiah 13 in the TBIAOTANT

Jeremiah 13 in the TBT1E

Jeremiah 13 in the TBT1E2

Jeremiah 13 in the TFTIP

Jeremiah 13 in the TFTU

Jeremiah 13 in the TGNTATF3T

Jeremiah 13 in the THAI

Jeremiah 13 in the TNFD

Jeremiah 13 in the TNT

Jeremiah 13 in the TNTIK

Jeremiah 13 in the TNTIL

Jeremiah 13 in the TNTIN

Jeremiah 13 in the TNTIP

Jeremiah 13 in the TNTIZ

Jeremiah 13 in the TOMA

Jeremiah 13 in the TTENT

Jeremiah 13 in the UBG

Jeremiah 13 in the UGV

Jeremiah 13 in the UGV2

Jeremiah 13 in the UGV3

Jeremiah 13 in the VBL

Jeremiah 13 in the VDCC

Jeremiah 13 in the YALU

Jeremiah 13 in the YAPE

Jeremiah 13 in the YBVTP

Jeremiah 13 in the ZBP