Jeremiah 17 (BOLCB)

1 “Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuman’ejjinja essongovu;kirambiddwa ku mitima gyabwene ku mayembe g’ebyoto byabwe. 2 N’abaana baabwe basinzizaku byoto bya bakatonda ba Aseraebiri ku buli muti oguyimiriddeera ne ku busozi obuwanvu. 3 Olusozi lwange oluli mu nsi,obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,ndibiwaayo byonna binyagibwen’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakiraolw’ekibi ekibunye mu nsi yonna. 4 Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwaogunaayakanga emirembe gyonna.” 5 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntuera eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,era alina omutima oguva ku Katonda. 6 Aliba ng’ekisaka mu ddungu,ataliraba birungi bwe birijja,naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,ensi ey’omunnyo omutali abeeramu. 7 Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga MUKAMA,nga MUKAMA ly’essuubi lye. 8 Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,nga wadde omusana gujja, tegutyan’amakoola gaagwo tegawotoka,so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeyaera teguliremwa kubala bibala. 9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,era gulwadde endwadde etawonyezeka.Ani ayinza okugutegeera? 10 “Nze MUKAMA nkebera omutima,ngezesa emmeeme,okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,ng’ebikolwa bye bwe biri.” 11 Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru. 12 Ekifo kyaffe ekitukuvu,ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye. 13 Ayi MUKAMA essuubi lya Isirayiri,bonna abakuvaako baliswala.Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,kubanga bavudde ku MUKAMA,oluzzi olw’amazzi amalamu. 14 Mponya, Ayi MUKAMA, nange nnaawona,ndokola nange nnaalokoka,kubanga ggwe gwe ntendereza. 15 Tobakkiriza kuŋŋamba nti,“Ekigambo kya MUKAMA kiri ludda wa?Ka kituukirire nno kaakano!” 16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi. 17 Toba wa ntiisa gye ndi,ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku. 18 Abo abanjigganya leka baswale,era onkuume nneme kuswala;leka bagwemu ekyekangonze onkuume nneme okwekanga,batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,bazikiririze ddala. 19 Bw’ati MUKAMA bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya MUKAMA mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera MUKAMA, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya MUKAMA. 27 Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

In Other Versions

Jeremiah 17 in the ANGEFD

Jeremiah 17 in the ANTPNG2D

Jeremiah 17 in the AS21

Jeremiah 17 in the BAGH

Jeremiah 17 in the BBPNG

Jeremiah 17 in the BBT1E

Jeremiah 17 in the BDS

Jeremiah 17 in the BEV

Jeremiah 17 in the BHAD

Jeremiah 17 in the BIB

Jeremiah 17 in the BLPT

Jeremiah 17 in the BNT

Jeremiah 17 in the BNTABOOT

Jeremiah 17 in the BNTLV

Jeremiah 17 in the BOATCB

Jeremiah 17 in the BOATCB2

Jeremiah 17 in the BOBCV

Jeremiah 17 in the BOCNT

Jeremiah 17 in the BOECS

Jeremiah 17 in the BOGWICC

Jeremiah 17 in the BOHCB

Jeremiah 17 in the BOHCV

Jeremiah 17 in the BOHLNT

Jeremiah 17 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 17 in the BOICB

Jeremiah 17 in the BOILNTAP

Jeremiah 17 in the BOITCV

Jeremiah 17 in the BOKCV

Jeremiah 17 in the BOKCV2

Jeremiah 17 in the BOKHWOG

Jeremiah 17 in the BOKSSV

Jeremiah 17 in the BOLCB2

Jeremiah 17 in the BOMCV

Jeremiah 17 in the BONAV

Jeremiah 17 in the BONCB

Jeremiah 17 in the BONLT

Jeremiah 17 in the BONUT2

Jeremiah 17 in the BOPLNT

Jeremiah 17 in the BOSCB

Jeremiah 17 in the BOSNC

Jeremiah 17 in the BOTLNT

Jeremiah 17 in the BOVCB

Jeremiah 17 in the BOYCB

Jeremiah 17 in the BPBB

Jeremiah 17 in the BPH

Jeremiah 17 in the BSB

Jeremiah 17 in the CCB

Jeremiah 17 in the CUV

Jeremiah 17 in the CUVS

Jeremiah 17 in the DBT

Jeremiah 17 in the DGDNT

Jeremiah 17 in the DHNT

Jeremiah 17 in the DNT

Jeremiah 17 in the ELBE

Jeremiah 17 in the EMTV

Jeremiah 17 in the ESV

Jeremiah 17 in the FBV

Jeremiah 17 in the FEB

Jeremiah 17 in the GGMNT

Jeremiah 17 in the GNT

Jeremiah 17 in the HARY

Jeremiah 17 in the HNT

Jeremiah 17 in the IRVA

Jeremiah 17 in the IRVB

Jeremiah 17 in the IRVG

Jeremiah 17 in the IRVH

Jeremiah 17 in the IRVK

Jeremiah 17 in the IRVM

Jeremiah 17 in the IRVM2

Jeremiah 17 in the IRVO

Jeremiah 17 in the IRVP

Jeremiah 17 in the IRVT

Jeremiah 17 in the IRVT2

Jeremiah 17 in the IRVU

Jeremiah 17 in the ISVN

Jeremiah 17 in the JSNT

Jeremiah 17 in the KAPI

Jeremiah 17 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 17 in the KBV

Jeremiah 17 in the KJV

Jeremiah 17 in the KNFD

Jeremiah 17 in the LBA

Jeremiah 17 in the LBLA

Jeremiah 17 in the LNT

Jeremiah 17 in the LSV

Jeremiah 17 in the MAAL

Jeremiah 17 in the MBV

Jeremiah 17 in the MBV2

Jeremiah 17 in the MHNT

Jeremiah 17 in the MKNFD

Jeremiah 17 in the MNG

Jeremiah 17 in the MNT

Jeremiah 17 in the MNT2

Jeremiah 17 in the MRS1T

Jeremiah 17 in the NAA

Jeremiah 17 in the NASB

Jeremiah 17 in the NBLA

Jeremiah 17 in the NBS

Jeremiah 17 in the NBVTP

Jeremiah 17 in the NET2

Jeremiah 17 in the NIV11

Jeremiah 17 in the NNT

Jeremiah 17 in the NNT2

Jeremiah 17 in the NNT3

Jeremiah 17 in the PDDPT

Jeremiah 17 in the PFNT

Jeremiah 17 in the RMNT

Jeremiah 17 in the SBIAS

Jeremiah 17 in the SBIBS

Jeremiah 17 in the SBIBS2

Jeremiah 17 in the SBICS

Jeremiah 17 in the SBIDS

Jeremiah 17 in the SBIGS

Jeremiah 17 in the SBIHS

Jeremiah 17 in the SBIIS

Jeremiah 17 in the SBIIS2

Jeremiah 17 in the SBIIS3

Jeremiah 17 in the SBIKS

Jeremiah 17 in the SBIKS2

Jeremiah 17 in the SBIMS

Jeremiah 17 in the SBIOS

Jeremiah 17 in the SBIPS

Jeremiah 17 in the SBISS

Jeremiah 17 in the SBITS

Jeremiah 17 in the SBITS2

Jeremiah 17 in the SBITS3

Jeremiah 17 in the SBITS4

Jeremiah 17 in the SBIUS

Jeremiah 17 in the SBIVS

Jeremiah 17 in the SBT

Jeremiah 17 in the SBT1E

Jeremiah 17 in the SCHL

Jeremiah 17 in the SNT

Jeremiah 17 in the SUSU

Jeremiah 17 in the SUSU2

Jeremiah 17 in the SYNO

Jeremiah 17 in the TBIAOTANT

Jeremiah 17 in the TBT1E

Jeremiah 17 in the TBT1E2

Jeremiah 17 in the TFTIP

Jeremiah 17 in the TFTU

Jeremiah 17 in the TGNTATF3T

Jeremiah 17 in the THAI

Jeremiah 17 in the TNFD

Jeremiah 17 in the TNT

Jeremiah 17 in the TNTIK

Jeremiah 17 in the TNTIL

Jeremiah 17 in the TNTIN

Jeremiah 17 in the TNTIP

Jeremiah 17 in the TNTIZ

Jeremiah 17 in the TOMA

Jeremiah 17 in the TTENT

Jeremiah 17 in the UBG

Jeremiah 17 in the UGV

Jeremiah 17 in the UGV2

Jeremiah 17 in the UGV3

Jeremiah 17 in the VBL

Jeremiah 17 in the VDCC

Jeremiah 17 in the YALU

Jeremiah 17 in the YAPE

Jeremiah 17 in the YBVTP

Jeremiah 17 in the ZBP