Jeremiah 23 (BOLCB)
1 “Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera MUKAMA. 2 Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera MUKAMA. 3 “Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. 4 Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera MUKAMA. 5 “Ennaku zijja,lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,Kabaka alikulembera n’amageziakole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera MUKAMA. 6 Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwane Isirayiri alibeera mu mirembe.Lino lye linnya lye balimuyita: MUKAMA Obutukuvu Bwaffe. 7 “Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga MUKAMA bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera MUKAMA, 8 naye bagambe nti, ‘Ddala nga MUKAMA bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera MUKAMA. 9 Ebikwata ku bannabbi:omutima gwange gwennyise mu nda yangeamagumba gange gonna gakankana,nninga omusajja omutamiivu,ng’omusajja afugiddwa omwenge,ku lwa MUKAMAn’ebigambo bye ebitukuvu. 10 Ensi ejjudde abenzi;olw’ekikolimo ensi esigadde nkaluera n’amalundiro g’omu ddungu meereere.Bannabbi bagoberera amakubo amabiera bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya. 11 “Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”bw’ayogera MUKAMA. 12 “Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseereraera bajja kusuulibwa mu kizikizaera eyo gye baligwira.Ndibaleetako okuzikiriramu mwaka gwe balibonerezebwamu,”bw’ayogera MUKAMA. 13 “Mu bannabbi b’e Samaliyanalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.Balagulira wansi wa Baaline babuza abantu bange Isirayiri. 14 Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemindabye ekintu ekibi ennyo.Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.Bagumya abo abakozi b’ebibine wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.Bonna bali nga Sodomu gye ndi;abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.” 15 Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,“Nzija kubaliisa emmere ekaawabanywe amazzi ag’obutwa,kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.” 16 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’eggye nti,“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:babajjuza essuubi ekyamu.Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,so si ebiva mu kamwa ka MUKAMA Katonda. 17 Bagamba abo abannyooma nti,‘MUKAMA Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwebabagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’ 18 Naye ani ku boeyali abadde mu lukiiko lwa MUKAMA Katonda okulabaoba okuwulira ekigambo kye? 19 Laba, omuyaga gwa MUKAMAgujja kubwatuka n’ekiruyi,empewo ey’akazimueyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi. 20 Obusungu bwa MUKAMA tebujja kukomaokutuusa ng’amaze okutuukirizaekigendererwa ky’omutima gwe.Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 21 Situmanga bannabbi bano,songa bagendabadduka n’obubaka buno,era sogeranga nabo,songa bategeeza obunnabbi. 22 Naye singa bayimirira mu maaso gange,bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,era bandibaggye mu makubo gaabwe amabiera ne mu bikolwa byabwe ebibi. 23 “Ndi Katonda abeera okumpi wokka,so si abeera ewala?”bw’ayogera MUKAMA. 24 “Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyamane sisobola kumulaba?”bw’ayogera MUKAMA.“Sijjuza eggulu n’ensi?”bw’ayogera MUKAMA. 25 “Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera MUKAMA. 29 “Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera MUKAMA. 30 “Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera MUKAMA. 31 “Weewaawo,” bw’ayogera MUKAMA, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo MUKAMA bw’agamba.’ 32 Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera MUKAMA. 33 “Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki MUKAMA bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera MUKAMA.’ 34 Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa MUKAMA,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 35 Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘MUKAMA, azeemu ki? Oba kiki MUKAMA ky’ayogedde?’ 36 Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa MUKAMA,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, MUKAMA ow’Eggye, Katonda waffe. 37 Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki MUKAMA kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘MUKAMA, agambye ki?’ 38 Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka MUKAMA bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa MUKAMA,’ 39 kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 40 Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”