Jeremiah 4 (BOLCB)

1 “Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera MUKAMA,“eri nze gy’olina okudda.Bw’oneggyako eby’omuzizo byonnan’otosagaasagana, 2 era singa olayira mu mazima, mu bwenkanyaera mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga MUKAMA bw’ali omulamu,’olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisaera mu ye mwe ganeenyumiririzanga.” 3 Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,temusiga mu maggwa. 4 Mukoowoole MUKAMA,mweweeyo mutukuze emitima gyammwemwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,ne wataba ayinza kubuzikiza.” 5 “Kirangirire mu Yudaera okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’ 6 Weereza obubaka eri Sayuuni nti,Mudduke temulwa,kubanga ndireeta okuzikiriza okuva mu bukiikakkono,okuzikiriza okw’amaanyi.” 7 Empologoma evudde mu kisaka kyayo,omuzikiriza w’amawanga afulumye gy’abeera, azze okumalawo ensi yo.Ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwabibuleko abibeeramu. 8 Noolwekyo mwambale ebibukutu mukungubage,mukube ebiwoobekubanga obusungu bwa MUKAMA obw’amaanyi tebutuvuddeeko. 9 MUKAMA n’agamba nti, “Ku lunaku olwo,kabaka n’omukungu baliggwaamu omwoyo,bakabona basamaalirirene bannabbi beewuunye.” 10 Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Woowe MUKAMA Katonda, mazima olimbidde ddala abantu bano ne Yerusaalemi ng’ogamba nti, ‘Mulibeera n’emirembe,’ ate nga ekitala kiri ddala ku mimiro gyaffe.” 11 Mu biseera ebyo abantu bano ne Yerusaalemi balibuulirwa nti, “Embuyaga ezookya eziva ku nsozi ezaakala ez’omu ddungu zifuuwa abantu bange nga teziwujja buwuzzi wadde okulongoosa obulongoosa 12 embuyaga ezisingako awo ze ziriva gye ndi. Era kaakano mbasalira emisango.” 13 Laba ajja ng’ebire,amagaali ge ng’empewo y’akazimu,embalaasi ze zidduka okusinga empungu;zitusanze ffe kubanga tuzikiridde! 14 Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.Olikomya ddi ebirowoozo ebibi? 15 Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu. 16 “Labula amawanga nti ajja:kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalonga balumba ebibuga bya Yuda. 17 Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimirokubanga Yuda yanjeemera,’ ”bw’ayogera MUKAMA. 18 “Empisa zammwe,n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.Kino kye kibonerezo kyammwe.Nga kya bulumi!Nga kifumita omutima.” 19 Obulumi, Ayi Obulumi!Neenyoolera mu bulumi!Ayi obulumi bw’omutima gwange!Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,mpulidde enduulu z’olutalo. 20 Okuzikirizibwa kweyongeddekoera ensi yonna eyonooneddwa.Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,n’entimbe zange nga kutemya kikowe. 21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalon’okuwulira amaloboozi g’amakondeere? 22 “Kubanga abantu bange basirusiru,tebammanyi.Baana abatalina magezi;abatategeera.Bakagezimunnyu mu kukola ebibi,tebamanyi kukola birungi.” 23 Natunuulira ensi,nga njereere,ate ne ntunula ne ku ggulu,ng’ekitangaala kigenze. 24 Natunuulira agasozinga gajugumira,n’ensozi zonna zaali ziyuuguuma. 25 Natunula, era laba, waali tewasigadde muntu n’omu,era n’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bidduse. 26 Natunula, era laba, ensi ey’ebibala ebingi ng’efuuse ddungu,era n’ebibuga byayo byonna nga byonoonese, mu maaso ga MUKAMA,olw’obusungu bwe obungi. 27 Kubanga bw’atyo bw’ayogera MUKAMA nti,“Ensi yonna eriyonoonebwa,wadde nga sirigizikiririza ddala. 28 Noolwekyo ensi erikungubagaera n’eggulu waggulu lirikwata ekizikiza,kubanga njogeddeera maliridde sijja kwejjusa wadde okukyusaamu.” 29 Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,ebibuga byonna biribuna emiwabo,abamu beesogge ebisaka;n’abalala balinnye waggulu ku njazi.Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;tewali abibeeramu. 30 Okola ki ggwe,ggwe eyayonoonebwa?Lwaki oyambala engoye entwakaavu,ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,n’amaaso n’ogasiiga langi?Omala biseera nga weeyonja.Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta. 31 Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,“Zinsanze nze, nzirika.Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”

In Other Versions

Jeremiah 4 in the ANGEFD

Jeremiah 4 in the ANTPNG2D

Jeremiah 4 in the AS21

Jeremiah 4 in the BAGH

Jeremiah 4 in the BBPNG

Jeremiah 4 in the BBT1E

Jeremiah 4 in the BDS

Jeremiah 4 in the BEV

Jeremiah 4 in the BHAD

Jeremiah 4 in the BIB

Jeremiah 4 in the BLPT

Jeremiah 4 in the BNT

Jeremiah 4 in the BNTABOOT

Jeremiah 4 in the BNTLV

Jeremiah 4 in the BOATCB

Jeremiah 4 in the BOATCB2

Jeremiah 4 in the BOBCV

Jeremiah 4 in the BOCNT

Jeremiah 4 in the BOECS

Jeremiah 4 in the BOGWICC

Jeremiah 4 in the BOHCB

Jeremiah 4 in the BOHCV

Jeremiah 4 in the BOHLNT

Jeremiah 4 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 4 in the BOICB

Jeremiah 4 in the BOILNTAP

Jeremiah 4 in the BOITCV

Jeremiah 4 in the BOKCV

Jeremiah 4 in the BOKCV2

Jeremiah 4 in the BOKHWOG

Jeremiah 4 in the BOKSSV

Jeremiah 4 in the BOLCB2

Jeremiah 4 in the BOMCV

Jeremiah 4 in the BONAV

Jeremiah 4 in the BONCB

Jeremiah 4 in the BONLT

Jeremiah 4 in the BONUT2

Jeremiah 4 in the BOPLNT

Jeremiah 4 in the BOSCB

Jeremiah 4 in the BOSNC

Jeremiah 4 in the BOTLNT

Jeremiah 4 in the BOVCB

Jeremiah 4 in the BOYCB

Jeremiah 4 in the BPBB

Jeremiah 4 in the BPH

Jeremiah 4 in the BSB

Jeremiah 4 in the CCB

Jeremiah 4 in the CUV

Jeremiah 4 in the CUVS

Jeremiah 4 in the DBT

Jeremiah 4 in the DGDNT

Jeremiah 4 in the DHNT

Jeremiah 4 in the DNT

Jeremiah 4 in the ELBE

Jeremiah 4 in the EMTV

Jeremiah 4 in the ESV

Jeremiah 4 in the FBV

Jeremiah 4 in the FEB

Jeremiah 4 in the GGMNT

Jeremiah 4 in the GNT

Jeremiah 4 in the HARY

Jeremiah 4 in the HNT

Jeremiah 4 in the IRVA

Jeremiah 4 in the IRVB

Jeremiah 4 in the IRVG

Jeremiah 4 in the IRVH

Jeremiah 4 in the IRVK

Jeremiah 4 in the IRVM

Jeremiah 4 in the IRVM2

Jeremiah 4 in the IRVO

Jeremiah 4 in the IRVP

Jeremiah 4 in the IRVT

Jeremiah 4 in the IRVT2

Jeremiah 4 in the IRVU

Jeremiah 4 in the ISVN

Jeremiah 4 in the JSNT

Jeremiah 4 in the KAPI

Jeremiah 4 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 4 in the KBV

Jeremiah 4 in the KJV

Jeremiah 4 in the KNFD

Jeremiah 4 in the LBA

Jeremiah 4 in the LBLA

Jeremiah 4 in the LNT

Jeremiah 4 in the LSV

Jeremiah 4 in the MAAL

Jeremiah 4 in the MBV

Jeremiah 4 in the MBV2

Jeremiah 4 in the MHNT

Jeremiah 4 in the MKNFD

Jeremiah 4 in the MNG

Jeremiah 4 in the MNT

Jeremiah 4 in the MNT2

Jeremiah 4 in the MRS1T

Jeremiah 4 in the NAA

Jeremiah 4 in the NASB

Jeremiah 4 in the NBLA

Jeremiah 4 in the NBS

Jeremiah 4 in the NBVTP

Jeremiah 4 in the NET2

Jeremiah 4 in the NIV11

Jeremiah 4 in the NNT

Jeremiah 4 in the NNT2

Jeremiah 4 in the NNT3

Jeremiah 4 in the PDDPT

Jeremiah 4 in the PFNT

Jeremiah 4 in the RMNT

Jeremiah 4 in the SBIAS

Jeremiah 4 in the SBIBS

Jeremiah 4 in the SBIBS2

Jeremiah 4 in the SBICS

Jeremiah 4 in the SBIDS

Jeremiah 4 in the SBIGS

Jeremiah 4 in the SBIHS

Jeremiah 4 in the SBIIS

Jeremiah 4 in the SBIIS2

Jeremiah 4 in the SBIIS3

Jeremiah 4 in the SBIKS

Jeremiah 4 in the SBIKS2

Jeremiah 4 in the SBIMS

Jeremiah 4 in the SBIOS

Jeremiah 4 in the SBIPS

Jeremiah 4 in the SBISS

Jeremiah 4 in the SBITS

Jeremiah 4 in the SBITS2

Jeremiah 4 in the SBITS3

Jeremiah 4 in the SBITS4

Jeremiah 4 in the SBIUS

Jeremiah 4 in the SBIVS

Jeremiah 4 in the SBT

Jeremiah 4 in the SBT1E

Jeremiah 4 in the SCHL

Jeremiah 4 in the SNT

Jeremiah 4 in the SUSU

Jeremiah 4 in the SUSU2

Jeremiah 4 in the SYNO

Jeremiah 4 in the TBIAOTANT

Jeremiah 4 in the TBT1E

Jeremiah 4 in the TBT1E2

Jeremiah 4 in the TFTIP

Jeremiah 4 in the TFTU

Jeremiah 4 in the TGNTATF3T

Jeremiah 4 in the THAI

Jeremiah 4 in the TNFD

Jeremiah 4 in the TNT

Jeremiah 4 in the TNTIK

Jeremiah 4 in the TNTIL

Jeremiah 4 in the TNTIN

Jeremiah 4 in the TNTIP

Jeremiah 4 in the TNTIZ

Jeremiah 4 in the TOMA

Jeremiah 4 in the TTENT

Jeremiah 4 in the UBG

Jeremiah 4 in the UGV

Jeremiah 4 in the UGV2

Jeremiah 4 in the UGV3

Jeremiah 4 in the VBL

Jeremiah 4 in the VDCC

Jeremiah 4 in the YALU

Jeremiah 4 in the YAPE

Jeremiah 4 in the YBVTP

Jeremiah 4 in the ZBP