Matthew 10 (BOLCB)

1 Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri. 2 Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano: Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero;ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo; 3 Firipo; ne Battolomaayo;ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo; 4 ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe. 5 Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya. 6 Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula. 7 Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’ 8 Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa. 9 “Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, 10 wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba. 11 Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12 Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. 13 Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 14 Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu ey’oku bigere byammwe. 15 Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago. 16 “Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba. 17 Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. 18 Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. 19 Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. 20 Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe! 21 “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta. 22 Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa. 23 Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja. 24 “Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye. 26 “Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi. 32 “Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 34 “Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. 35 Kubanga najja okwawukanya “ ‘omwana owoobulenzi ne kitaawe, n’omwana owoobuwala ne nnyina n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we. 36 Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’ 37 “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. 38 N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira. 39 Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola. 40 “Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma. 41 Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu. 42 Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”

In Other Versions

Matthew 10 in the ANGEFD

Matthew 10 in the ANTPNG2D

Matthew 10 in the AS21

Matthew 10 in the BAGH

Matthew 10 in the BBPNG

Matthew 10 in the BBT1E

Matthew 10 in the BDS

Matthew 10 in the BEV

Matthew 10 in the BHAD

Matthew 10 in the BIB

Matthew 10 in the BLPT

Matthew 10 in the BNT

Matthew 10 in the BNTABOOT

Matthew 10 in the BNTLV

Matthew 10 in the BOATCB

Matthew 10 in the BOATCB2

Matthew 10 in the BOBCV

Matthew 10 in the BOCNT

Matthew 10 in the BOECS

Matthew 10 in the BOGWICC

Matthew 10 in the BOHCB

Matthew 10 in the BOHCV

Matthew 10 in the BOHLNT

Matthew 10 in the BOHNTLTAL

Matthew 10 in the BOICB

Matthew 10 in the BOILNTAP

Matthew 10 in the BOITCV

Matthew 10 in the BOKCV

Matthew 10 in the BOKCV2

Matthew 10 in the BOKHWOG

Matthew 10 in the BOKSSV

Matthew 10 in the BOLCB2

Matthew 10 in the BOMCV

Matthew 10 in the BONAV

Matthew 10 in the BONCB

Matthew 10 in the BONLT

Matthew 10 in the BONUT2

Matthew 10 in the BOPLNT

Matthew 10 in the BOSCB

Matthew 10 in the BOSNC

Matthew 10 in the BOTLNT

Matthew 10 in the BOVCB

Matthew 10 in the BOYCB

Matthew 10 in the BPBB

Matthew 10 in the BPH

Matthew 10 in the BSB

Matthew 10 in the CCB

Matthew 10 in the CUV

Matthew 10 in the CUVS

Matthew 10 in the DBT

Matthew 10 in the DGDNT

Matthew 10 in the DHNT

Matthew 10 in the DNT

Matthew 10 in the ELBE

Matthew 10 in the EMTV

Matthew 10 in the ESV

Matthew 10 in the FBV

Matthew 10 in the FEB

Matthew 10 in the GGMNT

Matthew 10 in the GNT

Matthew 10 in the HARY

Matthew 10 in the HNT

Matthew 10 in the IRVA

Matthew 10 in the IRVB

Matthew 10 in the IRVG

Matthew 10 in the IRVH

Matthew 10 in the IRVK

Matthew 10 in the IRVM

Matthew 10 in the IRVM2

Matthew 10 in the IRVO

Matthew 10 in the IRVP

Matthew 10 in the IRVT

Matthew 10 in the IRVT2

Matthew 10 in the IRVU

Matthew 10 in the ISVN

Matthew 10 in the JSNT

Matthew 10 in the KAPI

Matthew 10 in the KBT1ETNIK

Matthew 10 in the KBV

Matthew 10 in the KJV

Matthew 10 in the KNFD

Matthew 10 in the LBA

Matthew 10 in the LBLA

Matthew 10 in the LNT

Matthew 10 in the LSV

Matthew 10 in the MAAL

Matthew 10 in the MBV

Matthew 10 in the MBV2

Matthew 10 in the MHNT

Matthew 10 in the MKNFD

Matthew 10 in the MNG

Matthew 10 in the MNT

Matthew 10 in the MNT2

Matthew 10 in the MRS1T

Matthew 10 in the NAA

Matthew 10 in the NASB

Matthew 10 in the NBLA

Matthew 10 in the NBS

Matthew 10 in the NBVTP

Matthew 10 in the NET2

Matthew 10 in the NIV11

Matthew 10 in the NNT

Matthew 10 in the NNT2

Matthew 10 in the NNT3

Matthew 10 in the PDDPT

Matthew 10 in the PFNT

Matthew 10 in the RMNT

Matthew 10 in the SBIAS

Matthew 10 in the SBIBS

Matthew 10 in the SBIBS2

Matthew 10 in the SBICS

Matthew 10 in the SBIDS

Matthew 10 in the SBIGS

Matthew 10 in the SBIHS

Matthew 10 in the SBIIS

Matthew 10 in the SBIIS2

Matthew 10 in the SBIIS3

Matthew 10 in the SBIKS

Matthew 10 in the SBIKS2

Matthew 10 in the SBIMS

Matthew 10 in the SBIOS

Matthew 10 in the SBIPS

Matthew 10 in the SBISS

Matthew 10 in the SBITS

Matthew 10 in the SBITS2

Matthew 10 in the SBITS3

Matthew 10 in the SBITS4

Matthew 10 in the SBIUS

Matthew 10 in the SBIVS

Matthew 10 in the SBT

Matthew 10 in the SBT1E

Matthew 10 in the SCHL

Matthew 10 in the SNT

Matthew 10 in the SUSU

Matthew 10 in the SUSU2

Matthew 10 in the SYNO

Matthew 10 in the TBIAOTANT

Matthew 10 in the TBT1E

Matthew 10 in the TBT1E2

Matthew 10 in the TFTIP

Matthew 10 in the TFTU

Matthew 10 in the TGNTATF3T

Matthew 10 in the THAI

Matthew 10 in the TNFD

Matthew 10 in the TNT

Matthew 10 in the TNTIK

Matthew 10 in the TNTIL

Matthew 10 in the TNTIN

Matthew 10 in the TNTIP

Matthew 10 in the TNTIZ

Matthew 10 in the TOMA

Matthew 10 in the TTENT

Matthew 10 in the UBG

Matthew 10 in the UGV

Matthew 10 in the UGV2

Matthew 10 in the UGV3

Matthew 10 in the VBL

Matthew 10 in the VDCC

Matthew 10 in the YALU

Matthew 10 in the YAPE

Matthew 10 in the YBVTP

Matthew 10 in the ZBP