Matthew 14 (BOLCB)
1 Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu 2 n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.” 3 Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, 4 kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” 5 Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi. 6 Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. 7 Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. 8 Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” 9 Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina. 12 Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu. 13 Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. 14 Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe. 15 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.” 16 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.” 17 Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.” 18 N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.” 19 N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20 Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21 Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana. 22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda. 25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu. 27 Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.” 28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.” 29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu. 30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!” 31 Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?” 32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!” 34 Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti. 35 Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. 36 Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.
In Other Versions
Matthew 14 in the ANGEFD
Matthew 14 in the ANTPNG2D
Matthew 14 in the AS21
Matthew 14 in the BAGH
Matthew 14 in the BBPNG
Matthew 14 in the BBT1E
Matthew 14 in the BDS
Matthew 14 in the BEV
Matthew 14 in the BHAD
Matthew 14 in the BIB
Matthew 14 in the BLPT
Matthew 14 in the BNT
Matthew 14 in the BNTABOOT
Matthew 14 in the BNTLV
Matthew 14 in the BOATCB
Matthew 14 in the BOATCB2
Matthew 14 in the BOBCV
Matthew 14 in the BOCNT
Matthew 14 in the BOECS
Matthew 14 in the BOGWICC
Matthew 14 in the BOHCB
Matthew 14 in the BOHCV
Matthew 14 in the BOHLNT
Matthew 14 in the BOHNTLTAL
Matthew 14 in the BOICB
Matthew 14 in the BOILNTAP
Matthew 14 in the BOITCV
Matthew 14 in the BOKCV
Matthew 14 in the BOKCV2
Matthew 14 in the BOKHWOG
Matthew 14 in the BOKSSV
Matthew 14 in the BOLCB2
Matthew 14 in the BOMCV
Matthew 14 in the BONAV
Matthew 14 in the BONCB
Matthew 14 in the BONLT
Matthew 14 in the BONUT2
Matthew 14 in the BOPLNT
Matthew 14 in the BOSCB
Matthew 14 in the BOSNC
Matthew 14 in the BOTLNT
Matthew 14 in the BOVCB
Matthew 14 in the BOYCB
Matthew 14 in the BPBB
Matthew 14 in the BPH
Matthew 14 in the BSB
Matthew 14 in the CCB
Matthew 14 in the CUV
Matthew 14 in the CUVS
Matthew 14 in the DBT
Matthew 14 in the DGDNT
Matthew 14 in the DHNT
Matthew 14 in the DNT
Matthew 14 in the ELBE
Matthew 14 in the EMTV
Matthew 14 in the ESV
Matthew 14 in the FBV
Matthew 14 in the FEB
Matthew 14 in the GGMNT
Matthew 14 in the GNT
Matthew 14 in the HARY
Matthew 14 in the HNT
Matthew 14 in the IRVA
Matthew 14 in the IRVB
Matthew 14 in the IRVG
Matthew 14 in the IRVH
Matthew 14 in the IRVK
Matthew 14 in the IRVM
Matthew 14 in the IRVM2
Matthew 14 in the IRVO
Matthew 14 in the IRVP
Matthew 14 in the IRVT
Matthew 14 in the IRVT2
Matthew 14 in the IRVU
Matthew 14 in the ISVN
Matthew 14 in the JSNT
Matthew 14 in the KAPI
Matthew 14 in the KBT1ETNIK
Matthew 14 in the KBV
Matthew 14 in the KJV
Matthew 14 in the KNFD
Matthew 14 in the LBA
Matthew 14 in the LBLA
Matthew 14 in the LNT
Matthew 14 in the LSV
Matthew 14 in the MAAL
Matthew 14 in the MBV
Matthew 14 in the MBV2
Matthew 14 in the MHNT
Matthew 14 in the MKNFD
Matthew 14 in the MNG
Matthew 14 in the MNT
Matthew 14 in the MNT2
Matthew 14 in the MRS1T
Matthew 14 in the NAA
Matthew 14 in the NASB
Matthew 14 in the NBLA
Matthew 14 in the NBS
Matthew 14 in the NBVTP
Matthew 14 in the NET2
Matthew 14 in the NIV11
Matthew 14 in the NNT
Matthew 14 in the NNT2
Matthew 14 in the NNT3
Matthew 14 in the PDDPT
Matthew 14 in the PFNT
Matthew 14 in the RMNT
Matthew 14 in the SBIAS
Matthew 14 in the SBIBS
Matthew 14 in the SBIBS2
Matthew 14 in the SBICS
Matthew 14 in the SBIDS
Matthew 14 in the SBIGS
Matthew 14 in the SBIHS
Matthew 14 in the SBIIS
Matthew 14 in the SBIIS2
Matthew 14 in the SBIIS3
Matthew 14 in the SBIKS
Matthew 14 in the SBIKS2
Matthew 14 in the SBIMS
Matthew 14 in the SBIOS
Matthew 14 in the SBIPS
Matthew 14 in the SBISS
Matthew 14 in the SBITS
Matthew 14 in the SBITS2
Matthew 14 in the SBITS3
Matthew 14 in the SBITS4
Matthew 14 in the SBIUS
Matthew 14 in the SBIVS
Matthew 14 in the SBT
Matthew 14 in the SBT1E
Matthew 14 in the SCHL
Matthew 14 in the SNT
Matthew 14 in the SUSU
Matthew 14 in the SUSU2
Matthew 14 in the SYNO
Matthew 14 in the TBIAOTANT
Matthew 14 in the TBT1E
Matthew 14 in the TBT1E2
Matthew 14 in the TFTIP
Matthew 14 in the TFTU
Matthew 14 in the TGNTATF3T
Matthew 14 in the THAI
Matthew 14 in the TNFD
Matthew 14 in the TNT
Matthew 14 in the TNTIK
Matthew 14 in the TNTIL
Matthew 14 in the TNTIN
Matthew 14 in the TNTIP
Matthew 14 in the TNTIZ
Matthew 14 in the TOMA
Matthew 14 in the TTENT
Matthew 14 in the UBG
Matthew 14 in the UGV
Matthew 14 in the UGV2
Matthew 14 in the UGV3
Matthew 14 in the VBL
Matthew 14 in the VDCC
Matthew 14 in the YALU
Matthew 14 in the YAPE
Matthew 14 in the YBVTP
Matthew 14 in the ZBP