Matthew 20 (BOLCB)

1 Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. 2 N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu. 3 “Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, 4 nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ 5 Ne bagenda. “Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu. 6 Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’ 7 “Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’ 8 “Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma. 9 “Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu. 10 Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali. 11 Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro 12 nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’ 13 “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? 14 Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 15 Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’ 16 “Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.” 17 Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti, 18 “Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa. 19 Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” 20 Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba. 21 Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.” 22 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.” 23 N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.” 24 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 25 Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi. 26 Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. 27 Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe. 28 Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.” 29 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 30 Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!” 31 Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.” 32 Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?” 33 Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.” 34 Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

In Other Versions

Matthew 20 in the ANGEFD

Matthew 20 in the ANTPNG2D

Matthew 20 in the AS21

Matthew 20 in the BAGH

Matthew 20 in the BBPNG

Matthew 20 in the BBT1E

Matthew 20 in the BDS

Matthew 20 in the BEV

Matthew 20 in the BHAD

Matthew 20 in the BIB

Matthew 20 in the BLPT

Matthew 20 in the BNT

Matthew 20 in the BNTABOOT

Matthew 20 in the BNTLV

Matthew 20 in the BOATCB

Matthew 20 in the BOATCB2

Matthew 20 in the BOBCV

Matthew 20 in the BOCNT

Matthew 20 in the BOECS

Matthew 20 in the BOGWICC

Matthew 20 in the BOHCB

Matthew 20 in the BOHCV

Matthew 20 in the BOHLNT

Matthew 20 in the BOHNTLTAL

Matthew 20 in the BOICB

Matthew 20 in the BOILNTAP

Matthew 20 in the BOITCV

Matthew 20 in the BOKCV

Matthew 20 in the BOKCV2

Matthew 20 in the BOKHWOG

Matthew 20 in the BOKSSV

Matthew 20 in the BOLCB2

Matthew 20 in the BOMCV

Matthew 20 in the BONAV

Matthew 20 in the BONCB

Matthew 20 in the BONLT

Matthew 20 in the BONUT2

Matthew 20 in the BOPLNT

Matthew 20 in the BOSCB

Matthew 20 in the BOSNC

Matthew 20 in the BOTLNT

Matthew 20 in the BOVCB

Matthew 20 in the BOYCB

Matthew 20 in the BPBB

Matthew 20 in the BPH

Matthew 20 in the BSB

Matthew 20 in the CCB

Matthew 20 in the CUV

Matthew 20 in the CUVS

Matthew 20 in the DBT

Matthew 20 in the DGDNT

Matthew 20 in the DHNT

Matthew 20 in the DNT

Matthew 20 in the ELBE

Matthew 20 in the EMTV

Matthew 20 in the ESV

Matthew 20 in the FBV

Matthew 20 in the FEB

Matthew 20 in the GGMNT

Matthew 20 in the GNT

Matthew 20 in the HARY

Matthew 20 in the HNT

Matthew 20 in the IRVA

Matthew 20 in the IRVB

Matthew 20 in the IRVG

Matthew 20 in the IRVH

Matthew 20 in the IRVK

Matthew 20 in the IRVM

Matthew 20 in the IRVM2

Matthew 20 in the IRVO

Matthew 20 in the IRVP

Matthew 20 in the IRVT

Matthew 20 in the IRVT2

Matthew 20 in the IRVU

Matthew 20 in the ISVN

Matthew 20 in the JSNT

Matthew 20 in the KAPI

Matthew 20 in the KBT1ETNIK

Matthew 20 in the KBV

Matthew 20 in the KJV

Matthew 20 in the KNFD

Matthew 20 in the LBA

Matthew 20 in the LBLA

Matthew 20 in the LNT

Matthew 20 in the LSV

Matthew 20 in the MAAL

Matthew 20 in the MBV

Matthew 20 in the MBV2

Matthew 20 in the MHNT

Matthew 20 in the MKNFD

Matthew 20 in the MNG

Matthew 20 in the MNT

Matthew 20 in the MNT2

Matthew 20 in the MRS1T

Matthew 20 in the NAA

Matthew 20 in the NASB

Matthew 20 in the NBLA

Matthew 20 in the NBS

Matthew 20 in the NBVTP

Matthew 20 in the NET2

Matthew 20 in the NIV11

Matthew 20 in the NNT

Matthew 20 in the NNT2

Matthew 20 in the NNT3

Matthew 20 in the PDDPT

Matthew 20 in the PFNT

Matthew 20 in the RMNT

Matthew 20 in the SBIAS

Matthew 20 in the SBIBS

Matthew 20 in the SBIBS2

Matthew 20 in the SBICS

Matthew 20 in the SBIDS

Matthew 20 in the SBIGS

Matthew 20 in the SBIHS

Matthew 20 in the SBIIS

Matthew 20 in the SBIIS2

Matthew 20 in the SBIIS3

Matthew 20 in the SBIKS

Matthew 20 in the SBIKS2

Matthew 20 in the SBIMS

Matthew 20 in the SBIOS

Matthew 20 in the SBIPS

Matthew 20 in the SBISS

Matthew 20 in the SBITS

Matthew 20 in the SBITS2

Matthew 20 in the SBITS3

Matthew 20 in the SBITS4

Matthew 20 in the SBIUS

Matthew 20 in the SBIVS

Matthew 20 in the SBT

Matthew 20 in the SBT1E

Matthew 20 in the SCHL

Matthew 20 in the SNT

Matthew 20 in the SUSU

Matthew 20 in the SUSU2

Matthew 20 in the SYNO

Matthew 20 in the TBIAOTANT

Matthew 20 in the TBT1E

Matthew 20 in the TBT1E2

Matthew 20 in the TFTIP

Matthew 20 in the TFTU

Matthew 20 in the TGNTATF3T

Matthew 20 in the THAI

Matthew 20 in the TNFD

Matthew 20 in the TNT

Matthew 20 in the TNTIK

Matthew 20 in the TNTIL

Matthew 20 in the TNTIN

Matthew 20 in the TNTIP

Matthew 20 in the TNTIZ

Matthew 20 in the TOMA

Matthew 20 in the TTENT

Matthew 20 in the UBG

Matthew 20 in the UGV

Matthew 20 in the UGV2

Matthew 20 in the UGV3

Matthew 20 in the VBL

Matthew 20 in the VDCC

Matthew 20 in the YALU

Matthew 20 in the YAPE

Matthew 20 in the YBVTP

Matthew 20 in the ZBP