Matthew 26 (BOLCB)
1 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, 2 “Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.” 3 Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, 4 nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. 5 Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu. 6 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku mutwe gwa Yesu. 8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.” 10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.” 14 Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe. 17 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?” 18 Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako. 20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.” 22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?” 23 Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 24 Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.” 25 Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.” 26 Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.” 27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.” 30 Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni. 31 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira. “Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’ 32 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.” 34 Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo. 36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.” 39 N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.” 40 N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!” 42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri. 45 Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!” 47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba. 50 Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.” Awo abalala ne bakwata Yesu. 51 Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 52 Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?” 55 Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka. 57 Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ” 62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 Naye Yesu n’asirika busirisi.Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.” 64 Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!” 67 Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?” 69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.” 70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.” 71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.” 72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.” 73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.” 74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima. 75 Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.