Psalms 11 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1 Mu MUKAMA mwe neekweka;ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi? 2 Kubanga laba ababi baleega emitego gyabweegy’obusaale,balase abalina omutimaomulongoofu. 3 Emisingi nga gizikirizibwa,omutuukirivu ayinza kukola ki?” 4 MUKAMA ali mu Yeekaalu ye entukuvu; MUKAMA atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.Amaaso ge gatunuuliraera geetegereza abaana b’abantu. 5 MUKAMA akebera abatuukirivunaye omutima gwe gukyawa ababi,n’abakola eby’obukambwe. 6 Ababi alibayiwakoamanda ag’omuliro;n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe. 7 Kubanga MUKAMA mutuukirivuera ayagala eby’obutuukirivu;abo abalongoofu be balimulaba.