Psalms 127 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani. 1 MUKAMA bw’atazimba nnyumba,abo abagizimba bazimbira bwereere. MUKAMA bw’atakuuma kibuga,abakuumi bateganira bwereere. 2 Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,ate n’olwawo n’okwebakang’okolerera ekyokulya;kubanga MUKAMA abaagalwa be abawa otulo. 3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri MUKAMA;era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali. 4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo. 5 Alina omukisa omuntu oyoajjuzza ensawo ye n’obusaale,kubanga tebaliswazibwa;balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.