Revelation 3 (BOLCB)
1 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. 2 Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange. 3 Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli. 4 Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. 5 Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange. 6 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. 7 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo. 8 Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange, 9 laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala. 10 Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja. 11 Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. 12 Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya. 13 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. 14 “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda. 15 Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. 16 Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange. 17 Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere. 18 Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba. 19 Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya. 20 Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi. 21 Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye. 22 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.”
In Other Versions
Revelation 3 in the ANGEFD
Revelation 3 in the ANTPNG2D
Revelation 3 in the AS21
Revelation 3 in the BAGH
Revelation 3 in the BBPNG
Revelation 3 in the BBT1E
Revelation 3 in the BDS
Revelation 3 in the BEV
Revelation 3 in the BHAD
Revelation 3 in the BIB
Revelation 3 in the BLPT
Revelation 3 in the BNT
Revelation 3 in the BNTABOOT
Revelation 3 in the BNTLV
Revelation 3 in the BOATCB
Revelation 3 in the BOATCB2
Revelation 3 in the BOBCV
Revelation 3 in the BOCNT
Revelation 3 in the BOECS
Revelation 3 in the BOGWICC
Revelation 3 in the BOHCB
Revelation 3 in the BOHCV
Revelation 3 in the BOHLNT
Revelation 3 in the BOHNTLTAL
Revelation 3 in the BOICB
Revelation 3 in the BOILNTAP
Revelation 3 in the BOITCV
Revelation 3 in the BOKCV
Revelation 3 in the BOKCV2
Revelation 3 in the BOKHWOG
Revelation 3 in the BOKSSV
Revelation 3 in the BOLCB2
Revelation 3 in the BOMCV
Revelation 3 in the BONAV
Revelation 3 in the BONCB
Revelation 3 in the BONLT
Revelation 3 in the BONUT2
Revelation 3 in the BOPLNT
Revelation 3 in the BOSCB
Revelation 3 in the BOSNC
Revelation 3 in the BOTLNT
Revelation 3 in the BOVCB
Revelation 3 in the BOYCB
Revelation 3 in the BPBB
Revelation 3 in the BPH
Revelation 3 in the BSB
Revelation 3 in the CCB
Revelation 3 in the CUV
Revelation 3 in the CUVS
Revelation 3 in the DBT
Revelation 3 in the DGDNT
Revelation 3 in the DHNT
Revelation 3 in the DNT
Revelation 3 in the ELBE
Revelation 3 in the EMTV
Revelation 3 in the ESV
Revelation 3 in the FBV
Revelation 3 in the FEB
Revelation 3 in the GGMNT
Revelation 3 in the GNT
Revelation 3 in the HARY
Revelation 3 in the HNT
Revelation 3 in the IRVA
Revelation 3 in the IRVB
Revelation 3 in the IRVG
Revelation 3 in the IRVH
Revelation 3 in the IRVK
Revelation 3 in the IRVM
Revelation 3 in the IRVM2
Revelation 3 in the IRVO
Revelation 3 in the IRVP
Revelation 3 in the IRVT
Revelation 3 in the IRVT2
Revelation 3 in the IRVU
Revelation 3 in the ISVN
Revelation 3 in the JSNT
Revelation 3 in the KAPI
Revelation 3 in the KBT1ETNIK
Revelation 3 in the KBV
Revelation 3 in the KJV
Revelation 3 in the KNFD
Revelation 3 in the LBA
Revelation 3 in the LBLA
Revelation 3 in the LNT
Revelation 3 in the LSV
Revelation 3 in the MAAL
Revelation 3 in the MBV
Revelation 3 in the MBV2
Revelation 3 in the MHNT
Revelation 3 in the MKNFD
Revelation 3 in the MNG
Revelation 3 in the MNT
Revelation 3 in the MNT2
Revelation 3 in the MRS1T
Revelation 3 in the NAA
Revelation 3 in the NASB
Revelation 3 in the NBLA
Revelation 3 in the NBS
Revelation 3 in the NBVTP
Revelation 3 in the NET2
Revelation 3 in the NIV11
Revelation 3 in the NNT
Revelation 3 in the NNT2
Revelation 3 in the NNT3
Revelation 3 in the PDDPT
Revelation 3 in the PFNT
Revelation 3 in the RMNT
Revelation 3 in the SBIAS
Revelation 3 in the SBIBS
Revelation 3 in the SBIBS2
Revelation 3 in the SBICS
Revelation 3 in the SBIDS
Revelation 3 in the SBIGS
Revelation 3 in the SBIHS
Revelation 3 in the SBIIS
Revelation 3 in the SBIIS2
Revelation 3 in the SBIIS3
Revelation 3 in the SBIKS
Revelation 3 in the SBIKS2
Revelation 3 in the SBIMS
Revelation 3 in the SBIOS
Revelation 3 in the SBIPS
Revelation 3 in the SBISS
Revelation 3 in the SBITS
Revelation 3 in the SBITS2
Revelation 3 in the SBITS3
Revelation 3 in the SBITS4
Revelation 3 in the SBIUS
Revelation 3 in the SBIVS
Revelation 3 in the SBT
Revelation 3 in the SBT1E
Revelation 3 in the SCHL
Revelation 3 in the SNT
Revelation 3 in the SUSU
Revelation 3 in the SUSU2
Revelation 3 in the SYNO
Revelation 3 in the TBIAOTANT
Revelation 3 in the TBT1E
Revelation 3 in the TBT1E2
Revelation 3 in the TFTIP
Revelation 3 in the TFTU
Revelation 3 in the TGNTATF3T
Revelation 3 in the THAI
Revelation 3 in the TNFD
Revelation 3 in the TNT
Revelation 3 in the TNTIK
Revelation 3 in the TNTIL
Revelation 3 in the TNTIN
Revelation 3 in the TNTIP
Revelation 3 in the TNTIZ
Revelation 3 in the TOMA
Revelation 3 in the TTENT
Revelation 3 in the UBG
Revelation 3 in the UGV
Revelation 3 in the UGV2
Revelation 3 in the UGV3
Revelation 3 in the VBL
Revelation 3 in the VDCC
Revelation 3 in the YALU
Revelation 3 in the YAPE
Revelation 3 in the YBVTP
Revelation 3 in the ZBP