Revelation 9 (BOLCB)
1 Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. 2 Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. 3 Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. 4 Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe. 5 Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa. 6 Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi! 7 Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu. 8 Obwoya bwazo nga buli ng’enviiri z’abakazi, ate go amannyo gaazo gaali ng’ag’empologoma. 9 Zaali zambadde eby’omu bifuba ebiri ng’eby’ebyuma, nga n’ebiwaawaatiro byazo biwuluguma ng’eddoboozi lya nnamuziga w’amagaali, ag’embalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo. 10 Zaalina emikira egibojja ng’egy’enjaba ez’obusagwa. N’obuyinza bwazo obw’okubonyaabonya obwaziweebwa obw’emyezi etaano bwali mu mikira omwo. 11 Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni. 12 Eky’entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng’ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja! 13 Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, 14 nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.” 15 Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 16 Ne mpulira omuwendo ogw’eggye ery’abaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri. 17 Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa. 18 Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu. 19 Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa. 20 Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula. 21 Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.
In Other Versions
Revelation 9 in the ANGEFD
Revelation 9 in the ANTPNG2D
Revelation 9 in the AS21
Revelation 9 in the BAGH
Revelation 9 in the BBPNG
Revelation 9 in the BBT1E
Revelation 9 in the BDS
Revelation 9 in the BEV
Revelation 9 in the BHAD
Revelation 9 in the BIB
Revelation 9 in the BLPT
Revelation 9 in the BNT
Revelation 9 in the BNTABOOT
Revelation 9 in the BNTLV
Revelation 9 in the BOATCB
Revelation 9 in the BOATCB2
Revelation 9 in the BOBCV
Revelation 9 in the BOCNT
Revelation 9 in the BOECS
Revelation 9 in the BOGWICC
Revelation 9 in the BOHCB
Revelation 9 in the BOHCV
Revelation 9 in the BOHLNT
Revelation 9 in the BOHNTLTAL
Revelation 9 in the BOICB
Revelation 9 in the BOILNTAP
Revelation 9 in the BOITCV
Revelation 9 in the BOKCV
Revelation 9 in the BOKCV2
Revelation 9 in the BOKHWOG
Revelation 9 in the BOKSSV
Revelation 9 in the BOLCB2
Revelation 9 in the BOMCV
Revelation 9 in the BONAV
Revelation 9 in the BONCB
Revelation 9 in the BONLT
Revelation 9 in the BONUT2
Revelation 9 in the BOPLNT
Revelation 9 in the BOSCB
Revelation 9 in the BOSNC
Revelation 9 in the BOTLNT
Revelation 9 in the BOVCB
Revelation 9 in the BOYCB
Revelation 9 in the BPBB
Revelation 9 in the BPH
Revelation 9 in the BSB
Revelation 9 in the CCB
Revelation 9 in the CUV
Revelation 9 in the CUVS
Revelation 9 in the DBT
Revelation 9 in the DGDNT
Revelation 9 in the DHNT
Revelation 9 in the DNT
Revelation 9 in the ELBE
Revelation 9 in the EMTV
Revelation 9 in the ESV
Revelation 9 in the FBV
Revelation 9 in the FEB
Revelation 9 in the GGMNT
Revelation 9 in the GNT
Revelation 9 in the HARY
Revelation 9 in the HNT
Revelation 9 in the IRVA
Revelation 9 in the IRVB
Revelation 9 in the IRVG
Revelation 9 in the IRVH
Revelation 9 in the IRVK
Revelation 9 in the IRVM
Revelation 9 in the IRVM2
Revelation 9 in the IRVO
Revelation 9 in the IRVP
Revelation 9 in the IRVT
Revelation 9 in the IRVT2
Revelation 9 in the IRVU
Revelation 9 in the ISVN
Revelation 9 in the JSNT
Revelation 9 in the KAPI
Revelation 9 in the KBT1ETNIK
Revelation 9 in the KBV
Revelation 9 in the KJV
Revelation 9 in the KNFD
Revelation 9 in the LBA
Revelation 9 in the LBLA
Revelation 9 in the LNT
Revelation 9 in the LSV
Revelation 9 in the MAAL
Revelation 9 in the MBV
Revelation 9 in the MBV2
Revelation 9 in the MHNT
Revelation 9 in the MKNFD
Revelation 9 in the MNG
Revelation 9 in the MNT
Revelation 9 in the MNT2
Revelation 9 in the MRS1T
Revelation 9 in the NAA
Revelation 9 in the NASB
Revelation 9 in the NBLA
Revelation 9 in the NBS
Revelation 9 in the NBVTP
Revelation 9 in the NET2
Revelation 9 in the NIV11
Revelation 9 in the NNT
Revelation 9 in the NNT2
Revelation 9 in the NNT3
Revelation 9 in the PDDPT
Revelation 9 in the PFNT
Revelation 9 in the RMNT
Revelation 9 in the SBIAS
Revelation 9 in the SBIBS
Revelation 9 in the SBIBS2
Revelation 9 in the SBICS
Revelation 9 in the SBIDS
Revelation 9 in the SBIGS
Revelation 9 in the SBIHS
Revelation 9 in the SBIIS
Revelation 9 in the SBIIS2
Revelation 9 in the SBIIS3
Revelation 9 in the SBIKS
Revelation 9 in the SBIKS2
Revelation 9 in the SBIMS
Revelation 9 in the SBIOS
Revelation 9 in the SBIPS
Revelation 9 in the SBISS
Revelation 9 in the SBITS
Revelation 9 in the SBITS2
Revelation 9 in the SBITS3
Revelation 9 in the SBITS4
Revelation 9 in the SBIUS
Revelation 9 in the SBIVS
Revelation 9 in the SBT
Revelation 9 in the SBT1E
Revelation 9 in the SCHL
Revelation 9 in the SNT
Revelation 9 in the SUSU
Revelation 9 in the SUSU2
Revelation 9 in the SYNO
Revelation 9 in the TBIAOTANT
Revelation 9 in the TBT1E
Revelation 9 in the TBT1E2
Revelation 9 in the TFTIP
Revelation 9 in the TFTU
Revelation 9 in the TGNTATF3T
Revelation 9 in the THAI
Revelation 9 in the TNFD
Revelation 9 in the TNT
Revelation 9 in the TNTIK
Revelation 9 in the TNTIL
Revelation 9 in the TNTIN
Revelation 9 in the TNTIP
Revelation 9 in the TNTIZ
Revelation 9 in the TOMA
Revelation 9 in the TTENT
Revelation 9 in the UBG
Revelation 9 in the UGV
Revelation 9 in the UGV2
Revelation 9 in the UGV3
Revelation 9 in the VBL
Revelation 9 in the VDCC
Revelation 9 in the YALU
Revelation 9 in the YAPE
Revelation 9 in the YBVTP
Revelation 9 in the ZBP