Acts 11 (BOLCB)
1 Awo abatume n’abooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti n’Abamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda. 2 Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya, 3 nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole n’oyingira ne mu nnyumba n’olya nabo?” 4 Awo Peetero n’abannyonnyola byonna ng’agamba 5 nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ng’ewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, n’essibwa mu maaso gange ng’eva mu ggulu. 6 Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna eby’oku nsi ebirina amagulu ana, n’ebyewalula, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 7 Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Peetero, situka osale, olye.’ 8 “Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’ 9 “Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti, ‘Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.’ 10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka n’ezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu. 11 “Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula! 12 Mwoyo Mutukuvu n’aŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, n’abooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka g’omusajja eyali antumidde ababaka abo. 13 N’atutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, n’amugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero, 14 ajje akutegeeze ggwe n’ab’omu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’ 15 “Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala! 16 Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.’ 17 Olw’okubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?” 18 Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, n’Abamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gy’ali abawe obulamu obutaggwaawo.” 19 Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka. 20 Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo n’e Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu. 21 Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama. 22 Awo ab’omu Kkanisa y’omu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza. 23 Bwe yatuuka n’alaba eby’ekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, n’ajjula essanyu, n’akubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama n’emitima gyabwe gyonna. 24 Balunabba yali muntu wa kisa ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’okukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama. 25 Oluvannyuma lw’ebyo Balunabba n’alaga e Taluso okunoonya Sawulo, 26 bwe yamulaba n’amuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu n’Ekkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo. 27 Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi. 28 Omu ku bo erinnya lye Agabo n’asituka ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu n’ategeeza ng’enjala ey’amaanyi bw’ejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo. 29 Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola, 30 ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.