Ezekiel 7 (BOLCB)
1 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira nti, 2 “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuseku nsonda ennya ez’ensi. 3 Enkomerero ebatuuseekoera ndibasumulurira obusungu bwange,ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziriera ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri. 4 Siribatunuulira na liiso lya kisanewaakubadde okubasonyiwa;naye ndibasasula ng’engeri zammwe,n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.Mulyoke mumanye nga nze MUKAMA.’ 5 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti:“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumulaba kujja. 6 Enkomerero etuuse,enkomerero etuuse!Ebagolokokeddekoera ejja. 7 Akabi kabajjidde,mmwe abatuuze.Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi. 8 Nnaatera okubalaga obusungu bwange,n’ekiruyi kyange.Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri. 9 Siribatunuulira na liiso lya kisanewaakubadde okubasonyiwa.Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe zirin’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.Mulyoke mumanye nga nze MUKAMA Katonda, era mbonereza. 10 “ ‘Olunaku luulunolutuuse.Akabi kabajjidde,obutali bwenkanya bumeze,n’amalala gamulisizza. 11 Obusungu bweyongeddene bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;tewaliba n’omu alisigalawo;tewaliba n’omu ku kibiinanewaakubadde ku byobugagga byabwe,newaakubadde eky’omuwendo. 12 Ekiseera kituuse,n’olunaku lutuuse.Agula aleme okusanyukirira,n’oyo atunda aleme okunakuwala,kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna. 13 Atunda taliddizibwakintu kye yatunda,bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonnaso tekukyajulukuka.Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omualiwonya obulamu bwe. 14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeerene bateekateeka buli kimu,tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna. 15 Ebweru waliyo ekitalane munda waliyo kawumpuli n’enjala.Abali ku ttalebalifa kitala,abali mu kibugabalimalibwawo kawumpuli n’enjala. 16 N’abo abaliwonawobaliddukira mu nsozi,nga bakaaba nga bukaamukuukuluobw’omu biwonvu,buli omu olw’ebibi bye. 17 Emikono gyonna giriremala,n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi. 18 Balyambala ebibukutu,ne bakwatibwa ensisi;baliswala,n’emitwe gyabwe girimwebwa. 19 “ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;effeeza yaabwe ne zaabu yaabwetebiriyinza kubalokolaku lunaku lwa MUKAMA olw’obusungu bwe.Era tebalikkutanewaakubadde okukkusibwa.Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi. 20 Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizon’ebintu ebirala eby’ekivve,era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali. 21 Ndibiwaayo byonna eri bannamawangan’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyagoera balibyonoona. 22 Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;n’abanyazi balikiyingiramune bakyonoona. 23 “ ‘Muteeketeeke enjegerekubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,n’ekibuga kijjudde effujjo. 24 Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,ne batwala ennyumba zaabwe,era ndikomya amalala gaabwen’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. 25 Entiisa bw’erijja,balinoonya emirembe naye tebaligifuna. 26 Akabi kalyeyongera ku kabi,ne ŋŋambo ne zeeyongera;balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibulan’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa. 27 Kabaka alikaaba,n’omulangira alijjula obuyinike,n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.Balyoke bamanye nga nze MUKAMA Katonda.’ ”