Hebrews 13 (BOLCB)

1 Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda. 2 Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde. 3 Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri. 4 Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga. 5 Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,“Sirikulekaera sirikwabulira n’akatono.” 6 Kyetuva twogera n’obuvumu nti,“Mukama ye mubeezi wange, siityenga,omuntu ayinza kunkola ki?” 7 Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza. 8 Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. 9 Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya. 10 Tulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako. 11 Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira. 12 Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye. 13 Kale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye. 14 Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja. 15 Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye. 16 Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa. 17 Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe. 18 Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu. 19 Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli. 20 Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, 21 abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. 22 Kaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono. 23 Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba. 24 Mulamuse abakulembeze bammwe era n’abakkiriza bonna.Ab’omu Italiya babalamusizza. 25 Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

In Other Versions

Hebrews 13 in the ANGEFD

Hebrews 13 in the ANTPNG2D

Hebrews 13 in the AS21

Hebrews 13 in the BAGH

Hebrews 13 in the BBPNG

Hebrews 13 in the BBT1E

Hebrews 13 in the BDS

Hebrews 13 in the BEV

Hebrews 13 in the BHAD

Hebrews 13 in the BIB

Hebrews 13 in the BLPT

Hebrews 13 in the BNT

Hebrews 13 in the BNTABOOT

Hebrews 13 in the BNTLV

Hebrews 13 in the BOATCB

Hebrews 13 in the BOATCB2

Hebrews 13 in the BOBCV

Hebrews 13 in the BOCNT

Hebrews 13 in the BOECS

Hebrews 13 in the BOGWICC

Hebrews 13 in the BOHCB

Hebrews 13 in the BOHCV

Hebrews 13 in the BOHLNT

Hebrews 13 in the BOHNTLTAL

Hebrews 13 in the BOICB

Hebrews 13 in the BOILNTAP

Hebrews 13 in the BOITCV

Hebrews 13 in the BOKCV

Hebrews 13 in the BOKCV2

Hebrews 13 in the BOKHWOG

Hebrews 13 in the BOKSSV

Hebrews 13 in the BOLCB2

Hebrews 13 in the BOMCV

Hebrews 13 in the BONAV

Hebrews 13 in the BONCB

Hebrews 13 in the BONLT

Hebrews 13 in the BONUT2

Hebrews 13 in the BOPLNT

Hebrews 13 in the BOSCB

Hebrews 13 in the BOSNC

Hebrews 13 in the BOTLNT

Hebrews 13 in the BOVCB

Hebrews 13 in the BOYCB

Hebrews 13 in the BPBB

Hebrews 13 in the BPH

Hebrews 13 in the BSB

Hebrews 13 in the CCB

Hebrews 13 in the CUV

Hebrews 13 in the CUVS

Hebrews 13 in the DBT

Hebrews 13 in the DGDNT

Hebrews 13 in the DHNT

Hebrews 13 in the DNT

Hebrews 13 in the ELBE

Hebrews 13 in the EMTV

Hebrews 13 in the ESV

Hebrews 13 in the FBV

Hebrews 13 in the FEB

Hebrews 13 in the GGMNT

Hebrews 13 in the GNT

Hebrews 13 in the HARY

Hebrews 13 in the HNT

Hebrews 13 in the IRVA

Hebrews 13 in the IRVB

Hebrews 13 in the IRVG

Hebrews 13 in the IRVH

Hebrews 13 in the IRVK

Hebrews 13 in the IRVM

Hebrews 13 in the IRVM2

Hebrews 13 in the IRVO

Hebrews 13 in the IRVP

Hebrews 13 in the IRVT

Hebrews 13 in the IRVT2

Hebrews 13 in the IRVU

Hebrews 13 in the ISVN

Hebrews 13 in the JSNT

Hebrews 13 in the KAPI

Hebrews 13 in the KBT1ETNIK

Hebrews 13 in the KBV

Hebrews 13 in the KJV

Hebrews 13 in the KNFD

Hebrews 13 in the LBA

Hebrews 13 in the LBLA

Hebrews 13 in the LNT

Hebrews 13 in the LSV

Hebrews 13 in the MAAL

Hebrews 13 in the MBV

Hebrews 13 in the MBV2

Hebrews 13 in the MHNT

Hebrews 13 in the MKNFD

Hebrews 13 in the MNG

Hebrews 13 in the MNT

Hebrews 13 in the MNT2

Hebrews 13 in the MRS1T

Hebrews 13 in the NAA

Hebrews 13 in the NASB

Hebrews 13 in the NBLA

Hebrews 13 in the NBS

Hebrews 13 in the NBVTP

Hebrews 13 in the NET2

Hebrews 13 in the NIV11

Hebrews 13 in the NNT

Hebrews 13 in the NNT2

Hebrews 13 in the NNT3

Hebrews 13 in the PDDPT

Hebrews 13 in the PFNT

Hebrews 13 in the RMNT

Hebrews 13 in the SBIAS

Hebrews 13 in the SBIBS

Hebrews 13 in the SBIBS2

Hebrews 13 in the SBICS

Hebrews 13 in the SBIDS

Hebrews 13 in the SBIGS

Hebrews 13 in the SBIHS

Hebrews 13 in the SBIIS

Hebrews 13 in the SBIIS2

Hebrews 13 in the SBIIS3

Hebrews 13 in the SBIKS

Hebrews 13 in the SBIKS2

Hebrews 13 in the SBIMS

Hebrews 13 in the SBIOS

Hebrews 13 in the SBIPS

Hebrews 13 in the SBISS

Hebrews 13 in the SBITS

Hebrews 13 in the SBITS2

Hebrews 13 in the SBITS3

Hebrews 13 in the SBITS4

Hebrews 13 in the SBIUS

Hebrews 13 in the SBIVS

Hebrews 13 in the SBT

Hebrews 13 in the SBT1E

Hebrews 13 in the SCHL

Hebrews 13 in the SNT

Hebrews 13 in the SUSU

Hebrews 13 in the SUSU2

Hebrews 13 in the SYNO

Hebrews 13 in the TBIAOTANT

Hebrews 13 in the TBT1E

Hebrews 13 in the TBT1E2

Hebrews 13 in the TFTIP

Hebrews 13 in the TFTU

Hebrews 13 in the TGNTATF3T

Hebrews 13 in the THAI

Hebrews 13 in the TNFD

Hebrews 13 in the TNT

Hebrews 13 in the TNTIK

Hebrews 13 in the TNTIL

Hebrews 13 in the TNTIN

Hebrews 13 in the TNTIP

Hebrews 13 in the TNTIZ

Hebrews 13 in the TOMA

Hebrews 13 in the TTENT

Hebrews 13 in the UBG

Hebrews 13 in the UGV

Hebrews 13 in the UGV2

Hebrews 13 in the UGV3

Hebrews 13 in the VBL

Hebrews 13 in the VDCC

Hebrews 13 in the YALU

Hebrews 13 in the YAPE

Hebrews 13 in the YBVTP

Hebrews 13 in the ZBP