Isaiah 29 (BOLCB)
1 Zikusanze ggwe Alyeri,Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu,yongera omwaka ku mwaka,n’entuuko zo ez’embaga zigende mu maaso. 2 Wabula ndizingiza Alyeri,alikuba ebiwoobe era alikungubaga,era aliba gye ndi ng’ekyoto kya Alyeri. 3 Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna,era ndikwetoolooza eminaala,ne nkusaako ebifunvu. 4 Olikkakkanyizibwa era olyogera ng’oli mu ttaka,n’ebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ng’oli mu nfuufu.Eddoboozi lyo liriba ng’ery’oyo aliko akazimu nga liva mu ttaka,n’ebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu. 5 Naye abalabe bo abangibaliba ng’enfuufu eweweddwa,n’ebibinja by’abakozi b’ebibi abasingayo obubibibe ng’ebisasiro ebifuumuuka. 6 Amangwago mu kaseera katono MUKAMA Katonda ow’Eggye alikukyaliramu kubwatuuka ne mu musisi,ne mu ddoboozi ery’omwanguka,ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza. 7 Awo ebibinja by’amawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba,birirumba n’ekigo kye ne bimutaayiza;kiriba ng’ekirooto,ng’okwolesebwa mu kiro 8 ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alyanaye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala;oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywanaye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta.Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonnaagalwana n’Olusozi Sayuuni. 9 Muwuniikirire era mwewuunyeMuzibirire era muzibe amaaso;Batamiire, naye si na nvinnyo,batagala, naye si lwa mwenge. 10 MUKAMA akuwadde otulo tungi,azibye amaaso gammwe bannabbi,era abisse emitwe gyammwe abalabi. 11 Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.” 13 Mukama agamba nti,“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe,ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe,naye ng’emitima gyabwe gindi wala.Okunsinza kwe bansinza,biragiro abantu bye baayigiriza. 14 Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano.Amagezi g’abagezi galizikirira,n’okutegeera kw’abategeevukuliggwaawo.” 15 Zibasanze abo abakola kyonna kye basobolaokukweka MUKAMA enteekateeka zaabwe,abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti,“Ani atulaba? Ani alimanya?” 16 Mufuula ebintune birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,“Teyankola”?Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,“Talina ky’amanyi”? 17 Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira? 18 Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza. 19 Abawombeefu balisanyukira mu MUKAMA nate,n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri. 20 Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,n’omunyoomi alibula,n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu, 21 abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako. 22 Noolwekyo MUKAMA eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,Yakobo taliddayo kuswazibwa,n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka. 23 Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakoboera baliyimirirane beewuunya Katonda wa Isirayiri. 24 Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.
In Other Versions
Isaiah 29 in the ANGEFD
Isaiah 29 in the ANTPNG2D
Isaiah 29 in the AS21
Isaiah 29 in the BAGH
Isaiah 29 in the BBPNG
Isaiah 29 in the BBT1E
Isaiah 29 in the BDS
Isaiah 29 in the BEV
Isaiah 29 in the BHAD
Isaiah 29 in the BIB
Isaiah 29 in the BLPT
Isaiah 29 in the BNT
Isaiah 29 in the BNTABOOT
Isaiah 29 in the BNTLV
Isaiah 29 in the BOATCB
Isaiah 29 in the BOATCB2
Isaiah 29 in the BOBCV
Isaiah 29 in the BOCNT
Isaiah 29 in the BOECS
Isaiah 29 in the BOGWICC
Isaiah 29 in the BOHCB
Isaiah 29 in the BOHCV
Isaiah 29 in the BOHLNT
Isaiah 29 in the BOHNTLTAL
Isaiah 29 in the BOICB
Isaiah 29 in the BOILNTAP
Isaiah 29 in the BOITCV
Isaiah 29 in the BOKCV
Isaiah 29 in the BOKCV2
Isaiah 29 in the BOKHWOG
Isaiah 29 in the BOKSSV
Isaiah 29 in the BOLCB2
Isaiah 29 in the BOMCV
Isaiah 29 in the BONAV
Isaiah 29 in the BONCB
Isaiah 29 in the BONLT
Isaiah 29 in the BONUT2
Isaiah 29 in the BOPLNT
Isaiah 29 in the BOSCB
Isaiah 29 in the BOSNC
Isaiah 29 in the BOTLNT
Isaiah 29 in the BOVCB
Isaiah 29 in the BOYCB
Isaiah 29 in the BPBB
Isaiah 29 in the BPH
Isaiah 29 in the BSB
Isaiah 29 in the CCB
Isaiah 29 in the CUV
Isaiah 29 in the CUVS
Isaiah 29 in the DBT
Isaiah 29 in the DGDNT
Isaiah 29 in the DHNT
Isaiah 29 in the DNT
Isaiah 29 in the ELBE
Isaiah 29 in the EMTV
Isaiah 29 in the ESV
Isaiah 29 in the FBV
Isaiah 29 in the FEB
Isaiah 29 in the GGMNT
Isaiah 29 in the GNT
Isaiah 29 in the HARY
Isaiah 29 in the HNT
Isaiah 29 in the IRVA
Isaiah 29 in the IRVB
Isaiah 29 in the IRVG
Isaiah 29 in the IRVH
Isaiah 29 in the IRVK
Isaiah 29 in the IRVM
Isaiah 29 in the IRVM2
Isaiah 29 in the IRVO
Isaiah 29 in the IRVP
Isaiah 29 in the IRVT
Isaiah 29 in the IRVT2
Isaiah 29 in the IRVU
Isaiah 29 in the ISVN
Isaiah 29 in the JSNT
Isaiah 29 in the KAPI
Isaiah 29 in the KBT1ETNIK
Isaiah 29 in the KBV
Isaiah 29 in the KJV
Isaiah 29 in the KNFD
Isaiah 29 in the LBA
Isaiah 29 in the LBLA
Isaiah 29 in the LNT
Isaiah 29 in the LSV
Isaiah 29 in the MAAL
Isaiah 29 in the MBV
Isaiah 29 in the MBV2
Isaiah 29 in the MHNT
Isaiah 29 in the MKNFD
Isaiah 29 in the MNG
Isaiah 29 in the MNT
Isaiah 29 in the MNT2
Isaiah 29 in the MRS1T
Isaiah 29 in the NAA
Isaiah 29 in the NASB
Isaiah 29 in the NBLA
Isaiah 29 in the NBS
Isaiah 29 in the NBVTP
Isaiah 29 in the NET2
Isaiah 29 in the NIV11
Isaiah 29 in the NNT
Isaiah 29 in the NNT2
Isaiah 29 in the NNT3
Isaiah 29 in the PDDPT
Isaiah 29 in the PFNT
Isaiah 29 in the RMNT
Isaiah 29 in the SBIAS
Isaiah 29 in the SBIBS
Isaiah 29 in the SBIBS2
Isaiah 29 in the SBICS
Isaiah 29 in the SBIDS
Isaiah 29 in the SBIGS
Isaiah 29 in the SBIHS
Isaiah 29 in the SBIIS
Isaiah 29 in the SBIIS2
Isaiah 29 in the SBIIS3
Isaiah 29 in the SBIKS
Isaiah 29 in the SBIKS2
Isaiah 29 in the SBIMS
Isaiah 29 in the SBIOS
Isaiah 29 in the SBIPS
Isaiah 29 in the SBISS
Isaiah 29 in the SBITS
Isaiah 29 in the SBITS2
Isaiah 29 in the SBITS3
Isaiah 29 in the SBITS4
Isaiah 29 in the SBIUS
Isaiah 29 in the SBIVS
Isaiah 29 in the SBT
Isaiah 29 in the SBT1E
Isaiah 29 in the SCHL
Isaiah 29 in the SNT
Isaiah 29 in the SUSU
Isaiah 29 in the SUSU2
Isaiah 29 in the SYNO
Isaiah 29 in the TBIAOTANT
Isaiah 29 in the TBT1E
Isaiah 29 in the TBT1E2
Isaiah 29 in the TFTIP
Isaiah 29 in the TFTU
Isaiah 29 in the TGNTATF3T
Isaiah 29 in the THAI
Isaiah 29 in the TNFD
Isaiah 29 in the TNT
Isaiah 29 in the TNTIK
Isaiah 29 in the TNTIL
Isaiah 29 in the TNTIN
Isaiah 29 in the TNTIP
Isaiah 29 in the TNTIZ
Isaiah 29 in the TOMA
Isaiah 29 in the TTENT
Isaiah 29 in the UBG
Isaiah 29 in the UGV
Isaiah 29 in the UGV2
Isaiah 29 in the UGV3
Isaiah 29 in the VBL
Isaiah 29 in the VDCC
Isaiah 29 in the YALU
Isaiah 29 in the YAPE
Isaiah 29 in the YBVTP
Isaiah 29 in the ZBP