Jeremiah 10 (BOLCB)
1 Muwulire ekigambo Katonda ky’abagamba, mmwe ennyumba ya Isirayiri. 2 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“Temugobereranga makubo g’amawangaoba okweraliikirira obubonero obw’oku ku ggulu,kubanga amawanga ge byeraliikirira. 3 Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;batema omuti mu kibira,omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye. 4 Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,bagukomerera n’enninga n’ennyondoguleme okunyeenyanyeenya. 5 Bakatonda bafaanana nga ssemufumu nnimiro y’ebibala,era tebasobola kwogerakubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.Tobatya,tebayinza kukukola kabi konna,wadde okukola akalungi n’akamu.” 6 Tewali ali nga ggwe, Ayi MUKAMA Katonda.Oli mukulu,era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo. 7 Ani ataakutye,Ayi Kabaka w’amawanga?Kubanga kino kye kikugwanira.Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwangane mu bwakabaka bwabwe bwonnatewali ali nga ggwe. 8 Bonna tebalina magezi basirusiru,abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti. 9 Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,ne zaabu eva e Yufazi,ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakozebyambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba. 10 Naye MUKAMA ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,era Kabaka ow’emirembe gyonna.Bw’asunguwala, ensi ekankana,amawanga tegasobola kugumira busungu bwe. 11 “Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ” 12 MUKAMA yakola ensi n’amaanyi ge,n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu. 13 Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.Amyansisa eggulu mu nkuba,era n’aggya empewo mu mawanika ge. 14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,era tebiriimu bulamu. 15 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwaebirizikirizibwa nga MUKAMA azze okusala omusango. 16 Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,ye Mutonzi w’ebintu byonna,era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe, MUKAMA Katonda ow’Eggye lye linnya lye. 17 Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,mmwe abazingiziddwa. 18 Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Laba nfuumuula abantumbaggye mu nsi eno,era ndibaleetako ennakubalyoke bawambibwe.” 19 Zinsanze nze olw’ekiwundu kyangeekinnuma ennyo.Naye ate ne ŋŋamba nti,“Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.” 20 Eweema yange eyonooneddwa,era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.Tewali n’omu asigaddewo kaakanokuzimba weema yangewadde okuzimba ekigango kyange. 21 Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolotebakyebuuza ku MUKAMA.Noolwekyo tebakulaakulanaera endiga zaabwe zonna zisaasaanye. 22 Wuliriza!Amawulire gatuuse,waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe. 23 Mmanyi Ayi MUKAMA Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge. 24 Nnuŋŋamya, MUKAMA Katonda naye mu kigera ekisaanidde,si mu busungu bwo,si kulwa ng’onfuula ekitaliimu. 25 Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,agatakutwala ng’ekikulu,ku bantu abatakoowoola linnya lyo.Kubanga bamazeewo Yakobo,bamuliiridde ddalaera ne boonoona ensi ye.
In Other Versions
Jeremiah 10 in the ANGEFD
Jeremiah 10 in the ANTPNG2D
Jeremiah 10 in the AS21
Jeremiah 10 in the BAGH
Jeremiah 10 in the BBPNG
Jeremiah 10 in the BBT1E
Jeremiah 10 in the BDS
Jeremiah 10 in the BEV
Jeremiah 10 in the BHAD
Jeremiah 10 in the BIB
Jeremiah 10 in the BLPT
Jeremiah 10 in the BNT
Jeremiah 10 in the BNTABOOT
Jeremiah 10 in the BNTLV
Jeremiah 10 in the BOATCB
Jeremiah 10 in the BOATCB2
Jeremiah 10 in the BOBCV
Jeremiah 10 in the BOCNT
Jeremiah 10 in the BOECS
Jeremiah 10 in the BOGWICC
Jeremiah 10 in the BOHCB
Jeremiah 10 in the BOHCV
Jeremiah 10 in the BOHLNT
Jeremiah 10 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 10 in the BOICB
Jeremiah 10 in the BOILNTAP
Jeremiah 10 in the BOITCV
Jeremiah 10 in the BOKCV
Jeremiah 10 in the BOKCV2
Jeremiah 10 in the BOKHWOG
Jeremiah 10 in the BOKSSV
Jeremiah 10 in the BOLCB2
Jeremiah 10 in the BOMCV
Jeremiah 10 in the BONAV
Jeremiah 10 in the BONCB
Jeremiah 10 in the BONLT
Jeremiah 10 in the BONUT2
Jeremiah 10 in the BOPLNT
Jeremiah 10 in the BOSCB
Jeremiah 10 in the BOSNC
Jeremiah 10 in the BOTLNT
Jeremiah 10 in the BOVCB
Jeremiah 10 in the BOYCB
Jeremiah 10 in the BPBB
Jeremiah 10 in the BPH
Jeremiah 10 in the BSB
Jeremiah 10 in the CCB
Jeremiah 10 in the CUV
Jeremiah 10 in the CUVS
Jeremiah 10 in the DBT
Jeremiah 10 in the DGDNT
Jeremiah 10 in the DHNT
Jeremiah 10 in the DNT
Jeremiah 10 in the ELBE
Jeremiah 10 in the EMTV
Jeremiah 10 in the ESV
Jeremiah 10 in the FBV
Jeremiah 10 in the FEB
Jeremiah 10 in the GGMNT
Jeremiah 10 in the GNT
Jeremiah 10 in the HARY
Jeremiah 10 in the HNT
Jeremiah 10 in the IRVA
Jeremiah 10 in the IRVB
Jeremiah 10 in the IRVG
Jeremiah 10 in the IRVH
Jeremiah 10 in the IRVK
Jeremiah 10 in the IRVM
Jeremiah 10 in the IRVM2
Jeremiah 10 in the IRVO
Jeremiah 10 in the IRVP
Jeremiah 10 in the IRVT
Jeremiah 10 in the IRVT2
Jeremiah 10 in the IRVU
Jeremiah 10 in the ISVN
Jeremiah 10 in the JSNT
Jeremiah 10 in the KAPI
Jeremiah 10 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 10 in the KBV
Jeremiah 10 in the KJV
Jeremiah 10 in the KNFD
Jeremiah 10 in the LBA
Jeremiah 10 in the LBLA
Jeremiah 10 in the LNT
Jeremiah 10 in the LSV
Jeremiah 10 in the MAAL
Jeremiah 10 in the MBV
Jeremiah 10 in the MBV2
Jeremiah 10 in the MHNT
Jeremiah 10 in the MKNFD
Jeremiah 10 in the MNG
Jeremiah 10 in the MNT
Jeremiah 10 in the MNT2
Jeremiah 10 in the MRS1T
Jeremiah 10 in the NAA
Jeremiah 10 in the NASB
Jeremiah 10 in the NBLA
Jeremiah 10 in the NBS
Jeremiah 10 in the NBVTP
Jeremiah 10 in the NET2
Jeremiah 10 in the NIV11
Jeremiah 10 in the NNT
Jeremiah 10 in the NNT2
Jeremiah 10 in the NNT3
Jeremiah 10 in the PDDPT
Jeremiah 10 in the PFNT
Jeremiah 10 in the RMNT
Jeremiah 10 in the SBIAS
Jeremiah 10 in the SBIBS
Jeremiah 10 in the SBIBS2
Jeremiah 10 in the SBICS
Jeremiah 10 in the SBIDS
Jeremiah 10 in the SBIGS
Jeremiah 10 in the SBIHS
Jeremiah 10 in the SBIIS
Jeremiah 10 in the SBIIS2
Jeremiah 10 in the SBIIS3
Jeremiah 10 in the SBIKS
Jeremiah 10 in the SBIKS2
Jeremiah 10 in the SBIMS
Jeremiah 10 in the SBIOS
Jeremiah 10 in the SBIPS
Jeremiah 10 in the SBISS
Jeremiah 10 in the SBITS
Jeremiah 10 in the SBITS2
Jeremiah 10 in the SBITS3
Jeremiah 10 in the SBITS4
Jeremiah 10 in the SBIUS
Jeremiah 10 in the SBIVS
Jeremiah 10 in the SBT
Jeremiah 10 in the SBT1E
Jeremiah 10 in the SCHL
Jeremiah 10 in the SNT
Jeremiah 10 in the SUSU
Jeremiah 10 in the SUSU2
Jeremiah 10 in the SYNO
Jeremiah 10 in the TBIAOTANT
Jeremiah 10 in the TBT1E
Jeremiah 10 in the TBT1E2
Jeremiah 10 in the TFTIP
Jeremiah 10 in the TFTU
Jeremiah 10 in the TGNTATF3T
Jeremiah 10 in the THAI
Jeremiah 10 in the TNFD
Jeremiah 10 in the TNT
Jeremiah 10 in the TNTIK
Jeremiah 10 in the TNTIL
Jeremiah 10 in the TNTIN
Jeremiah 10 in the TNTIP
Jeremiah 10 in the TNTIZ
Jeremiah 10 in the TOMA
Jeremiah 10 in the TTENT
Jeremiah 10 in the UBG
Jeremiah 10 in the UGV
Jeremiah 10 in the UGV2
Jeremiah 10 in the UGV3
Jeremiah 10 in the VBL
Jeremiah 10 in the VDCC
Jeremiah 10 in the YALU
Jeremiah 10 in the YAPE
Jeremiah 10 in the YBVTP
Jeremiah 10 in the ZBP