Jeremiah 3 (BOLCB)

1 “Omusajja bw’agoba mukazi we,omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,omusajja we alimukomyawo nate?Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”bw’ayogera MUKAMA. 2 Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.Waliwo ekifo we bateebakira naawe?Ku mabbali g’ekkubo we watulangan’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;n’olyoka oyonoona ensin’obwenzi bwo n’ekibi kyo. 3 Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.Naye era otemya nga malaayatokwatibwa nsonyi. 4 Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwangeokuva mu buto bwange, 5 onoonyiigira ddala emirembe gyonna,olisunguwala emirembe gyonna?Bw’otyo bw’oyogera,naye okoze ebibi byonna ebisoboka. 6 Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya MUKAMA yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. 7 Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. 8 Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. 9 Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera MUKAMA. 11 MUKAMA n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,eyanvaako,’ bw’ayogera MUKAMA.‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera MUKAMA;‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna. 13 Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,mwajeemera MUKAMA Katonda wammwe,mwasinza bakatonda abalala,wansi wa buli muti oguyimiridde,era ne mutaŋŋondera,’ ”bw’ayogera MUKAMA. 14 “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera MUKAMA; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera MUKAMA, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya MUKAMA ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza MUKAMA mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo. 19 “Nze kennyini nalowooza“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,era mbawe ensi eyeegombebwa,nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ne mutanvaako ne mwongera okungoberera. 20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”bw’ayogera MUKAMA. 21 Okukaaba kw’Abaana ba Isirayirikuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,ne beerabira MUKAMA Katonda waabwe. 22 “Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,kubanga ggwe MUKAMA Katonda waffe. 23 Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalalatemuli kantu.Ddala mu MUKAMA Katonda waffemwe muli obulokozi bwa Isirayiri. 24 Naye okuva mu buto bwaffebakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibalabakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,batabani baabwe ne bawala baabwe. 25 Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiriddekubanga twonoonye eri MUKAMA Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;kubanga tetugondedde ddoboozi lya MUKAMA Katonda waffe.”

In Other Versions

Jeremiah 3 in the ANGEFD

Jeremiah 3 in the ANTPNG2D

Jeremiah 3 in the AS21

Jeremiah 3 in the BAGH

Jeremiah 3 in the BBPNG

Jeremiah 3 in the BBT1E

Jeremiah 3 in the BDS

Jeremiah 3 in the BEV

Jeremiah 3 in the BHAD

Jeremiah 3 in the BIB

Jeremiah 3 in the BLPT

Jeremiah 3 in the BNT

Jeremiah 3 in the BNTABOOT

Jeremiah 3 in the BNTLV

Jeremiah 3 in the BOATCB

Jeremiah 3 in the BOATCB2

Jeremiah 3 in the BOBCV

Jeremiah 3 in the BOCNT

Jeremiah 3 in the BOECS

Jeremiah 3 in the BOGWICC

Jeremiah 3 in the BOHCB

Jeremiah 3 in the BOHCV

Jeremiah 3 in the BOHLNT

Jeremiah 3 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 3 in the BOICB

Jeremiah 3 in the BOILNTAP

Jeremiah 3 in the BOITCV

Jeremiah 3 in the BOKCV

Jeremiah 3 in the BOKCV2

Jeremiah 3 in the BOKHWOG

Jeremiah 3 in the BOKSSV

Jeremiah 3 in the BOLCB2

Jeremiah 3 in the BOMCV

Jeremiah 3 in the BONAV

Jeremiah 3 in the BONCB

Jeremiah 3 in the BONLT

Jeremiah 3 in the BONUT2

Jeremiah 3 in the BOPLNT

Jeremiah 3 in the BOSCB

Jeremiah 3 in the BOSNC

Jeremiah 3 in the BOTLNT

Jeremiah 3 in the BOVCB

Jeremiah 3 in the BOYCB

Jeremiah 3 in the BPBB

Jeremiah 3 in the BPH

Jeremiah 3 in the BSB

Jeremiah 3 in the CCB

Jeremiah 3 in the CUV

Jeremiah 3 in the CUVS

Jeremiah 3 in the DBT

Jeremiah 3 in the DGDNT

Jeremiah 3 in the DHNT

Jeremiah 3 in the DNT

Jeremiah 3 in the ELBE

Jeremiah 3 in the EMTV

Jeremiah 3 in the ESV

Jeremiah 3 in the FBV

Jeremiah 3 in the FEB

Jeremiah 3 in the GGMNT

Jeremiah 3 in the GNT

Jeremiah 3 in the HARY

Jeremiah 3 in the HNT

Jeremiah 3 in the IRVA

Jeremiah 3 in the IRVB

Jeremiah 3 in the IRVG

Jeremiah 3 in the IRVH

Jeremiah 3 in the IRVK

Jeremiah 3 in the IRVM

Jeremiah 3 in the IRVM2

Jeremiah 3 in the IRVO

Jeremiah 3 in the IRVP

Jeremiah 3 in the IRVT

Jeremiah 3 in the IRVT2

Jeremiah 3 in the IRVU

Jeremiah 3 in the ISVN

Jeremiah 3 in the JSNT

Jeremiah 3 in the KAPI

Jeremiah 3 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 3 in the KBV

Jeremiah 3 in the KJV

Jeremiah 3 in the KNFD

Jeremiah 3 in the LBA

Jeremiah 3 in the LBLA

Jeremiah 3 in the LNT

Jeremiah 3 in the LSV

Jeremiah 3 in the MAAL

Jeremiah 3 in the MBV

Jeremiah 3 in the MBV2

Jeremiah 3 in the MHNT

Jeremiah 3 in the MKNFD

Jeremiah 3 in the MNG

Jeremiah 3 in the MNT

Jeremiah 3 in the MNT2

Jeremiah 3 in the MRS1T

Jeremiah 3 in the NAA

Jeremiah 3 in the NASB

Jeremiah 3 in the NBLA

Jeremiah 3 in the NBS

Jeremiah 3 in the NBVTP

Jeremiah 3 in the NET2

Jeremiah 3 in the NIV11

Jeremiah 3 in the NNT

Jeremiah 3 in the NNT2

Jeremiah 3 in the NNT3

Jeremiah 3 in the PDDPT

Jeremiah 3 in the PFNT

Jeremiah 3 in the RMNT

Jeremiah 3 in the SBIAS

Jeremiah 3 in the SBIBS

Jeremiah 3 in the SBIBS2

Jeremiah 3 in the SBICS

Jeremiah 3 in the SBIDS

Jeremiah 3 in the SBIGS

Jeremiah 3 in the SBIHS

Jeremiah 3 in the SBIIS

Jeremiah 3 in the SBIIS2

Jeremiah 3 in the SBIIS3

Jeremiah 3 in the SBIKS

Jeremiah 3 in the SBIKS2

Jeremiah 3 in the SBIMS

Jeremiah 3 in the SBIOS

Jeremiah 3 in the SBIPS

Jeremiah 3 in the SBISS

Jeremiah 3 in the SBITS

Jeremiah 3 in the SBITS2

Jeremiah 3 in the SBITS3

Jeremiah 3 in the SBITS4

Jeremiah 3 in the SBIUS

Jeremiah 3 in the SBIVS

Jeremiah 3 in the SBT

Jeremiah 3 in the SBT1E

Jeremiah 3 in the SCHL

Jeremiah 3 in the SNT

Jeremiah 3 in the SUSU

Jeremiah 3 in the SUSU2

Jeremiah 3 in the SYNO

Jeremiah 3 in the TBIAOTANT

Jeremiah 3 in the TBT1E

Jeremiah 3 in the TBT1E2

Jeremiah 3 in the TFTIP

Jeremiah 3 in the TFTU

Jeremiah 3 in the TGNTATF3T

Jeremiah 3 in the THAI

Jeremiah 3 in the TNFD

Jeremiah 3 in the TNT

Jeremiah 3 in the TNTIK

Jeremiah 3 in the TNTIL

Jeremiah 3 in the TNTIN

Jeremiah 3 in the TNTIP

Jeremiah 3 in the TNTIZ

Jeremiah 3 in the TOMA

Jeremiah 3 in the TTENT

Jeremiah 3 in the UBG

Jeremiah 3 in the UGV

Jeremiah 3 in the UGV2

Jeremiah 3 in the UGV3

Jeremiah 3 in the VBL

Jeremiah 3 in the VDCC

Jeremiah 3 in the YALU

Jeremiah 3 in the YAPE

Jeremiah 3 in the YBVTP

Jeremiah 3 in the ZBP