Jeremiah 49 (BOLCB)
1 Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Isirayiri terina baana balenzi?Terina basika?Lwaki Malukamu atutte Gaadi?Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi? 2 Naye ennaku zijja,” bw’ayogera MUKAMA Katonda,“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutaloku Labba eky’abawala ba Amoni.Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.Isirayiri eryoke egobere ebweruabo abagigoba,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 3 “Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!Mwesibe ebibukutu mukungubage.Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,awamu ne bakabona n’abakungu. 4 Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?Ggwe omuwala atali mwesigwa,weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,‘Ani alinnumba?’ 5 Ndikuleetako entiisa,okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”bw’ayogera Mukama, MUKAMA Katonda ow’Eggye.“Buli omu ku mmwe aligobebwa,era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka. 6 “Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 7 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Tewakyali magezi mu Temani?Abeegendereza babuliddwa okutegeera?Amagezi gaabwe gaweddemu ensa? 8 Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewalammwe abatuuze b’e Dedani,kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,mu kiseera bwe ndimubonerereza. 9 Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?Singa ababbi bazze ekiro,tebandibbye byonna bye beetaaga? 10 Naye ndyambula Esawu mwerule;ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,aleme kwekweka.Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,era wa kuggwaawo. 11 Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.” 12 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 Neerayirira,” bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.” 14 Mpulidde obubaka okuva eri MUKAMA Katonda.Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!Mugolokoke mukole olutalo!” 15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,abanyoomebwa mu bantu. 16 Entiisa gy’oleetan’amalala g’omutima gwo bikulimbye,mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,mmwe ababeera waggulu mu nsozi.Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 17 “Edomu kirifuuka kyerolerwa,abo bonna abayitawo balyewuunya batyeolw’ebiwundu bye byonna. 18 Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera MUKAMA Katonda,“tewaliba n’omu abibeeramu;tewali musajja alikituulamu. 19 “Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaaniokugenda mu muddo omugimu,ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?” 20 Noolwekyo, muwulire MUKAMA Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,kyategekedde abo abatuula mu Temani.Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe. 21 Bwe baligwa ensi erikankana,emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu. 22 Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomugiribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala. 23 Ebikwata ku Damasiko:“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,kubanga biwulidde amawulire amabi.Bakeŋŋentereddwa,batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera. 24 Ddamasiko ayongobedde,akyuse addukeera okutya kumukutte;obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala. 25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,ekibuga mwe nsanyukira? 26 Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye. 27 “Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.” 28 Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Golokoka, olumbe Kedaliozikirize abantu be bugwanjuba. 29 Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;enju zaabwe ziryetikkibwan’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,‘Akabi kavudde ku buli ludda!’ 30 “Mudduke mwekukume mangu!Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;ategese okubalumba. 31 “Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,eriri mu kweyagala,”bw’ayogera MUKAMA Katonda,“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;abantu baalyo babeera awo bokka. 32 Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 33 “Kazoli alifuuka kifo kya bibe,ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.Tewali alikibeeramu;tewali muntu alikituulamu.” 34 Kino kye kigambo kya MUKAMA Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka. 35 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa. 36 Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,era tewaliba nsi n’emuabawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu. 37 Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;ndibatuusaako ekikangabwa,n’obusungu bwange obungi ennyo,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.“Ndibawondera n’ekitalaokutuusa lwe ndibamalirawo ddala. 38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramuera nzikirize kabaka we n’abakungu be,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 39 “Wabula ekiseera kijja,lwe ndiddiramu Eramu,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.